Bya Sseviiri Omutabazi
Mukwano gwange omu yambuuza nti lwaki wesiba kubintu ebyo nemuddamu nemugamba nti siffe abesiba kulubaale wabula Lubaale atunonyeza nsonga era bwolowooza nti onamwejjako oba osemberedde okufa; Ye okusamira kyeki??Okusamira kigambo ekitegeeza okukowoola.
Nze mukutegeera okwange okusamira kwekwenyigira mumikolo egisembezza emyoyo egyatabaalwa bajajjaffe abatusooka nga batunonyeza okweyagala awamu nokwesiima. Jjukira bulungi emyoyo Gino babaka bakatonda abatukiriddeSsente nyingi zitokomose mukwagala okuzawula ensonga zalubaale mumpya ezenjawulo bangi nebawunzika nga banjala ngalo ,okwawukana nokusiraana obutadda ngulu.
Abaffe , ki ekileeta kino ngate tubeera tukimanyi nti empewo zezigenda okutuwa emirembe nga abatusooka bwebaali.Kyannaku nnyo okulaba nga empewo muzinonyezza mumukwano omungi naye ate nakalembelezza akatono kemubadde nako nekabamuka.Kiki ekileeta embeera eno….;
Kankumenyeremenyeremu ebitonotono waddenga sibyebyenkomeredde.Okugezesebwa / Akassera – empewo bwokirizza nozikola oluusi zikuteeka mumbeera eppima emeemeyo oba ddala nggumu ekimala Ebigezo bingi atenga ebimu kubyo byebayittamu byeebyo ebibeera mubulamu bwaffe obwabulijjo. Mweebyo mulimu okuletera abalabe ,okuletera obwaavu ,wamu nokwawukanya nebaganzibo.oluusi kino kitunyiiza naye Babeera bakutemera kkubo likuzza bujja.
Kogeza kakutanda nosimattuka kalebule oluusi obeera ogalinye gyegava nanti akassera kabeera kakulemye. Waliwo nomutendera Gwamusajja mukulu #Bulamu_Kitaka_nawansi ngamazze okukalizibwa naye aleeta embeera nyingi notuuka nokulowooza nti mwasamira byokoola kuba enkolaye yakusooka kufukuuza bikyamu bibeera mukika olwo nalyoka abawa ettu lye lwakuba ffe abalya emmere amaaso gatuli nnyo mungalo tetusobola kumanya biri buziba.
Okweyagalizza – ono yoomu kukanaluzaala webizibu ebilemessa okugussa ensonga.
Bwemubanga mukungaanye ngekika waliwo abenganda abakola ekkobaane nebassenkulu nebesamizza ebyobulimba nebakirizizza abalala nti ddala zempewo zabwe zenyinni. Bano batwaala obudde nga batendekebwa eneyisa yempewo era bwebatuuka kumwaliriro befulira ddala empewo nebazibikira entuufu eziba kubalala okwetaaya kuba ne Lubaale tasobola kulamulira wali mivuyo. Kati balumanya ne basalumanya bwebaddayo nga bawoza twakola empewo kumbe bali kubyooya byanswa. Embeera bwetyo tekuganya kwenyumirizza mumpewo kuba amazima gabeera gekweese mabega.
Okupappa: okupappirizza okwagala okola ebyamangu nakyo kilemessa emyoyo okubawa obwelinde obumala okubeyanjulurizza lwansonga mwagala musamire ekinene ennyo wiiki emu buli kimu kibeerenga kiwedde.
Abamu bwebaaza leero ngenkya basalira mpewo nokuwanga .buggubuggu ono taliimu kalungi konna kazza mumyooyo kuba temuyinza kumanya buvo nabuddo bwaajo kuba mubanga abakola okwejjako. Mukupappa abamu tebawaayo budde kumanya lunyiriri ki bajajabwe lwebatambulirangamu.wesanga nti empya yamwe yaffumbe nga abagisamizanga bammamba Laba ate gwe bwoleeta ssenkulu owakasimba , nebwabeera nga alina obukugu obwenkizzo ayinza koma kuwabula sossi kubakwatira munsonga kuba bwazikwatamu azitta.
Obukugu: Obukugu kikulu nnyo eri mwe abanoonya empewo neeri Oyo agenda okubazaala mumpewo.Naye ebyembi osanga gwemuyita ssenkulu ngobukugu bwe buli mukuvumula ddalu nattalo ate nemumutikka omulimu gwokusamizza ekika kyokka ate tayinza kubagamba mazima kuba abeera alabye ssente.
Obukugu bulimu okugoberera emitendera okuva kugusooka mpaka kugusembayo. Singa mubuuka emitendera nemusoosa ekisemba oba okusembya ekisooka nakyo tekibaletera Mirembe. Obukugu tebweyolekera mubungi nabulungi bwamasabo Muntu galina oba obukulu mumyaka kuba ensangi zino kano nako kafuuka kakodyo kakubbirako Bantu( ssibona nti bwebali)Mubukugu mulimu akawayiro akakassa nti oba ddala omuntu agenda okubazaala mumyoyo yassamira natuuka kumutendera ogumuweesa obuvunayizibwa obwo kuba toyinza kubanga wasamira mayembe gakika nga tolina musambwa gwa Muwanga nakawumpuli nolowooza nti onasobola okusamizza ekika nekifuna emirembe.
Obusobozi. Omuntu ayinza okubeera nomukwano eri empewo wamu nobumalirivvu naye obusobozi bwensimbi nebumubula okutukirizza emitendera egisinga okuba eminene kuba ensangi zino buli kimu kiggulwa ssente Teri kyabwereere. Ate jjukira lubaale tebamwewolera.
Obufere: Obufere bungi ddala naye kunsonga eno njakudda mbaawulire obufere mubassenkulu nabakongozzi kuba musomo mulamba.
Nze Sseviiri omutabaazi W’ensi