Home » Tondism Faith » Ssabakabona Ku Nzikiriza

The Priests

Enzikiriza y’obuwangwa n’ennono erina byafaayo ki?

Enzikriiza eno yakomawo mu mwaka gwa 1962 ng’etandika n’Omusiige Ssebyayi Kyabangi ng’ali ne Nabbona we maama Namuganyi Akukireeka. Oyo ye yatuulwangako omwoyo oguyitibwa Mutegesi ogwakomawo okutegeka ensi eno, ne balyoka batandika okubikkula emyaliiro egyali gyebikkako egisangibwa ku lusozi Walusi.

Abantu abo ababiri, essaala ze tusoma kati zaatandika okukka, era baafuna okwolesebwa okuva eri Kyetonda Ttonda ku nzikiriza eno, nga Mukama Katonda abalaga nti assizza ekisonyiwo eri omwana w’omuntu.

Mu kussa ekisonyiwo kino, n’omulembe gwakyuka, ne tufuna omulembe Omutinzi, kkyusa nsi, ogukulemberwa omwoyo oguyitibwa Kitinda. Omulembe guno twakagutambulako emyaka 58. Gijja kuwera nga May 24 era oyo ye Ssaabakabona omubereberye mu mulembe guno ate maama Namuganyi Akukireeka ye Nnaababona mu mulembe guno.

Omusiige Ssebyayi Kyabangi agalamiziddwa mu Kireku ewa Kabonas Ssegujja mutabani we. Kireku lwe lumu ku nsozi 102 ezikola Walusi. Maama Namuganyi agalamiziddwa ku lusozi Walusi, ewa Kabona Basajjanyago.

Olwo enzikiriza yakomawo okuva wa? Yali yabulira wa?

BH
Traditionalist at a function

Enzikiriz eno yasaanyizibwawo mu mwaka gwa 1840 ne mu 1876 Abawalabu n’Abazungu bwe bajja, ne bagifuula Sitaani. Amasabo gaffe gaagenda emmanju, ne batuguza amadiini amalala mu kifo ky’okusinza eddiini enzaaliranwa.

Kati erina amatabi ameka n’abagoberezi bameka?

Enzikiriza y’obuwangwa n’ennono erina amatabi. Tuweza bakabona abamaze okuyigirizibwa ku mutendera guno 62, waliwo bakabona ab’ekibogwe abatannamalirizibwa kuteekebwateekebwa naye nga tubayita bakabona. Tulina amasinzizo 276 naye nga gano agamu gakyali mu bifo bya bakabona baffe nga si bya nzikiriza.

Tulina abakkiriza abatuwadde ettaka,  lye tulinako ebiwandiiko biri ebifo 17 enzikiriza by’erinako obwannannyini. Biri e Masaka, Rakai, Lyantonde, Bukomansimbi, Mpigi, Mukono, Kiboga, Wakiso, Nakaseke n’e Jinja. Ekifo ekinene ekiri mu Wakiso kibalirirwamu obukadde nga 650,kino  Ssenga Kulanama ye yakituwa. Tulina n’ekirala e Luweero awali essinzizo ekkulu ery’enzikiriza y’obuwangwa n’ennono era twaliwandiisa mu kyapa ky’eggwanga. Liyitibwa Walusi Lutikko.

Nteekateeka ki eriwo okukulaakulanya ebifo bino?

Mu ttabamiruka eyaggalawo omwaka oguwedde 2019 e Nakaseke, twasalawo buli ssinzizizo buli wiiki lituwe 20,000/- naye ne kitakola. Oluvannyuma twasibira ku 20,000/- buli mwezi, olwo tukung’aanye obukadde  4 buli mwezi zikozesebwe okuzimba amasinzizo buli we tulina ettaka naye kibadde tekinnatambula bulungi. Nsaba bakabona ne bannabbona wamu n’abagoberezi, okwongera okudduukirira enzikiriza eno, eyongere okufuna amasinzizo agaayo. Twetaaga essinzizo ery’amaanyi mu Kampala kubanga kye kibuga ky’eggwanga.

