Home » Tondism Faith » Kagulu: Olusozi Olwava e Teso Nelusenga e Busoga
BH

Locals climbing Kagulu Hill in Buyende district after President Yoweri Museveni launched it as one of Busoga's tourist sites on Saturday.

NGA May 11  2013, Pulezidenti Museveni yatongozza Olusozi Kagulu, olusangibwa mu ggombolola y’e Kagulu mu disitulikiti y’e Buyende ng’ekimu ku bifo eby’obulambuzi ebikulu mu Busoga.

Abatuuze abaliraanye olusozi Kagulu baali tebalabangako mukolo ogusitula ne Pulezidenti Museveni okujja okulutongoza okubeera ekimu ku bifo ebyobulamubuzi eby’amaanyi mu ggwangwa.

Kyokka olwa May 11 omwaka oguwedde, oluvannyuma lw’empaka z’okuwalampa  olusozi Kagulu, oluliko ffuuti 3,848, lwe baalaba ku Pulezidenti Museveni.

Museveni Ku Lusozi
Pres Musevenii Ku Lusozi

Empaka zaawangulwa Lydia Musubika (12) eyali asoma P6 e Miru Primary, eyalinnya n’okukka mu dakiika 15 zokka!.

Abantu abangi ddala baasigala bagamba nti emisambwa ku lusozi Kagulu gikozesezza amaanyi gaagyo okuyita Pulezidenti, baminisita be okuli ow’ebyobulambuzi, Maria Mutagamba, n’owensonga z’ebweru, Asumani Kiyingi eyalinnya naye n’alemwa okutuuka ku ntikko!

Abakungu b’ebitongole bangi baalemwa okutuuka ku fuuti 600, era bangi bakira beekatankiranga  amazzi  nga baabise ng’enjogera bw’eri.

 Eyo ye yali entikko y’okutongoza olusozi luno, olumaze ebyeya n’ebisiibo nga   lumanyiddwa nti lwa Baswezi (abasamize abatalya byannyanja), wabula we byaggweera nga Gavumenti erututte era kati okululinnyako osooka kusasula!

Ministule y’ebyobulambuzi yamala dda okukutula ddiiru n’amakampuni n’egakwasa  ttenda z’okuddukanya  olusozi luno era zaatandise okugula ettaka ku batuuze abaluriraanye okuzimba  wooteeri,  amaduuka ne ppaaka  z’abalambuzi.  

 Gavumenti era yapangisizza omuyimbi Jose Chameleone, ayimbe ennyimba n’okulutunda mu Bannayuganda n’abagwira, bagendeyo beerabire ku mawano gaalwo wade tekinavaamu kalungi

Sso nga emyaka gyonna Kagulu lubadde lusozi lwabulijjo. Abatuuze babadde bakubako amayinja g’okuzimba amayumba, kutemako miti gy’amanda, ng’abakazi basennyako nku n’Abaswezi nga bakolerako emikolo gy’emisambwa nga bafuuwa emirere n’okweggweera ennyama enjokye n’okunywa enguuli n’amalwa.

ENGERI GYE BYAJJA 

Kagulu hill - uganda attractions, uganda sitesmm uganda safaris
Olusozi Kagulu

Mu December wa 2012, ababaka b’e Busoga nga bakulirwa Sipiika Rebecca Kadaga baakola omwoleso gwa Busoga Tourism Expo e Jinja, n’ekigendererwa ky’okubbula Busoga eyongere okumanyika, Abasoga baganyulwe n’abaana baabwe bafune emirimu.

 Ababaka baazuula nti ng’oggyeeko ebiyiriro by’e Bujagali ebyayonoonebwa nga bakola ebbibiro ly’amasannyalaze e Jinja, Busoga erina ebifo byobulambuzi ebisoba mu 60 kyokka ng’ebimanyiddwa bibalirwa ku ngalo.

Ebimanyiddwa kuliko ekibira Bukaleeba (Mayuge), olusozi Nhenda, ensibuko y’omugga Kiira, Kyando (Bishop Hanninton we yattirwa), amasiro ga Bakyabazinga e Budhumbula (Kamuli) n’e Kaliro.

 Ebiyiriro by’e Isimba ne Izanhiro mu Kamuli, n’olusozi Kagulu.

Gavumenti ebadde tennaba kubissaako mulamwa era abaluliraanye babadde balugalabanja.

LWAKI  LUFUUSE ENSONGA?

Sulaimani Kirunda Balyejusa, agamba nti Kagulu lwe lusozi olusinga obuwanvu e Busoga, luliko ffuuti 3,848 ekirubeezaako empewo ennyogoga ennyo ate bw’obeera ku ntikko, olengera mayiro ezisoba mu 200, olusozi Masaba (Elgon) e Bugisu n’ennyanja Kyoga.

