Home » Tondism Faith » Ebyafaayo bya Walusi

Bya Ssaabayima Wamala Mugalula

Nze Kabona Wamala Mugalula, nga nsangibwa mu nsozi z’e Walusi naye ng’obuzaale bwange buli Butambala ku kyalo Kawami, omuluka Kirokola mu ggombolola y’e Kalamba.

Bajjajjange bonna bagalamidde mu Lugo- Butambala, ku mayiro yaffe Abenseenene. Ndi muzzukulu wa Mugalula e Kisozi- Ggomba, Kalibbala e Nsiisi, Masembe e Maya, muzzukuklu wa Kajubi e Bujubi, Malinzi e Lukoni, Kalanzi mu Lugo- Kyaddondo era muzzukulu wa Mpagi e Ziwungwe- Busujju.

Kabona Mu Galula mu Blue ne Munamawulire W’enzikiriza

Bwe nnali nsoma mu Mabanda Primary mu Butambala mu kibiina kya P4, nafunira okwolesebwa okwantwala eri omugezigezi omu Ssemakula Owoolugave eyambuulira bino: Nti ng’enda kubeera muweereza, era ndiweerereza mu nsozi. Eyo ng’okusoma kutawaana, P7 nagituulira mu Kawami Primary, ne ng’enda mu Kibibi SS era ne nkoma mu S2 ne nzija mu kibuga .

Nakolako ogwa takisi ku Namasuba-Zana stage era nze omu ku baatandikawo siteegi y’e Ndejje ne Masajja. Nasuumusibsa ne nfuna ettaawo (nnamba 028). Natemako ennyama e Najjanankumbi nga ngisuubula Mpigi n’emirimu emirala mingi naye gyonna gyatuukanga ekiseera  ne gigaana olw’okuba nail nneerabidde ekigambo Ssemakula kye yambuulira.

Mu kuggulawo Jubilee Park, ekibangirizi e Katwe ekyakung’aanyanga abasawo b’ekinnansi, nnali mmaze okutuusibwa mu nsozi zino ez’e Walusi, nga nsisinkanye bakadde baffe abagenzi abaali  batwala ensozi zino omui Omusiige Ssebyayi Kyabangi ne maama Namuganyi Akukireeka.

Nga baggulawo Jubilee Park nalondebwa okukulembera ennyumba eyayitibwanga Ebbanguliro mwe nakolera emirimu emirungi omuli okutegeeza abantu bonna ebikwata ku buwangwa bwabwe, obutonde n’obwamwoyo bwabwe. E bisinga nabifunanga okuva mu bakadde bange n’okwolesebwa. Olwo erya Kabona lyankalako naye olw’okuba ebigambo byange  byali  bitam bulira ku mutendera gwa waggulu, bankazaako lya Paasita.

Nina abaana, asembayo atudde P7 era erinnya lya Pasiita lyamira erya taata.

Walusi y’ani?

Esinziza Ly’enzikiriza e Walusi

Walusi kiggwaayo nti Walusinsi, ekitegeeza omwaliiro oguleze n’okuwambaatira ebiramu byonna. Njogera ku nsi na bulamu n’obutonde bwayo. Ekitebe ekikulu ekya Walusi kitudde Kikandwa mu muluka Kiwanguzi mu ggombolola y’e Wabusaana mu ssaza ly’e Bulemeezi.

Walusi alina ensozi ze okwetooloola ensi yonna okwateekerwateekerwa obutonzi, obutonde n’obuwangwa bw’abantu. Kuno kw’otwalira n’ebiramu byonna. Wano e Bulemeezi , Walusi alina emitwe 102, bwe bwagaagavu bwe nga gya nkizo nnyo mu bulamu bwaffe. Era n’enzizi zaakwo nga ziri mu kifo kimu ziri 102 abantu kwe banywa amazzi naye ng’ekyewuunyisa, ne bwe kiba kyeya enzizi ezo tezikalira! Abantu batambuza ente zaabwe okuva e Nakasongola n’awalala ne zijja zinywa mu nzizi zino ku kyeya.

Ensozi zino zifukamirwamu olw’abantu okunoonya emikisa, obulamu, okusumulula ebyabasobako, okunoonya enzikiriza yaabwe (obutonzi), okumanya ebibakwatako mu buwangwa, obutonde n’obutonzi kubanga ago ge masiga asatu ensi kw’etambuliza okumanya kwayo.

