Home » Events » Alipoota Y’omwaka 2020 eya Ssabakabona
Jjumba Lubowa

ALIPOOTA YA SSAABAKABONA EY’OMWAKA 2020 ESOMEDDWA
KU MIKOLO GY’AMALAMAGA NGA 1 GATTONNYA 2021 E WALUSI

MU BULEMEZI

ENYANJULA:
Mbalamusiza mwena abantu ba Ttonda mukulike nnyo okuyita mu mwaka omukadde guno gwetukubye olukku mu mutwe. Tufiiriddwa abantu baffe bangi, tulumbiddwa ebirwadde ebikambwe ate nga okwo kwogase ne by’obufuzi ebikambwe. Tusaba omutonzi ayongere okussa ekisonyiwo
gy’etuli.


Bulijjo nkola yaffe nga abakiriza b’enzikiriza y’obuwangwa n’ennono okulamaga wano ku Lusozi lw’omutonzi olutukuvu Walusi nsi. Tulamaga Kulusozi wano ewa jjajja Walusi okuddamu okulaga obumu bwaffe n’omutonzi waffe Namugereka neri omutukuvu Sewamala Musoke, okusaba emirembe eri ensi yaffe, okusumulula byonna ebyalema, okusumulula emizimu gy’abajjajja ffe egyasibwa kunjegere era
n’okwesabira emikisa egy’anamadala.


Nnyaniriza Jjajja waffe Bujjagaali nga y’emugenyi omukulu mu malamaga gano ne Professor Wangoola Wangoola Ndawula okuva mu bwa
Kyabazinga bwa Busoga bakulu tubaaniriza nnyo.
Nebaza Kabona Kimera Kibombo atwaala District eno eye Luweero ne
Kabona Lugayaavu nga bali wansi wa Ssaabayima ne Maama Naabayima
ababadde abateesiteesi abakulu abamalamaga g’omwaka guno.


EKITABO EKITUKUVU OMUZAAWULA

May be an image of outerwear
No photo description available.


Omulimu gw’okufulumya ekitabo ekitukuvu Omuzaawula tegubadde mulimu mwangu era gutambulidde ebbanga lya myaka ebbiri miramba.
Omulimu guno gwakwasibwa Kabona wa Ttonda Mbago Kattibba e Kyeberese . Nina essanyu lingi ddala okubategeeza nti omulimu gunno guwedde. Ssebo Kabona Kattibba n’olukiiko lwo era nabawandiisi mwenna
ababadde basula nga temwebase emisana n’ekiro tubayoozayooza
mwenna olwo’kumaliriza omulimu guno.

Muliyogerwako mu byafaayo byensi nga mwe bali abasaale abaleetera
ensi ekitaangaala olw’obubaka bwa Ttonda obujjudde mu Kitabo kino
omuzaawula Njakusaba Kabona Kattibba Minister wa Liturgy atuwe
alipoota kwebyo by’emuyisemu okutuuka okufulumya ekitabo kino
ky’ekitabo kyaffe kyetwalindilira obwedda era temuddamu kwogera ku
Baibuli oba Koran olwaleero tuzaawuddwa kubanga ekitabo “Omuzaawula”
ekijjudde obubaka bw’omutonzi kilangiriddwa eri ensi.


OKWEBAZA EKITONGOLE KY’ABASAWO – TULIBUMU
Nebaza President General Nabbona Nabakooza Kulanamana Nakayima
akulembeera ekitongole ekigatta abasawo b’ekinansi mu Ggwanga ekyaa
Tulibumu – National Union of Traditional Healers and Herbalist Association
olw’omulimu omunene gw’okoze nga oyingiza abasawo munzikiriza
y’obuwangwa n’ennono. Tukwebaza okuvujjilira ensimbi emirimu
gy’enzikiriza ate n’okubeera omukono gwaffe ogwaddyo mukuwanilira
emirimu gy’enzikiriza ate n’egyabasawo b’ekinansi.
Tukusaba oyongerere ddala obuwereza buno mu maaso ate n’okuleeta
abasawo bangi bakansirwe ate bakomewo munzikiriza ya bajjajja babwe.

OBUJJUMBIZE
Njagala okwebaza bakabona bange mwenna abalaze obujjumbize nga
mukola obutebaalira e mirimu gy’enzikiriza. Mungeri ey’enjawulo n’ebaaza
Ssaabalambi Kabona Buyondo Maanyigalubaale Ssalongo, Kabona
Kakata, Kabona Lugayavu, bakabona abatwaala zi Districts
nabakulembeze mwenna ku mitendera egy’enjawulo mbebaza byansuso
obujjumbize ate n’okwerekereza ensimbi, obudde nabuli kimu nga mukola
butebalira.