 Luliko omusambwa omusajja oguyitibwa Kagulu, oguwerekerwa emirala 40 egikola emirimu egy’enjawulo omuli okukangavvula abatyoboola amateeka ga mukama waagwo Kagulu.

Mu bugwanjuba  bwalwo eriyo obusozi obulala 6, Bukolimo, Nakyeere, Mawaale, Kagwese, Mpanga ne Butadewo obumanyiddwa nga ‘bakyala” ba Kagulu.

Akuuma olusozi Kagulu ye Mmandwa Kagulu Nabiryo (60),  emisambwa gwe gyerondera okuva mu kyalo Ndalike mu ggombolola y’e Bugaya ne gimukunguzza nga tamanyi ne gimuleeta ku kitebe kyagyo ekiyitibwa “enkuni,” etesaalimbirwa atali Muswezi.

 Eno Abaswezi gye baamusanga ng’alambadde, nga n’ebinyomo bimuwagammidde mu kamwa ne bamukubira eng’oma  okumala wiiki nnamba n’adda engulu,era n’atongozebwa okufuuka akulira Abaswezi e Busoga kuba olusozi lwe  lwe lusinga obuwanvu.

Ku lusozi kuliko ensulo z’amazzi bbiri, esooka abantu mwe banaabira ebisiraani ne basaba emikisa ate eyookubiri y’enywebwamu emisambwa, kyokka okugituukako kuba kusiitaana kuba eri ku kaserengeto ak’amaanyi, wabula ‘balumiramwoyo’ abatuukayo bagamba nti eriko akaato akaseeyeeya, mbu kalimu n’enkasi.

Ebyewuunyo bya Kagulu

KNOW YOUR DISTRICT: Buyende, home to Busoga rulers - Daily Monitor

Koloni Masooma ow’e Buwala mu ggombolola Wankole, kakensa mu kulondoola eby’obuwangwa agamba nti emisambwa okwerondera Nabiryo waali waakayita emyaka egisoba mu 90 bukyanga eyali agisamirira afa.   

Oluvannyuma gyamulondera Yowana Sempa (72) ow’e Buwolero mu distulikiti y’e Jinja  n’amuzaalamu abaana 5.

Nabiryo by’agamba

Buli nkomerero ya mwaka tukuza emikolo gy’okugumalako, tukiyita “kyaaka” kwe tusalira enkoko, embuzi n’ente.

Amazalibwa ga Yesu tugamanyi, yadde nga twawukana ennyambala n’abamadiini abalala, eggoolo tuteeba mw’emu, ey’okusabira abantu, okukkakkanya ku bizibu n’okubawonya ebibaluma.

Ssekukkulu eyaffe etuuka ng’ebulayo ennaku bbiri ey’Abakulisitayo ebeerewo wabula olusooka mu mwaka tulukwatira wamu nabo.

Mu buwangwa, tukkiriza nti mu mwezi gwa December, emisambwa nagyo giba gizingako emirimu ne gigenda mu luwummula nga gyeteekerateekera omwaka omuggya!

Era buli ntandikwa ya mwaka, tukola pulaani z’okwongera amaanyi mu “ddiini” yaffe  ng’okukuuma ebiggwa obutalumbibwa Balokole, okwongera abakkiriza abapya n’okwegatta Gavumenti etumanye.

Ebisolo ebisalibwa biba byeyanzo abantu byebaleeta okw’ebaza  okubawa byebaasaba, emisambwa nezizinywamu omusaayi, ffe netulya ennyama.

Baba b’eyanza obugagga, ezzadde, emikisa, obukulembeze, okufuna emirimu nabaawona ebirwadde  by’empewo.

Amin lwe yasindika amagye okusamirira olusozi Kagulu

Yowana Sempa, bba wa Nabiryo agamba nti edda, waaliwo  Omuzungu eyeekanninkirira n’agenda n’enkasi eno wabula teyagituusa kuba mmotoka yafuna akabenje ne yeevulunga emirundi ebiri era baamuggyamu azirise.   “Baamutegeeza nti enkasi gye yali abba y’evuddeko ebizibu, olwo Abaswezi ne bamutanza enkoko 10, embuzi 7 n’ente bbiri okunyiigulula emisambwa,” Sempa bw’ajjukira.  

Ssentebe wa LC1 ow’e Kyeza-Kibira, ekyalo ekiriraanye olusozi luno, Wilber Kategere yategezezza nti oluzzi okuli akaato lulina “ennyindo”, guyite  omukwesese ogufulumira mu nnyanja Kyoga, era omuntu bw’abbiramu abbukira mu Kyoga eyeesudde kiromita 10!    

