Home » Tondism Faith » Tuliwo Mu Mateeka, Lweere

Bya Munamateeka Kizito Kayiira Lwere

Teri Ggwanga lyonna munsi liyinza kubeerawo nga teririna  mateeka galifuga. Amateeka y’ensibuko y’obutebenkevu era n’okulungamya nsonga yonna.

Ssemateeka wa Uganda ow’omwaka 1995 awa omukisa buli munna Uganda okweyagalira mu buwangwa n’ennono mwasibuka(institution of traditional  or cultural leader’s Act 246 of 2011)

Mu buwangwa bwa wano mu Uganda abantu bakiririza mu; Mizimu, Misambwa , Amayembe, Lubaale, Ebiteega n’ebirara. Naye ate ky’ewuunnyisa nti ate waliwo abantu bangi nga mwe muli abantu abakiririza mu maddini gabagwiira okugeza; abasiramu,abakatuliki, abadiventi namaddini amalala abagamba nti Lubaale wawano Masitani g’ennyini era bino by’okoola, by’emabega nnyo ebitasaanira nakuwulirizibwa.

Gavumenti yawano nga eyita mukitongole ky’ekikula kyabantu n’obuwangwa bwabwe yatekawo abakugu abakulira eby’obuwangwa (cultural officers) naye abasing obungi tebalina kyebamanyi kunsonga zabuwangwa bwawano era bakiririza munzikiriza zabagwira ezivumilira obuwangwa bwawano. Kati wano omuntu y’ebuuza olwo bano bagenda kulungamyaki abaganda, abateeso, abasoga, abanyankole namawanga amalala agakiririza mu mu mizimu, e misambwa n’ebilala.

Waliwo etteeka elyaleetebwa era n’eriwagirwa nnyo abafuzi bamatwaale mu mwaka 1957 (the Witchcraft Act 1957). Bwoba wetegereza nnyo etteeka lino terikiriza bantu kusamira era nabasamize libayita balogo(Witches) Newankubadde muntaputa(interpretation) yetteeka lino lilina ennyingo  erambika nti emyoyo ginansangwa (bonafide sprits) nga mwe muli; abalongo, amayembe, e mizimu, emisambwa oba Lubaale n’okutunda eddaggala ly’ekinansi si kitundu kuteeka lino elimannyiddwa ennyo nga elyabalogo.

Naye nga emirundi mingi buli muntu ayogera oba akiririza mu myoyo gino ayitibwa mulogo era omuntu omubi ennyo akiririza mu masitani nga nabakungu ba Gavumenti bangi naabo abatwaala eby’obuwangwa batyoboolera ddala mu bantu abakiririza mu mumyoyo gino oba lubaale wabwe etteeka ly’egiyita; “bonafide spirits”

Ssemateeka w’eggwanga lyaffe awa omukisa buli muntu okusinza nga bwaba ayagala(freedom of worship). Etteka lino lirambika ntiwano mu Uganda teri nzikiriza yatongozebwa nga ya bwanamunigina nga yetekwa okusinzibwamu (state religion)  nga muno buli munansi mwateekwa okusinziza oba ayagala oba tayagala( Article 7,29 (1) (b). N’olwekyo buli muna Uganda waddembe okusinza nga bwalabye nga tewali amukuba kumukkono singa aba tatyobodde ddembe lyabalala.

Wano mu Uganda singa omuntu abaddeko enzikiriza emu gyabadde akiririzamu namala agivaamu ab’enzikiriza eyo bamulaba bubi nnyo era nga kwebatadde n’okumutyoboola n’okumuvumilira ekyonno nakyo kimenya mateeka. Edda nedda wanomu Uganda abantu bakiririzanga  mu Katonda omu yekka era bamuyitanga amanya mangi agamusuuta nga mwemuli; Ttonga, Wanga, Namugereka, Liisoddene, Were, Ruhanga, Kibbumba, Ddunda namalala. Kino kyebayitanga okusinziza munzikiriza y’obuwangwa n’ennono. Munsiza eno okuva edda abantu bakimanyanga bulungi nti Amayembe, emizimu, e misambwa nabalongo egyo myoyo egiwereeza omutonzi bali abagwira gy’ebayita; “Malaika”oba “Angels”

Malaika oba Angel oba Sitani egyo emyoyo tegikwataganako nakatono mu buwangwa bwawano ebyo bisimbulizibwa mu buwangwa bwa bawarabu nabazungu naye wano babitusibako era nebinywerera ddala ate nebikozesebwa okusannyizawo ddala obuwangwa bwaffe. Bwosoma alipoota y’omukungu wa bungereza Lord Marcaulay gyeyasomera palamenti yabungereza mu 1835 yagamba nti abaddugavu balina empisa era bantu banjawulo nnyo abatasoboka nakufugika okugyako nga bamenyeddwa enkizi zabwe nga by’ebyobuwanngwa bwabwe n’olulimi. Mu Alipoota eno mwe mwava olukiiko tabamawanga; “Berlin conference” okwegabanya  amawanga g’omwana w’omuddugavu nga Keki eyokya. Bannaddini, banabyafuzi ne Kampuni ze byenfuna baakozesebwa nnyo mulutabaalo luno era wano wewaali ensibuko y’okusanyawo obuwangwa bwaffe

Abayivu tukozeseddwa nnyo okutyoboola obuwangwa bwaffe nga osanga buli muntu asoma natuuka ku ddaalalya diguli tasobola wadde okuwandiika ebbaluwa mu lulimimwe okugeza; olulugwala, olusoga, olukyooli, oluganda oba olulimi lwelwona lwasibukamu. Tukuza abaana baffe nga tubategeeza nti okumanya Katonda otekeddwa okuba nga omanyi Kolani oba Baibuli era abo bona abatakikola abo “bakafiri” abagenda okuzikiribwa. Naye olw’okuba batutwalako okwetegerera tewali muntu yenna asobola kwebuuza nti enzikirza zino zakamalawano emyaka nga kikumi mwataano gyoka(150) olwo abo abaafa emyaaka egisuba munkumi ebbiri (2000) bona Katonda yabazikiriza dda.

Ayi Kyetondeka Ttonda!! Kuuma, wonya, eggwanga lyo lino litegedde!!