Nze Nabalongo, muka Budhagali Nabamba owa 39. Era nze Nabalongo muka Nabamba Budhagali owa 40. Nabalongo gwe musambwa omukazi ogufumbira Nabamba.
Nali ndi waka ne nfuna obubaka okuva ew’omusambwa Nabamba. Gwantegeeza nti ‘bwe budde mmaze okuwanika omukono’, era bwe yawanika omukono mu kiseera ekyo ekitono nga baze Nabamba amaze okukisa omukono, obwali obubaka n’eddoboozi ate bwava mu bubaka ne budda mu bantu.
Abantu baatugamba nti wansi ku mazzi kuliko omuntu atuddeko naye tayogera, tayitaba, talya wadde okunywa. Nga kiteeberezebwa okuba nti omusambwa oba ebintu nga bye bimuleese.
Nga nfunye obubaka, nagumira awaka n’abantu be nnali nabo mu lumbe nga sikkirizibwa kuvaayo kujja kulaba muntu oyo ali ku mazzi. Basamize bannange n’abantu abalala baagenda ne bakola emikolo egyo.
Ku lunaku lw’okuvaayo mu mazzi, nail mmaze okunaabako olweggulo, nafunamu kammunguluze. Nawulira ng’engoma zivuga nnyo. Ekintu kyansitula we nnali ntudde, nagenda nziruka naye nga sitegeera bulungi okutuuka ku mazzi kuba essaawa zaali zituuse ez’okuggyayo Nabamba mu mazzi.
Nze nali simanyi nti Nabalongo (omusambwa gwe nkongojja) yali agenda kwaniriza bba Nabamba Budhagali. Nabalongo bwe yatuuka yayaniriza bba era ekiseera ekyo kyennyini kye yatuukiramu.
Emikolo gyagenda mu maaso, ne gitambuzibwa mu butuufu bwagyo nga bwe kyakli kigwanidde. Mu kiseera kino nfuna okwolesebwa nga Nabamba antegeeza nti ‘ye nze nakomawo, tobaamu kuwakana, okweraliikirira oba yadde okubuusabuusa. Tegeeza abazzukulu bonna nga nakomawo ate nange nja kubategeeza’. Era yatandika okulaga abazzukulu be ne wajja okutambulira n’okubalaga abaana be wamu n’okukola. Omuzzukulu agenda okujja ng’amaze okumulaga ky’agenda okukola.