EBYAFAAYO  

Kagulu hill - attractions in busoga sub region, uganda safari
Abamu Bawalampa

Kigambibwa nti mu kusooka, olusozi Kagulu terwaliwo, lwali Teso naye bw’agenda okukya nga lusomose ennyanja Kyoga luwambye sikweya  kiromita ttaano era okusinzirira ku byafaayo, abatuuze bonna  abaaliwo baasaanawo! Lwetooloddwa ebyalo Naliina, Gabona, Kyeza Kibira ne Mulali.   Ebyafaayo biraga nti ku lusozi luno, Omulangira Omunyoro Mukama Namutukula kwe yatuukira era ekigere kye we ky’alinnya waasigalawo enjola.  

Namutukula ye yazaala abaana 11, abaavaamu Amasaza 11 ag’e Busoga, nga 5 ku go ge gavaamu Kyabazinga.   Ku lusozi Iyingo, olwesudde kiromita 10, Omulangira Mukama we yatuukira n’eryato  okuva e Bunyoro, we yalireka era na kati ekitundu kyalyo kiri mu bitoogo by’e Iyingo wabula ku Kagulu kuliko ejjinja eryakula ng’eryato liri, era Abaswezi bwe baba bali mu mikolo gyabwe balyebagajja nga bageegeenya jjajja Namutukula bwe yaseeyeeya ng’ajja.  

Mu bukiikaddyo y’eri ekifo eky’emisambwa ekisinga obutukuvu, bakiyita “enkuni” era ky’ekitebe ky’emizimu egisoba mu 40, egiri ku mutwe gwa  Mmadwa Kagulu Nabiryo era wano Abaswezi we basaddaakira enkoko, embuzi n’ente buli nkomerero ya mwaka ne beggweera ennyama n’omwenge, wakati mu kufuuwa emirere.   Amasabo ga Kagulu gasangibwa mu kitundu kya kiromita okuva ku nkuni, era omwo ab’ebizibu ng’abaagala obugagga, emirimu, ezzadde n’obufumbo gye bamusanga.   Emmanga w’embuga eno eriyo olutobazzi lw’e Kibooyo olutaggwaamu bbumba, abatuuze mwe babumba ensuwa ne bayoola ssente  era bakkiriza nti obugumu bw’ebbumba lino buva ku mukoka afubutuka ku lusozi Kagulu.

AMIN YALUKOZESAAKO  

Ku ntandikwa ya 1971, eyali Pulezidenti wa Uganda, Gen Idi Amin yakozesaako olusozi luno n’assaako omunaala gwa ffuuti 150 okwongera amaanyi mu leediyo Uganda.   Ku ludda lw’ebugwanjuba, Amin yazimbako amadaala agalinnya waggulu ate wansi we wali  akayumba omwali jjenereta gaggadde ne “Control Room” omwavanga waya z’amasannyalaze okuyamba omunaala okubaka “sigino” (amayengo) za leediyo.  

Wabula olw’okuba oluusi abamagye baagendangayo, ng’Abasoga balowooza nti Amin asindise abajaasi okusamirira Kagulu amukuumire mu ntebe!   Gavumenti ye bwe yagwa,abatuuze babba macule, jjenereta, waya era payipu z’amadaala  g’omunaala kw’ekoleramu bikondo bya mbalaza z’amayumba  gaabwe!   Omubaka wa Budiope East, Sulaimani Kiunda Balyejusa agamba nti enkulaakulana etuuse kuba abaliraanye olusozi bajja kuguza abagagga ettaka bazimbe wooteeri, ppaaka n’ebibangirizi ebisanyukirwamu.  

Sentebe wa LC3 e Kagulu, Steven Malagala agamba nti abasomye baakufuna emirimu ekitundu kikule kuba awali abagenyi tewabula kaliibwa.   Ssentebe wa Kyeza-Kibira LC1,Wilber Kategere, omukolo gw’okutongoza olusozi yagufunamu kuba yategeeza Museveni nti okuva mu 1987 teri ky’aganyuddwa kuba n’ennyumba asula mu ya ssubi n’amuwa obukadde 3.   John Kaako Sentamu, ow’e Naliina agamba nti bangi babadde tebamanyi nti batudde zaabu era yanenyezza n’ababbanga ebyuma nti singa tebaakikola, kino kyalibadde nnyongeza.   Obuzibu bwe tulina kwe kuyooyoota embuga zaffe zituukane n’omulembe kuba ebyobuwangwa bifuuse kyabulambuzi era tusaba  nti nga Gavumenti  bw’efudde olusozi luno ekyobulambuzi, esseewo ssente tuzimbe embuga zaakaayakane, abalambuzi beeyongere.