Enzikiriza y’obuwangwa n’ennono efunye kusoomozebwa ki okuva ku madiini n’enzikiriza eziriwo?

Ekisooka, amadiini agajja obuzzi balaba enzikiriza eno ng’eteriiwo. Buli lw’ogyogerako ku mikolo nga egy’embaga oba okuziika abantu batulaba ng’abakola katemba. Ekyokubiri, bannamawulire n’abantu abalala abamu tebatwawula na basawo ba kinnansi, buli we batulaba batwogerako ng’abakoze katemba, sso ng’enzikiriza erimu abantu abatali basawo. Twayagala nnyo okutuula ku lukiiko olugatta enzikiriza olwa Interreligious Council naye baagaana okutuddamu sso nga twatwalayo buli kye baali beetaaga.

Bannabyabufuzi abamu bayimirira mu bantu ne bagamba nti ekyo ekidiinidiini tebakyetaaga mu bitundu byabwe. Bannamateeka baffe buli ayogera kino bamuwandiikira n’akivaako kubanga bangi tebamanyi nti enzikiriza yaffe mpandiise, eri ku nnamba 80020000176928. Kale abakkiriza abamu abayingira enzikiriza eno ebika by’ewaabwe bibaboola, oluusi ne bataagala na kubaziika ku kiggya. Waliwo abakyuka ne badda mu nzikiriza eno ne batabuulira bantu baabwe nti akyuse, kale bwe wabaawo ensonga nga ey’okufa ne tusanga obuzibu.

Olw’okutuboola okwo kireetera abantu baffe olw’obutafumbirwa mu bufumbo obw’amateeka, kale abantu baffe ne baba mu bufumbo obutali butukuvu. Ate abasawo b’ekinnansi, abandibadde bavunaanyizibwa ku nzikiriza eno, ate balwanagana nayo okugisembezaayo. Nze ndowooza nti buli musawo wa kinnansi yandibadde mu nzikiriza eno kubanga y’asookerwako, kuba n’ekigambo ssabo kitegeeza ssabiro. Essabo abamu baaliggyamu ekitundu ky’okusaba ne balirekera kitundu kya bujjanjabi, sso nga eno ye waabwe.

Mu April 5, 2009 nasoomoozebwa nnyo bwe nafiirwa maama eyasinga okunteekateeka mu nzikiriza eno, Muzzukulu Naluyima asangibwa mu ggombolola y’e Kagamba e Rakai mu muluka gw’e Kasankala era nga kye kyalo bwe yafiira mu mikono gya muto wange kyokka nga naye musawo wa kinnansi n’aleeta bbafaaza okumusabira n’amenyawo n’amasabo mwe nakulira. Olw’okusoomoozebwa okwo ssaaziika ku maama wange oyo kubanga amasasi gaali mangi mu kufa okwo. Kino kinene nnyo era ensonga ekyannuma, naye buli eyeetaba mu kumenya amasabo ago ne muganda wange baakamulongoosa olubuto emirundi 4 era taddangamu kuyimirira. Nsaba bannaddiini balekere awo okuyingirira abantu abalala kubanga amasabo ago gaalimu ebintu ebikulu ennyo ebyayokebwa mu lunaku lumu naye okubonaabona okuzzeeko kunene.

Okusoomoozebwa okusinga obunene kwatuukako nga December 21, 2019 ng’olusozi Walusi luggaddwa bannakigwanyizi okukulemberwa omukyala. Kino kyanteeka ku minzaani enzibu, nga bagezaako okutugoba mu ssinzizo lye twezimbira.  Ate ettaka we tutudde si lyaffe bwoya, kati abamu batusindiikiriza era  kuno kwe kusoomoozebwa okusinga obunene. Tusiima Kabona Wasswa Ssewamala atwala disitulikiti y’e Nakaseke wamu n’abakkiriza baayo, wamu ne DPC waayo abaasala amazima ne tulwanirira eklifo kyaffe.