EKITONGOLE KYABAVUBUKA
Omwaka guno ekitongole kyabavubuka ky’ekimu kukitongole ekisinze
okukola obulungi: Kikoze omulimu ogw’okukunga abavubuka,
okubasomesa ate n’okuwagira emirimu gy’enzikiriza tubasaba mugende
mu maaso. Ekitongole kino kilulemberwa Kabona Kasajja Ssendagire
(Afande) era nga kyakurabirako kirungi eri abavubukk. Tukusaasira
akabenje Ssebo kakulike era twongera okusabira.

EKITONGOLE MPAMBO MULTIVARSITY – ENAKABANGO
Ekitongole kino Kikulemberwa Profesor Wangoola Wangoola Ndawula era
nga ono ye Ssabatinzi. Ekitongole kino Kivunanyizibwa okunoonyereza ku
magezi n’ebikusike by’omwana w’omuddugavu, okuyigiriza n’okutendeka
bakabona ate n’okutuyunga ku Kitongole kya UNESCO ekitwaala
obuwangwa munsi yonna n’ebitongole oba abantu obawagira emirimu
gy’obuwangwa. Ssebo professor tusiima obuweereza bwo era tukusaba
ogende mumaso nga otuteekerateekera ekiseera kyonna.

EKITONGOLE KYASSABAYIMA NE MAAMA NAABAYIMA
Kino ky’ekitongole ekivunannyizibwa okuteekerateekera olusozi luno
olutukuvu Walusi nsi. Kikulemberwa Ssaabayima Kabona Mugalula,
Maama Naabayima, Kabona Nswanonde, mwami mpiima ne bakabona
abalala abatuula mu kifo kino. Tubasaba mugende mu maaso ng
muteekerateera bulungi ekifo kino okukituusa ku mutindo gw’ensi yonna
era tubasubiza obumu bwaffe.


EKITONGOLE KYABAYIMBI


Ekitongole kino kikulemberwa Ssabayonza w’enzikiriza y’obuwangwa
N’ennono Kiggundu Basajjabaka. Obubaka bw’omutonzi eri abaddu
nabazaana be bulabikidde nnyo mu nnyimba za Ssabayonza ne Choir
y’enzikiriza spiritual Choir. Bulijjo tubeera nabo mukusinza n’emikolo
egy’okutendereza era mukoze omulimu gwa tendo okutumbula ekitiibwa
n’omutindo gw’entendereza munzikiriza yaffe.
Ekitongole kino kyeyungiddwako omuvubuka owamanyi nga ye Ndugga
Bamweyana abangi gwe baali bamanyi nga Hassan Ndugga ate nabayimbi
abalala. Tugenda kumukolako emikolo gyonna era n’okumuwa olukusa
okutandika essinzizo mu Kibuga Kampala tubasa era mutuweereze
enteekateeka zamwe ez’omwaka guno 2021 olwentereza ennungi.


OMUSANGO GW’ENZIKIRIZA MU KOOTI E LUGAZI
Omusango guno abakiriza bangi mubadde mugugoberera nga guli mu kkoti
e Lugazi era gutuuse okusalwa.

Tusuubira nga ennaku z’omwezi guno tegunagwako omusango guno
okusalibwa. Omusango guno gwabyafaayo kubanga gwayimilirawo
olw’okumalawo abantu abatyobola enzikiriza yaffe n’okutuyisamu amaaso
atenga ekyakabi ennyo nga bakiriza baffe ab’enonyeza ebyabwe mbasaba
mwenna okugya mu bungi mu kooti e Lugazi kulunaku luno okusobola
okulaga obumu bwaffe.
EBY’OBUFUZI MU GWANGA
Embeera y’ebyobufuzi muggwa yeyongedde okusajjuka era tulabye abantu
baffe bafiiriddwa obulamu bwabwe. Tusaba banabyafuzi batuule bateese
wabeerewo okukaanya n’okutwaala eggwanga lyaffe mu maaso. Tusaba
ne bana Uganda mwena n’ebitongole ebikuuma ddembe mwongere
okukolelera emirembe munsi yaffe.

OBUTABIRIZA BWE MASAKA
Obutabiriza bwe Masaka bukuremberwa Ssaabatabiriza Kato Ssenkandwa
ate era nga yakulira ekitongole ekibunyisa enzikiriza mu Uganda ne mu
Africa yonna Tukwebaza olw’obuweereza obulungi ne bakabona bonna be
mukurembeera obutabiriza buno. Tubasa okuteekateeka omukolo
ogw’okutuuza Ssaabatabiriza we Masaka mubutongole ne bakabona
abalala.