Okuva ku lubereberye kw’okubaawo kw’abantu n’okutuusa kaakati, abantu bamanyi nti ensozi zino y’ensibuko ya byonna. Eno nsibuko ya misambwa, emyoyo, okumanya n’okutegeera ng’ekyokulabirako, ensozi zino mwe mwafukamira abatakansi n’abantu ab’obuvunaanyizibwa okukoowoola nate Obwakabaka okuddawo, ekintu kye tukakasa nti kyatuukirira kubanga tubulina.

Kabona Wamala Mugalula ku Lusozi Walusi

Abantu be bamu abo mu nsozi zino mwe baafukamira okwegobako effugabbi lya Obote ne banne era mwe twasinziira okuleeta obukulembeze obutufuga na leero.

Mu nsozi zino okuva okubaawo kw’abantu n’okutuusa kaakati muzze mutambuliramu Abasiige okuva mu Bika eby’enjawulo okutuusa ku Basiige abasembyeyo mu Kika ky’Enjovu omuva Omusiige  Ssebyayi Kyabangi n’Omuweeka Maama Akukireeka Namuganyi ow’Empindi. Abo nno okwolesebwa kwabwe baakufuna eyo mu myaka gya 1962 ng’obutonzi bubakoowoola, era bajjanga ne bakola emikolo kuno ne baddayo okutuusa mu 1972 bwe baasitukira ddala amakanda ne  bagaku ba mu nsozi zino. Ensonga enkulu ezaabaleeta kwe kuzzaawo Obwakabaka, okutereeza eby’obukulembeze mu ggwanga ne mu Afrika okutwaliza awamu, okumanyisa abantu obutonzi, obutonde, obuwangwa bwabwe n’obulungi obubirimu.

Okusobolola ebyo ebizze bisoba mu mawanga gaffe, Ebika byaffe, mu nzigya ne mu mpya zaffe, omulimu gwe baakola obulungi nga babikkula emyaliiro, egyo egiri mu mayinja ne mu njazi Omutonzi mwe yakweka o bubonero n’obulambe bwa buli kintu nga bwe kyabaawo mu nsi muno.

Ebyafaayo bya Walusi bitugamba ensi nga bwe yatandika era bitulaga okubeerawo kw’ebintu byo nna, ebirina obulamu n’ebitalina. Tutegeezebwa nga ensi tennabaawo waaliyo akatonnyeze, ako kajja kayingiwala bwe kagejja ne mwekola ekizikiza. Ekizikiza ekyo mwalimu emiramwa, amaloboozi agaali gajjudde okusiiya, okutokota, okubwatuka, okusaalirira, okubugujja n’amalala nga bwe gawulirwa okuva mu biramu byonna ebyagabana ensi.

Okusaanawo kw’ekizikiza mwava emiriro egyekung’aanyiza mu njuba, emmunyeenye n’emyezi ne mu lule lwa Musoke. Olwo ensi n’egabana obutangaavu. Amabala ga Musoke ageekung’aanyiza mu lule olwo egyo ne gibeera emibiri omusanvu egy’Obwattonda era nga gy’emyoyo omusanvu egikola Obwattonda.

Ekizikiza ekyo mu kusaanawo kwakyo mwavaamu empewo n’omuyaga omwali amaloboozi  ng’enkuba etonnya nnyo, emiriro n’amaloboozi nga biri wamu kintabuli, okwo kwe kwali okubeerawo kw’ensi n’okwegabanya kwayo. Ebyo byonna byali wano mu nsozi z’e Walusi era obubonero bwabyo bweyolekeras mu nsozi zino n’okusingira ddala e Mirinze mu zzaaliro.

Mu nsozi z’e Walusi tuyigirizibwa emirembe egyajja gibaawo okuviira ddala ku gwa Katonnyeze, omulembe Omuzigi, Ekizikiza, Obutangaavu, ogw’Eggi, omulembe Olubereberye,  omulembe Omuberusi, Omulunguusira, Omululumo, Omuwawa, Omuganda ne guno gwe tulimu omulembe Omutinzi. Gino gy’emirembe 12 ensi mwe yaakatambulira.

Walusi ayongera okutuyigiriza nti olukalu lwabaawo, n’olubisi ne lubaawo. Ziyite ensozi n’ennyanja. Mu kubaawo kw’ennyanja, ensulo ate nga ziva mu nsozi, ky’ova olaba teriiyo mazzi gakulukuta nga gambuka olusozi, wabula gava mu nsozi ne gakkirira.