Okusoomooza okulala kwa kuba ng’ekitabo ky’enzikiriza y’obuwangwa n’ennono abamu kye bayita Bayibuli yaffe tekinnaggwa kuwandiika. Abawandiisi n’abategesi baakyo bakyagenda mpolampola naye nga kijja kuggwa. Waliwo ne bakabona abategekeddwa obulungi kyokka ate abaagala okutwefuulira mu kifo ky’okuweereza ne bayita mu bakkiriza ku mikutu gya WhatsApp 16 gye tulina okubasaba ssente n’okubasokaasoka ebigambo ebitasaana.

Njawulo ki eriwo wakati w’enzikiriza eno n’obusawo bw’ekinnansi?

Ekisooka, omusawo w’ekinnansi asobola okubeera nga ye Pawulo ate nga ye jjajja w’abaana. Naye enzikiriza eno omuntu tabaako na linnya lya nzikiriza ndala. Omuntu bw’akansirwa olwo aggyibwako erinnya ly’ekizungu n’obulambe obumubeeza mu ddiini gy’abaddemu.

Mu nzikiriza eno tuggalawo essabo ku Lwokusatu n’Olwomukaaga ne tugenda tusinza. Bwe tuba tusinza tetukoowoola mizimu, tukoowoola bamalayika ne Katonda. Sso nga essabo kiba kitundu kya ddwaaliro lyokka.

Biki by’osinga okwenyumirizaamu bukya olondebwa ku bwassaabakabona?

Okulondebwa okubeera Ssaabakabona zaali May 24, 2017. Omwaka guno nja kuba mpeza emyaka esatu. Ku matikkira gange nasobola okutuuza amawanga 36 omwali ne Polof. Birdhall, akulira UNESCO  mu nsi yonna. Amawanga ago gonna gaali gamaze okukkiriza  nti enzikiriza embereberye, era omuntu omubereberye asibuka mu Afrika, mu Uganda, Mu Buganda, mu Bulemeezi ku lusozi Walusi. Kino kyava mu kutuula kwe twajja tubeeramu.

Ebyafaayo byange okujja okubeera Ssaabakabona, twatwala emyaka 11 nga tuli mu kweteekateeka ani agwanidde. Ekitongole ekya Mpambo African Multivarsity ekikulirwa Polof. Wangoola Wangoola Ndawula nga kirina ekitebe e Nakabango mu Busoga kyatabaganya amawanga era polofeesa oyo y’agatta amawanga amalala ku ffe mu nzikiriza eno.

Oyo yatuweebwa jjajjaffe Budhagaali ekitegeeza nti enzikiriza eno si ya Baganda bokka. Bwe namala okutikkirwa, oluvannyuma lw’emyezi ena twali tumaze okuwandiisa enzikiriza mu mateeka. Nassaawo olukiiko olwa ‘High Council’ n’olufuzi (executive). Disitulikiti mu Uganda eziwera 43 zimaze okufuna bakabona baazo abazikulembera.

Tugguddewo omukutu gwa website, www.tondismfaith.org, era bammemba baffe abali ebweru kwe tubawuliza. Guno guddukanyizibwa Kiggundu. Twatandika okukola ennyimba ez’amaloboozi, kati tulina entambi 14 ezitegekeddwa obulungi.

Tulina kkwaaya y’enzikiriza ekulirwa Ssaabayonza Kiggundu Basajjabaka era n’amasinzizo ag’enjawulo nga erya Greater Masaka erikulemberwa Kabona Kato Muwanga Ssenkandwa twatongoza kkwaaya yaayo. Twafuna kkwaaya ya disitulikiti y’e Mukono etuula ku ssinzizo ewa Ssaabalambi Kabona Buyondo Maanyigalubaale e Kasala ekulirwa Nabbona Nalubowa. Tulina kkwaaya e Lugazi mu Buikwe ekulirwa Nabbona Nnaalongo, e Kitala-Ntebe eriyo kkwaaya, ekulirwa Kabona Ssebaggala Ssemata. E Sudan eriyo kkwaaya yaffe ekulirwa Kabona Kyambalamatembe. E Lweyo ekulirwa Super teacher Muwonge. Twava ku nnyimba ez’amasabo era nkyenyumirizaamu nnyo.

