Home » Community » Bujagali 40, atuuzidwa

Bujagali wa Busoga omugya atuuziddwa mu butongole n’Omusumba w’Abalokole abaddewo

AKULIRA enzikiriza y’obuwangwa n’ennono mu ggwanga, Jjumba Lubowa Aligawesa yenyamidde olw’obwavu obuyitiridde mu bantu b’e Busoga naddala mu basawo b’ekinnansi wamu n’abasamize.

AKULIRA enzikiriza y’obuwangwa n’ennono mu ggwanga, Jjumba Lubowa Aligawesa yenyamidde olw’obwavu obuyitiridde mu bantu b’e Busoga naddala mu basawo b’ekinnansi wamu n’abasamize.

Jjumba Lubowa Aligawesa ne senga Kezia Kulanama ngabawubira ku Ssabalangira wa Busoga Nkutu Samuel-ekifananyi kya Emmanuel Balukusa

Aligawesa ategeezezza ng’abasawo b’ekinnasi bangi mu Busoga bwe basusse okubeeraa abaavu era ngono asuubiza okukolera awamu n’Obwakyabazinga bwa Busoga ssaako ne Hassan Kirunda Bujagali omugya, okubulwanyisa era okubukendeeza.

Bino abyogeledde ku kyalo Kyabirwa mu Kibuga Jinja ku mikolo gy’okutuuza Bujjagali omugya oluvannyuma lw’eyali Bujagali okufa era n’aziikibwa ku kyalo Bujjagali.

Atuuziddwa ye Hassan Kirunda ng’ono ye Bujagali omugya era ye 40.

Atuuziddwa ku mbuga ye era emikolo gikolebwa ku kyalo Kyabirwa era ng’abasamize naddala Abaswezi be basinze okugyetabamu.

Ssaabalangira wa Busoga, Samuel Nkutu Zilabamuzaale ye mugenyi omukulu   ku mikolo gino.

Hassan Kirunda Ssabalda (atayambade ssati)atuziddwa nga Bujjagali omugya-ekifananyi kya Emmanuel Balukusa

Wasswa Mwiri akuliddemu okutuuza Bujagali omugya asiimye enkolagana Jjumba Aligawesa ssaako ne mukyala we Kezia Kulanama gyebalina n’abasamize ssaako n’abasawo b’ekinnansi abakolera mu Busoga.

Hassan Kirunda okufuuka Bujjagali ava ku kyalo Buyanda-Kijja mu ggombolola y’e Kidera mu disitulikiti y’e Buyende.

Emikolo gyetabiddwaako ne Bishop Samuel Lubogo owa Charismatic Church.

Image
High Priest Jumba Lubowa and Bishop Lubogo Samuel