Home » Community » Okutuuzibwa Kwa Budhagali 40th.

Abaswezi ngabakuma ensisira ya Bujjagali-ekifananyi kya Emmnanuel Balukusa

Bya Lubowa Kiggundu

AKULIRA enzikiriza y’obuwangwa n’ennono mu ggwanga, Jjumba Lubowa Aligawesa yenyamidde olw’obwavu obuyitiridde mu bantu b’e Busoga naddala mu basawo b’ekinnansi wamu n’abasamize.

Aligawesa ategeezezza ng’abasawo b’ekinnasi bangi mu Busoga bwe basusse okubeeraa abaavu era ngono asuubiza okukolera awamu n’Obwakyabazinga bwa Busoga ssaako ne Hassan Kirunda Bujagali omugya, okubulwanyisa era okubukendeeza.

Bino abyogeledde ku kyalo Kyabirwa mu Kibuga Jinja ku mikolo gy’okutuuza Bujjagali omugya oluvannyuma lw’eyali Bujagali okufa era n’aziikibwa ku kyalo Bujjagali.

Abaswezi Nga Bakuuma Ensiisira Ya  Bujagali

Abaswezi Nga Bakuuma Ensiisira Ya Bujagali

Hassan Kirunda (atayambadde Ssaati) Atuuziddwa Nga Bujagali Omugya

Hassan Kirunda (atayambadde Ssaati) Atuuziddwa Nga Bujagali Omugya

Bujagali Omugya Hassan Kirunda Ng'ayita Mu Kiyitirirwa Ekyamuzimbiddwa

Bujagali Omugya Hassan Kirunda Ng’ayita Mu Kiyitirirwa Ekyamuzimbiddwa

Jjumba Lubowa Aligawesa Ne Mukyalawe Ssenga Kezia Kulanama Nga Bawuubira Ku Ssabalangira Wa Busoga Nkutu Samuel

Jjumba Lubowa Aligawesa Ne Mukyalawe Ssenga Kezia Kulanama Nga Bawuubira Ku Ssabalangira Wa Busoga Nkutu Samuel

Bp. Samuel Lubogo Naye Yeetabye Ku Mikolo Gy'okutuuza Bujagali.

Bp. Samuel Lubogo Naye Yeetabye Ku Mikolo Gy’okutuuza Bujagali.

Omukyala Ng'ayingiza Emisito Gy'ennyama  Mu  Kasiisira Ka Bujagali

Omukyala Ng’ayingiza Emisito Gy’ennyama Mu Kasiisira Ka Bujagali

Abamu Ku Bacwezi Abeetabye Ku Mukolo Gw'okutuuza Bujagali Wa Busoga Nga Bakuba Ebivuga

Abamu Ku Bacwezi Abeetabye Ku Mukolo Gw’okutuuza Bujagali Wa Busoga Nga Bakuba Ebivuga

Atuuziddwa ye Hassan Kirunda ng’ono ye Bujagali omugya era ye 40.

Atuuziddwa ku mbuga ye era emikolo gikolebwa ku kyalo Kyabirwa era ng’abasamize naddala Abaswezi be basinze okugyetabamu.

Ssaabalangira wa Busoga, Samuel Nkutu Zilabamuzaale ye mugenyi omukulu   ku mikolo gino.

Wasswa Mwiri akuliddemu okutuuza Bujagali omugya asiimye enkolagana Jjumba Aligawesa ssaako ne mukyala we Kezia Kulanama gyebalina n’abasamize ssaako n’abasawo b’ekinnansi abakolera mu Busoga.

Hassan Kirunda okufuuka Bujjagali ava ku kyalo Buyanda-Kijja mu ggombolola y’e Kidera mu disitulikiti y’e Buyende.

Emikolo gyetabiddwaako ne Bishop Samuel Lubogo owa Charismatic Church.