Twafuna bannamateeka b’enzikiriza abakulirwa Council Saava Kayiira Lwere  era yakansirwa n’ayingira mu nzikiriza. Tukozeemu konsati Komaweeka mu kisaawe e Wankulukuku n’ekigendererwa ky’okwongera okulaga abantu mu Kampala enzikiriza y’obuwangwa n’ennono. Twali tuzzaamu abantu omutima nti enzikiriza eno si ya kikolimo.

Nkyaliddeko amawanga ag’enjawulo okwogera ku nzikiriza,. Naliko e China, Nigeria, S. Afrika mu kibuga Cape Town, Jamaica, Burundi ne Yisirayiri nga twogera ku nzikiriza. Ssaabatinzi naye yagendako e Buyindi n’asisinkana ab’enzikiriza ya Budhism. Tugezaako okugatta enzikiriza eno n’amawanga amalala agakkiririza mu buwangwa bwago. Twasimba ne tuwanika bendera zaffe ne zitandika okwewuubira ku masinzizo gaffe

Okwewala omupangisa twaggulawo ofiisi mu maka g’Obwassaabakabona mu Kirowooza e Mukono okuba ng’ensonga zaffe zonna tuzimalira awo. Ffe buli mukolo gwe tubaako nga mukulu tufulumyawo ekiwandiiko abantu okwongera okumanya ebigenda mu maaso. Waliwo abantu bangi abaali bazannyisa enzikiriza eno, naye twabatwala mu mateeka ne bakkakkana.

Twawandiika n’ekitabo ekirimu amateeka g’enzikiriza ekiyitibwa Tondism Doctrine. Twongedde okubunyisa ebiwandiiko byaffe ebitukwatako mu ofiisi za gavumenti zonna, era n’Obwakabaka ne butussizaako emikono okutambuza enzikiriza.

Ate embaga yange eyaliwo nga September 21, 2019 ne Ssenga Kulanama, nga tugattibwa mu lutikko e Walusi nkyenyumirizaamu kuba nakituukako.

Bubaka ki bw’olekera omukiriza owabulijjo.

Obubaka bwe ndekeera abakkiriza, balina okubeera abagumiikiriza, abakkakkamu ate beerekereze byonna bye balowooza badde mu buwangwa bwabwe. Buli gw’obuuza nti lwaki osoma eddiini, addamu nti ya bakadde be. Nga tonnalowooza ku bakadde bo sooka olowooze nti ensi yo yabeerawo etya? Bw’odda mu buwangwa bwo oba n’eddembe; enkoko, embuzi n’ente tebivangako mu buwangwa bwabyo y’ensonga lwaki tebibulwa kyakulya.

Tulina okwogera obulungi n’abatannayingira nzikiriza eno, obutababoola, obutabavuma, okuba nga bakkakkamu n’okukkiriza okugattibwa mu bufumbo obutukuvu. Abaana bwe bawummula mubabuulre ebifa ku nzikiriza y’obuwangwa n’ennono kuba omwana bw’ayiga ekintu nga muto tawaba ng’akuze.

Nsiima bakabona bonna abeewaddeyo okutambuza enzikiriza eno. Mbasaba mwongeremu amaanyi ate n’ekitongole ekibuulizi ky’enjiri, Kabona Katibba weebale kuba oteeseteese bulungi bakabona n’okukuba ekitabo. Nsiima ne Nabbona Ssenga Kezia Kulanama olw’okwewaayo n’otambuza enzikirizza eno ng’okozesa erinnya lyo, ssente zo n’okwewaayo kwo.