
LUBANGA YAANI.
Lubanga Mwooyo, Maanyi era Buyinza bwa mutonzi Bwajuliriza mu Kabaka Bulamu Kabaka Kinene, Ssewamala, Walumbe, era Lubanga ne Nanyini Kubanga. Lubanga Yavunaanyizibwa Kukuffa era enyumba ye ezimbubwa nga ya Nsonda Nya Nga Ntaana.
Lubanga Omusambwa, Embuga yaagwo etuula Buluuli bwaba Mubuzaale, era effumu lya Lubanga Kyekifumu kyebasimisa ebinya by’enyumba.
Omutegeera Otya.
Omulabira kubaana abayiika Endusu, abakubwa Ensimbu, Y’akyaamya Emimwa, Yakyuusa endabika omuntu naaba nga Omugogo, Y’akubya abaana Yaabwe (Emandwa Yaabwe ya Wansi ne Wagulu). Lubanga y’avunanyizibwa kukusiba abalongo era omuntu akongojja omusambwa Ogwo yeka y’asiba abalongo. Lubanga atuula ku bakyaala.
Endabika Ye.
Lubanga Mukazi Musajja era ayitibwa Nalongo oba Lubanga era taliiko bukazi oba Busajja yona agwaayo.
Lubanga bw’abeera mubutonzi ye Ssewamala. Emandwa eyo yesimbirwa olwango kubanga ne mundabika abikibwaako lwakuba aba akenena endusu era abeera n’endali.
Amabanja ga Lubanga Ogalabira Kuki.
Lubaga abanja singa buli mwana gwozaala akubwa Yaabwe (Emandwa Yaabwe), amaka tegabulamu Nsimbu, ba Zolo, abayiika Endusu n’ebilala. Lubanga Aleeta Obulema, era abaana bazalibwa nga Balema singa aba abanja kubanga atambula n’omwooyo gwa Kitinda/Wanema.
Lubanga aleeta Obusobe era osanga ng’abaana bawasa banyinaabwe, bazaala mubenganda ab’ekika n’ebukojja.
Omukola Otya.
Lubanga tebasobola Mukola nga omuntu tasamide era omuntu yena asooka Kusamira olwo n’alyooka akakanya emandwa eyo.
Atuulawa.
Mubuzaale atuula Buluuli, wabula Mubutonzi atuula kumwaliriro gwa Nabamba n’ogwa Musoke naye asinga kutuula kumwaliriro gwa Nabamba.
Atuula Kubantu ng’emyooyo emirala?
Atuula ku bantu naye tayogera