EKITONGOLE KYAMAWULIRE
Ekitongole kino kikuremberwa Kabona Kakata tukwebaza olwobuweereza
obulungi ate n’obutacuukacuuka tukusaba ogende mu maaso. Tulina
n’omukutu ogwa Sk7 oguddukannyizibwa Mwami Solomon Bakama era
tubasaba mwena mugukozese bulungi tusobole okubunyisa obubaka
bw’enzikiriza.


OLUKIIKO LWA HIGH COUNCIL


Luno lwe lukiiko olukulu olw’enzikiriza y’obuwangwa n’ennono oluturako
abakulu b’ebitongole bonna. Omwaka guno gubaddemu ebisomooza bingi
era terusobodde kutukiriza buvunnyizibwa bwalwo nga bwetwaali
tuteeseteese. Omwaka guno olukiiko lugenda Kuteeka mu nkola ebintu
bingi era tusuubira enkyukakyuka nnyingi munzikiriza y’obuwangwa
n’ennono

ABANTU BAFFE ABAFUDDE
Tufiiriddwa abntu baffe bangi nga mwemuli Kabona Kawekwa Kijjo,
Nabbona Tumusiime Kashillingi nabakiriza bangi. Tusaba mwena
mubasabire Ttonda abasaasire byonna ebyabasobako.
OKWEBAZA OMULANGIRA DR. WASAJJA
Twebaza omulangira Dr. Wasajja olw’okuteekateeka emisomo ku mikutu
gya utube, facebook ne mikutu gya internet emilala.
Tukwebaza okubeera omusoomesa omulungi; omunonyereza ate
omuwabuzi era tukusaba ogende mu maaso n’enteekateeka bwezityo
ENTEEKATEEKA Y’EMIRIMU NAMUTAYIKA 2021
Bino wamanga byebimu kubikulu ebisuubirwa okukolebwa.

  1. Okutekawo essinzizo lya ssaabakabona
  2. Okutegeka ekisaakate kyabaana abato ebusoga ekikwata kunzikiriza
    y’obuwangwa n’ennono
  3. Okutuuza ba Ssabatabiriza ne bakabonaa ba District
  4. Okuggulawo amasinzizo okwetoloola eggwanga
  5. Okuteekateeka enkungaana z’okubunyisa enzikiriza muggwanga
  6. Okuteekateeka ekivulu ky’enyimba z’obuwangwa “Komawo eka
    Concert” 2021
  7. Okuteekateeka olunaku lw’obuwangwa olweggwangwa (National
    Cultural Day)
  8. Okutuuza enkiiko ezitekerateka enzikiriza buli Kiseera
  9. Okufulumya ebitabo byennyimba, ekitabo kyemikolo gy’okuziika
    n’ekisomesebwamu abakiriza abasooka
  10. Okusomesa n’okubunyisa enzikiriza nga tuyita kumikutu gya
    social media n’emikutu gy’empuliziganya emilala

OKUFUNDIKIRA
Nga maliriza njagala okwebaza mungeri ey’enjawulo Jjajja wabaana
Muwonge NJogerere okulungamya ensonga z’obuwangwa n’okusingira
ddala okulungamya bazukulu ba Wamala.

Ntwaala omukisa guno era okubategeeza nti Jjajja yatuwa ezzadde elyo
mwana ow’obuwala ne mukyaala wange Ssenga Kulanama Nakayima
Jjumba era twamutuuma Nabbona Nabisaso Namirembe Nakayima
Mbategeeza era nti Kabona wa Ttonda Ssewamala Kabona Wenakaseke
amaze ebbanga ddene nga mukosefu mbasaba mwena Jjaja bawadde
obusobozi mumuddukilire kabona waffe. Musobola okuntukilira oba
okutukilira Kabona Mbago Kattibba.
Mwena abawaddeyo, abalamaze omwakaguno, namwe mwena abakoze
ekisoboka okuyimirizawo amalamaga gano mbasabira emikisa gya Jjajja
Sewamala.


Nsaba ba Kabona ba Districts nabakulira ebitongole okuweereza
enteekateeka zamwe ez’emirimu mu office yange nga ennaku z’omwezi
15/01/2021 tezinayita. Mbasabira okuyita mu biseera by’okulonda mu
mirembe ate n’omwaka ogujjudde ebibara.
Ayi omutukuvu Ssewamala kuuma eggwanga lyaffe era otuwe emirembe.
Nze,

………………………………………………………
SSAABAKABONA JJUMBA LUBOWA ALIGAWEESA SEMULI
MUYUNGA
EMPOLOGOMA YA SEWAMALA