Home » Tondism Faith » Obukulu bw’essaala – Ntambi za Mukama
Ntambizamukama

Essaala kwe kulaajanira omutonzi oyo asukkiridde ali waggulu wa byonna n’omujjukiza bye wandibadde nabyo nga tobirina. Mu ssaala weefaako wekka,  byonna n’obisuula n’oba n’obuwombeefu nolaajanira Omutonzi.

Mu nzikiriza y’obuwangwa n’ennono tukkiriza nti eriyo Katoda omu. Abantu baalalambaza ensonga naye nze bwe nkugamba nti ndaajanira Mutonzi awo tobaamu na kubuusabuusa. Kyokka abantu abamu balina olutalo naye nga ffe tetubuusabuusa.

Mu buwangwa n’ennono, essaala esinziira ku buzibu n’embeera gy’olimu, Bw’eba ya ssanyu osoma yakwesiima ne bw’eba ya nnaku era owaayo eyo eraajana. Olaba obudde nga bwe bukedde ne bwe buzibye. Bw’oba omweteefuteefy obulungi, ne bw’oyogera ebigambo bibiri kisinga oyo ayogera ebigambo 30 ebitatuuse.

N’olwekyo osobola okusaba essaala emu yokka olunaku nga ya nsonga era n’etuuka. Naye kakasa nti akadde ako okawaddeyo eri Omutonzi wo. Mu ddiini endala n’oli ky’atannamanya bwe kinaaba akiwaayo eri Omutonzi. Oluusi kino kiba kikyamu.

Teri ssaala eteri ntuufu, naye ekyo ky’okolerako ekyo ky’okola y’ensonga. Tosaba ssaala ya kawungeezi n’okikola ku makya. Noolwekyo bw’oba omutendeke w’oyawulira by’osaba n’okwawula essaala entuufu. Omuntu ayinza okukurendeka ye Mutonzi yennyini ne bakabona.

Omutonzi ayagala nnyo ggwe otwale ekigambo kyo eri ye awatali kuyita mu muntu mulala. Ennaku zino essaala zaffe ze tuyisa mu bakabona ziwanvuwa kubanga a bamu baagufuula mulimu, ate abalala alowooza okuyisaawo essaala ennyimpi ku lw’oyo gw’ayamba ng’ayinza okulowooza nti takoze, ky’ava akola emikolo emingi awanvuye obuweereza.

Waliwo enjawulo wakati w’essaala ne ssaddaaka. Essaala kuba kwebaza, ate ssaddaaka kwebaza na kwetonda. Essaddaaka guba nga mutango, olw’ensobi gye wakoze. Bw’oba okola ssaddaaka osooka kwebaza olw’ebikuweereddwa olwo n’olyoka owaayo ssaddaaka.

Ssaddaaka eva ku kwetoowaaza kwo kuba nakyo kiweebwayo. Oyinza okuwaayo emmwaanyi, okusala ekisolo oba ekinyonyi n’ebirala nga bw’oba olabye.

Mu nzikiriza y’obuwangwa n’ennono tusaba oyo gwe twagala obubaka butuuke. Bw’aba Ttonda, Ssewamala, Kiwanuka buli omu oyinza okumusaba nga bw’olaba obuvunaanyizibwa bwe. Obuzibu bwe tulina kwe kuba nga bangi baayawukana ne bakitaabwe, ku ba awo emikisa baagitta. Omuzadde gw’olina okulaajanira ye n’atuusa ekizibu kyo eri Ttonda. Kiwulirwa mangu nga kitaawo alaajanye eri Katonda okusinga ggwe okulaajana. Kyokka bangi  bakiwagi, y’ensonga lwaki tetufuna nnyo nga bwe twandifunye.

Ddi essaala lw’eyinza obutakola?

Tetuli beegendereza era obutaba beegendereza kitugaanyi okumanya Katonda. Twakolebwa nga taata y’alina obuvunaanyizibwa naye ggwe bw’omubuuka n’otomera Katonda oluusi kye tuva tetufuna. Ne bakabona gye tuddukira bw’aba yatendekwa bulungi ajja kukuzza ewa kitaawo asooke akulung’amye. Kirabe bw’oti: Bw’oba tokkiriziganya na kitaawo, kyokka osaba Katonda, kale kinaaba kitya? Kitaawo bw’aba yafa bw’osaba era ajja kukuwolereza eri Omutonzi kuba era gw’ajja okusooka okubuuza.

Tokkirizanga okwawukana ne bakadde bo, kuba olwo teba akuwolereza eri Katonda akkakkanye obusungu bwe. Katonda akuyambira mu buwangwa bwo, era ssinga  kino kikolebwa  abantu bajja kuba bulungi.

Okutoola akakadde ka ssente okuziwa omusawo w’ekinnansi akukolere ekijjulo nammwe musobola okukikolera mu maka ga jjajjammwe. Naye temukyafaayo ku ng’anda, ku bakadde bammwe. Ekijjulo ky’osasuldde ew’omusawo oluusi kiyinza n’obutakola nga ssinga wabaawo omuntu atalina kukikwatako kale ssente ne zikufa bwe zityo.

Jjajja muntu mukulu mu luggya lwammwe kuba y’agatta enda. Mmwe bwe mugenda mu madiini ne bababuzaabuza.