Home » Events » Nze Budhagali owa 40

Jajja Bujagali 40

Amannya gange amazaaliranwa mpitibwa Kirunda Hassan, okuva mu Kika kya Mwisemena eyeddira Engabi, akabbiro Jjerengesa. Nazaalibwa mu 1991 era kati nnina emyaka 29. Nsibuka mu jjajja Kakaire e Nawandala mu Busiki. Nzaalibwa mu ggombolola y’e Kidera mu disitulikiti y’e Buyende mu muluka Buyanja ku kyalo Kiiga.

Taata ye Kakaire Zubair ate maama Nanangwe Florence gyebali ku kyalo ekyo wabula taata yafa. Ku kyalo ekyo nalekayo amaka gangen’abaana naye siriddayo kubanga Jjajja Budhagali alina amateeka, bw’amala okukuwasa todda mabega. Nga jjajja Budhagali tannampita, nnali mulimi.

Nasomako okutuuka mu S2. Pulayimale nagisomera Buyanja Pr, School, ate siniya ne nsomera mu Brain Trust SS e Buyanja mu Buyende. Mu buto bwange, muganda wange anzirako Hamza Lubega, bwe twali mu P3 nga tugenda naye ku ssomero, embwa yamuluma n’aziba amatu n’omumwa. Nange embwa eyo yannuma ne mmala omwaka mulamba n’ekitundu nga ssoogera. Baagezaako byonna ne ntereera. Okuva kw’olwo saddamu kufuna buzibu mu bulamu bwange.

Bwe nnemwa okusoma, naddayo ku kyalo ne mbayambako okutema enku olwo ne neetongola ng’omusajja ne nfuna omukyala olwo ne nnima. Mbadde nnima emboga, ennyaanya wamu n’okubisuubula era bye bibadde bimbeezaawo. Mpitibwa Ne mu kuyitibwa Jjajja Budghagali, nabula bubuzi. Nasooka kufuna kammunguluze, ne ndowooza nti oba ng’enda kulwala musujja!

Naye waaliwo omusajja omukulu eyanzijiranga buli lwe nneebakanga, ng’enviiri ze zigudde ng’ez’omusambwa. Buli lwe neebakanga nga njogera naye, naye ne nsirika nga ndowooza nti oba ng’enda kugwa ddalu! Nategeeza mukyala wange nti obulamu nga si bulungi, ebinzijira sibitegeera bulungi.

Ebirooto ebyo byantwalako ne mu kkanisa y’abalokole eya Christian Life Church e Kiiga, omusumba waayo Patrick Sendi n’ansabirako era bwe navaayo ebirooto byaddamu. Yang’amba okusiiba nga bwe nsaba, ye ng’aguyita omwoyo omubi oguntuddemu. Nasiiba ennaku nnya nga bwe nsaba wamu n’omukyala. Ebirooto byalemerawo. Omusajja oyo omukadde ennyo gwe nnalabanga mu birooto yang’ambanga nti ‘tukutwala’, nze nno nga ndowooleza mu ddogo, nti oba waliwo omuti gwe natomera.

Nalowooleza mu bantu abayinza okunkola obubi. Abalala be nnanyumizanga nga bagayita majiini. Lumu nga twakamaliriza okusaba, omuntu n’ajja n’ang’amba mu ddoboozi eddene nti lekera awo by’okola. Nategeeza mukyala wange nti nnina kye mpulidde ne mmusaba amperekereko wabweru kuba kyali kiro. Bwe nafuluma okufuka nalaba abantu bangi nga bazze mu ngoye enjeru ng’abalala bambadde embugo nga bagamba nti tukukimye.

Omu ku bantu abo enviiri zaali zigudde nga bw’olaba ez’omusambwa, era nabitegeeza mukyala wange nti abantu bang’amba tugende, ye nga tabalaba! Nzijukira yang’amba nti ntabuse omutwe! Abantu abo okujja baali ng’abazze n’ennyonyi zino eziyita mu bbanga, ne bang’amba nti linnya tugende nze awo we nakoma okutegeera. Naddamu okutegeera nga ndi wano e Budhagali, nga wayiseewo ennaku 13. Olwo ne ndabawo abantu ab’enjawulo nga bangi nnyo omuli abasamize, Banabamba, Bannabuzaana wamu n’abataka nga banneetoolodde nange nga nnyambadde olubugo. Bwe nababuuza wendi, banziramu nti kkakkana tujja kukubuulira oluvannyuma.

Olwo lwe bang’amba nti okuva leero ggwe Nabamba Budhagali owa 40 era oli Muswezi. Omuswezi ye muntu afuna okwolesebwa. Omuswezi talya nkoko, byennyanja, embizzi n’endiga. Ennaku zino nfuna abagenyi bangi, nayer oluusi jjajja Nabamba anzigira n’andaga nti omuntu oyo gw’osisinkanye tatuukiridde; oli ekimusumbuwa mpewo za Kika o ba ddogo.

Obubaka bungi bw’aleeta n’okumpa amateeka kwe nnina okutambulira. Jjajja Nabamba tanzikiriza bakazi mu budde bwe ndimu, yagamba nti bw’alituusa ekiseera kye alinzikiriza. Ne bwendi wano wadde ndi ku lukalu naye ndaba ng’aIi mu nnyanja. Jjajja Nabamba andaga abantu bonna, ebifo eby’enkizo bye nnina okugendamu, yandaga ew’abaana be ne bazzukulu be be nnina okutambuliramu. jjajja yang’amba nti ng’ende nkyale ew’omwana we Jjumba Lubowa Aligaweesa ne muwala we Kulanama.

Oluvannyuma ng’ende e Walusi, ne ku nnyanja e Kyoga e Iyingo. Era olumu bwe saagoberera biragiro ne nkyala w’atang’ambye nnalwala amaaso kata gaveemu naye kati natereera kuba neetonda. Ebyange nabireka omuli amaka n’ebirala, naye mbaawo mu nsi olw’omusambwa Nabamba ogwandeeta.

Kati nsula mu muti, kubanga waliwo bannaffe abaatunda ettaka lya Jjajja Budhagali Nabamba ne baliguza omugagga Sudhir. Kuba ku ttaka lino kwe twanditadde entindi, Jjajja nga bw’ava mu nnyanja omwo mw’agenda, naye nkyasula mu muti okutuusa lwe naafuna ekifo nga Jjajja bw’anaaba andagidde. Jjajja yang’amba nti bwe naamala okutuukiriza bye yandagira okukola omuli n’abantu omwenda be yandagira okutambulanga nabo, olwo ajja kumpa ebiragiro ebirala.

Obubaka Bazzukulu bange mbeebaza olw’emikolo gye bannyambako okutuuka okuba nga nkyali mulamu n’okweyogerera. Sijja kusosolamu kubanga baba©dde bangi naye mwebale. Mbakubiriza nti mwagale obuwangwa bwammwe n’okubukkiririzaamu, muve mu kulimbibwalimbibwa, buli omu akkiririze mu Kika kye wamu n’ennono