Home » Events » Kulanama ajaguza okuweza omwaka

Senga Kulanama Nabakooza nga ye Nabbona Mu Nzikiriza Y’obuwangwa eya Tondism Faith ate nga ye Muka Ssabakabbona Jumba, akoze omukolo ogwokujaguza nga bweguweze omwaka mga aweeredwa ekitiibwa kya Nabbona wamu n’okuba omukulembeze w’abasawo b’ekinansi mu ggwanga mu kibiina kya Tuli Bumu.

Kulanama asinzide ku mukolo guno ogubade e Kigo nategeeza nga wewaliwo abantu abamulondoola era nga bamubega buli wabeera nga kituuse n’okugwala okumulemsa bulamu. Agamba nti abamu kwabo babawereza okukuba ebifaanani, amaloboozi n’ebiralal okusobola okubitwaal. Bano oabalabde ku kabaate akanabagyira era nga kigenda kubakosa.

Bakabona Nga Batude Ku Mukolo

“Manyi wano waliwo bambega era nkimanyi mwaze kufuna byetogera mubitwalire maama Fiina’ Kulanama.

Omukolo Gusoose na Kusaba mu Nzikiriza y’obuwangwa nennono okukulembedwa Jumba Lubowa Aligaweesa nga ye Sssabakabona ng’awerekedwaako banaddiini abalala ne bakabona wamu neba Nabbona.

Wano Jumba wategeereza ng’abasamize webalina okumanya omutonzo era bategeere nti omutonzi wabwe abeetaaga balekere okulowooza nti amayemebe, emisambwa, Abalongo bebakatonda.

“Ejembe, Lubaale, Omuzimu si katonda, Oyo Tonda Namugereka, Y’ali waguli webyo obyona era yeyabitonda” Jumba. Agaseeko nti abantu balina okumanya obuwangwa bwabwe kuba n’amaddiini amalala gatambulira mu bwangwa.

“Omusiraamu abe mu busiraamu naye siwano mu Uganda wabula mu buwalabbu, Tewali Muwalabu gwebayita Kiggundu oba Jumba, babayita Manya Gaabwe, kale naawe omuganda wegyeeko amanya gaabwe osigaze erinya eryobuwangwa bwo” Jumba.

Abalala ababade ku Musolo ye Commisioner wa Police Asuman Basalirwa ono asabye Banaddiini okufaayo okusabira eggwanga wamu n’okugondera amateeka mu ggwanga.

Abalal kubadeko abakulu okuva mu Bwakabaka bwa Buganda abo abateegezeza nga Tuli Bumu bwebagiwade office ku Masengere era egenda kutandika okudukanyizaako office. Bano Bakulembedwaamu omukulu Kizito Nsubuga nga y’akulira Ebyensimbu mu Buganda.