Wakati Mu kyobeero ky’ekirwade ki Kolana ekisensede ensi yona, Abakiriza Ab’olubatu basazeewo bakungaanire ku banguliro ekyeberese mu kukola omukolo ogw’okumalak ekisiibo ekya Jjaja Ssewamala era nga gemadda ga Ssewamala.
Ekisiibo ekibeerawo buli mwaka kuluno singa sintaanya, amajukira gabade gakukwatirwa ku Lusozi Walusi ku Kitebe Ky’enzikiriza wabula olw’embeera y’ekirwade ki Namutta, kwekusalawo emikolo gibeere e Kyeberese ku Bbanguliro ku Liturgy ewa Kabona Katibba Ssalongo.
Omukolo Guno Gukulembedwaamu Ssabaabona w’enzikiriza y’obuwangwa N’ennono Jumba Lubowa Aligaweesa, Ssabaliturgy Kabona Wamala Mbago Katibba Ssalongo wamu n’abalala abatonoo.
Wano wabadewo okusadaaka Endiga Ng’akabonero ak’okuwaayo n’okwegayirira ekisonyiwo eri abantu balamu era ng’omukolo gw’okukuma Ebyooto nga bebaana baliwo.
Jumba Asaba
Jumba Eyabade anekede mu Majolobero G’enzikirza ng’akute Ddamula ow’obukuumi, Yasoose Kufukamira mu biffo ebyobwakatondo era okusaba n’okugulumiza oyo Tonda N’amaanyi wamu N’obuyinza.

Agulumizibwenga Attenderezebwenga aweebwenga ekitiibwa……..
Essaala Etandika..
Bwatyo Ng’ali ne Kabona Wa tonda katibba weyasinzode n’asabira aabantu bona abali mu Nzikiriza wamu N’okusabira eggwa n’abakulembeze ate n’okusaba embeera ekakane. Ono oluvanyuma yasaabye abantu okwagala Tonda kwotade N’okumugulumiza .
Kyoka Ye Kabona Kabona Wamala Mbago Katibba nga Y’akulira ebbanguliro lino asabye abantu okwawula obulimba ku mazima mu Nzikiriza era bategeere nti enzikiriza Z’abagwiira zirina obulimba Bungi Nyo.
“Banafe bagamba katonda Yebasa Adam N’amusokoolamu Olubiriizi n’alukolamu Eva, Ekyo Kyabulimba ate enkoko, Ebiwuka n’ebyewalulra ani yabigyamu embiriizi” Katibba