Home » Tondism Faith » Obutonde N’obubumbe

OBUTONDE

Obutonde ye njawukana y’amatondo. Obutonde mulimu ffe, ebimera, ebisolo, ebinyonyi n’ebintu eby’enjawulo; empewo, amazzi n’ebirala okusobola okubeezaawo ensi mu ddembe, era nga buli kimu kiyamba kinnaakyo. Teri kiriwo kitalina nsonga.

Obutonde kiva mu butondotondo obutono, obwetondeka ku nsi ne bukola obutonde era nga buli kamu kalina obuton- dotondo bwako nga ge mateeka kwe butambulira ekiyitibwa ettondo. Bw’okyusa amateeka gaakyo, okizibuwaliza oku- beerawo, ate nakyo kiyinza okufuuka omutawaana eri ensi oba kabe kasinge, kyo okufuna ettondo.

OBUTONZI

Obutonzi kwe kukola oba okussaawo  amatondo.  Bwe  yali atonda yassaawo amatondo aganaavaamu ebyetaago byonna okusobozesa ebitonde okubeera obulungi mu nsi. Oluvannyuma omwana w’omuntu yatandika okweteerawo ebibye, ebinaamusanyusa n’okulumya abalala ebitaali bya Bwakatonda era ebyayonoona omukwano gwe n’Omutonzi n’obutuukirivu.

Enkeretanyi

OBUBUMBE

Obubumbe ye ngatta y’ebirungo. Obubumbe ye ngatta y’ebirungo eby’enjawulo ng’omubumbi bw’ayinza okugatta ebirungo asobole okuggyamu ekibumbe ky’ayagala, oba ng’omufumbi w’akatogo, oba ng’omuzimbi w’ennyumba bw’atabula enkokoto. Mu birungo ebyo yayawula ennyan- ja n’olukalu, emigga n’ebidiba, emiti n’omuddo, ebiwuka n’ebinyonyi, ebisolo n’abantu. N’ayawula eggulu n’ensi, ebbanga n’olukalu. Mu buli kitundu eky’ettondo erimu n’atondekamu ensi ez’enjawulo, n’ebirungo eby’enjawulo, buli ttondo n’obujjuvu bwalyo, n’alyoka abutondeka nga bw’asiimye bibeere.

Lyo, ettondo ne litandika okuvaamu mu nsibo yaalyo obwe- tondeko bw’obutonzi obwaliwangirwamu, ne buzaalukuka ku nsi. Ate nabwo ne buzaalukukamu ebitonde ebirala. Era buli kimu nga kibeerawo ku lw’okubeerawo kwa kinnaakyo. Eby’omunnyanja bibeerawo ku lw’ebyo ebiri mu nnyanja. Oby’okulukalu bibeerawo ku lw’ebyo ebiri ku lukalu. Eby- omubbanga ne bibeerawo ku lw’ebyo ebiri mu bbanga.

Ensolo ennene zirya ku ntono okubeerawo, n’entono ne zirya ku bitono n’ebiwuka okubeerawo. Obusa ne bufuu- ka emmere y’ebimera, ate ebimera ne bifuuka emmere y’ebyennyanja, n’ensolo ne zifuuka emmere y’omuntu, kyokka ng’omwetoloolo gwonna, Katonda yabitonda nga birina okukolaganira awamu nga buli kimu kirina bwe ki- yamba kinnaakyo. Awo we wava okutuukiriza ebigender-

erwa by’Omutonzi nga buli kimu, kitambulira mu buwange bwe kyawangibwamu, obwo ne bufuuka obubumbe nga gwe mubumbiro ogwawamu.

OBUZAALE

Obuzaale bw’ettondo mwe lisibuka. Buli Kintu ekiri ku nsi kirina engeri gye kizaalukukamu okwala n’okuvaamu ebirala. Gye kinaavaamu kinnaakyo era okwala ne ku- beerawo n’omuntu bw’atyo ebisajja n’ebikazi, ssaalongo ne nnaalongo mu lubiri, era n’ensibuko eva ku kwegatta oku- kubisaamu ebirala ensi ejjule ffe, twedaaza.

OBUNTU

Enjawula y’ettondo. N’omuntu yatekebwamu obutondo obutono, asobole okuvaamu obutonde obulala. Ebinyonyi, ebisolo n’ebirala nabyo bwe bityo mu buwange bwabyo.

ENSI

Omwetooloolo oba ssemazinga kwe tuli. Katonda bwe ya- tonda ensi yasigala nga ye y’agyefugira n’ebigirmu. Tewali amanyi ntandikwa na nkomerero. Tewali amanyi enteeka- teeka n’ekyukakyuka! Ye, gyali. obulamu, n’amaterekero ga byonna, yageesigaliza, ne yeekisa mu njuba ey’omuggulu ne byama bye, eyo mu nju Bbanga. Teri atuukayo. Bamalayika n’ebitonde ebirala bakoma mu ggulumizo. Ebibye bimany- iddwa mwoyo yekka, ekitegeeza mwoyo mw’ava!