Ssekiboobo nga ye Mutaka wa Kabaka wa Buganda e Kyaggwe, atuuzidwa ku ntebe era nga gwemulundi gwe ogusoose okulabka mu bantu Bukyanga Alondebwa ku kiffo kino mu nkyuukakyuuka Ssabasajja kabaka Muwenda Mutebi zeyakoze omwaka Guno.
Omukolo guno gubade ku Ssaza ekkulu erye Kyagwe ku kitebe mu ggulu e Mukono era nga gwetabidwaaka Banabyabufuzi, Banannono abaulembeze ku mitendera egyenjawul n’abalala.
Walua Kulwenzikiriza, Ssaabakabona Jumba Lubowa wamu ne Nsubuga Wasswa Aligaweesa bebakiise era nga banirizidwa mu ssanyu.
Mu Njogeraye, jumba asiimye Sssbasajja okukiriza n’abawa Office e Mengo wamu n’okubasaba okusamirira ekirwade kya kookolo mu Buganda ne Uganda. “Ayi bbaffe, gwe Ekisiikirze ky’omutonzi ku nsi, Tusiimye nyo tusiimide ddala, Okusiima n’otuwa office kukizimbekyo ku Bulange Mengo tusobole okudukanyizaako emirimu gy’enzikiriza.