Home » Events » Masengere awuumye mu kugulawo Office

Ebade Nkuyanja Y’abatu okuva mu Bifo ebyenjawulo nga Enzikiriza egulawo office ku Masengere ekifo ekyaweredwaayo Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi mu kuyambako okukuza enzikiriza wamu n’obuwangwa Mu Buganda ne Uganda okutwalira awamu.

Omukolo guno Gwasombode abantu okuva mu Bitundu ebyenjawulo nadala bajajja b’abaana, abaweka, Abakumamu wamu n’abaluutansozi nga bakulembedwaamu ssabakabona Jumba Lubowa Aligaweesa ne Nabbona Kulanama Nabakooza. Omukolo Guno Ogwayawudwaamu ebitundu bibiri gwalese abantu bawuniikiride olwembeera abakulu mwebajide.

Wakati mu Mizira, Senga Kulanama Oluvanyuma Yayanjude olukiikolwe okusobola okululaga abantu nga bwebatuula ku kibiina kya Tuli Bumu

abamu ku batuula ku Lukiiko lwa Senga Kulanama

Wano Wabadeowo okusiima abakulu nga Mu Bubaka Bwa Ssaakabona Jumba yasiimye Ssabasajja olw’okwewaayo n’akwasa Enzikirza Office era weyasinzide okuvumirira abantu abagala okusanyaawo obuwangwa bwabwe wamu n’okulemesa abasamize okukola emirimu gyaabwe.

Wabula Senga Kulanama naye alaze obwenyamivu eri ba kiyubira njuyi bbiri abasalawo okutagala ng’abayinza obuyana mu bibiina by’abasawo era nabajukiza nga abantu abade bamuvaamu kati bakomawo dda mu tuli Bumu

Jumba Ng’ayogerera ku Masengere

Oluvanyuma Wabadewo okugulawo office mu Butongole era nga wano abakulu abalala nabo betabye ku Mukolo guno.