Walusi-Nsi

Walusi Hill

Walusinsi Cultural and Spiritual Heritage Site is located in Uganda in the Suncounties of Kamira and Kikyusa of Luwero district! According to popular lore, it is one of the resting places of Family Ancestral Spirits and the Birth Place of Clan, Lineage and Tribal Guardian Spirits responsible for protection and guidance for the survival of societies.


It is one of the places where peoples from all walks of life flock without the expected tribal or ethnic tensions because it’s believed that all are returning to a spiritual home where they re energize before rejoining their communities restored and healed of any prevailing conditions!

Over the years and owing to the influence of foreign religions, Walusi and places like it became underground destinations where adherents came in secret under cover of darkness or disguises!

When the current Ugandan president came to power, he is rumored and confirmed by his own writings to have come this way and other places to secure his victory! It’s not surprising that under his regime African Spiritual Practice has thrived!

Consecration of the High Priest JJumba Lubowa Aligaweesa

Walusi y’ani?

Walusi kiggwaayo nti Walusinsi, ekitegeeza omwaliiro oguleze n’okuwambaatira ebiramu byonna. Njogera ku nsi na bulamu n’obutonde bwayo. Ekitebe ekikulu ekya Walusi kitudde Kikandwa mu muluka Kiwanguzi mu ggombolola y’e Wabusaana mu ssaza ly’e Bulemeezi.

Walusi alina ensozi ze okwetooloola ensi yonna okwateekerwateekerwa obutonzi, obutonde n’obuwangwa bw’abantu. Kuno kw’otwalira n’ebiramu byonna. Wano e Bulemeezi , Walusi alina emitwe 102, bwe bwagaagavu bwe nga gya nkizo nnyo mu bulamu bwaffe. Era n’enzizi zaakwo nga ziri mu kifo kimu ziri 102 abantu kwe banywa amazzi naye ng’ekyewuunyisa, ne bwe kiba kyeya enzizi ezo tezikalira! Abantu batambuza ente zaabwe okuva e Nakasongola n’awalala ne zijja zinywa mu nzizi zino ku kyeya.

Ensozi zino zifukamirwamu olw’abantu okunoonya emikisa, obulamu, okusumulula ebyabasobako, okunoonya enzikiriza yaabwe (obutonzi), okumanya ebibakwatako mu buwangwa, obutonde n’obutonzi kubanga ago ge masiga asatu ensi kw’etambuliza okumanya kwayo.

Olusozi Walusi

Okuva ku lubereberye kw’okubaawo kw’abantu n’okutuusa kaakati, abantu bamanyi nti ensozi zino y’ensibuko ya byonna. Eno nsibuko ya misambwa, emyoyo, okumanya n’okutegeera ng’ekyokulabirako, ensozi zino mwe mwafukamira abatakansi n’abantu ab’obuvunaanyizibwa okukoowoola nate Obwakabaka okuddawo, ekintu kye tukakasa nti kyatuukirira kubanga tubulina.

Abantu be bamu abo mu nsozi zino mwe baafukamira okwegobako effugabbi lya Obote ne banne era mwe twasinziira okuleeta obukulembeze obutufuga na leero.

Mu nsozi zino okuva okubaawo kw’abantu n’okutuusa kaakati muzze mutambuliramu Abasiige okuva mu Bika eby’enjawulo okutuusa ku Basiige abasembyeyo mu Kika ky’Enjovu omuva Omusiige  Ssebyayi Kyabangi n’Omuweeka Maama Akukireeka Namuganyi ow’Empindi. Abo nno okwolesebwa kwabwe baakufuna eyo mu myaka gya 1962 ng’obutonzi bubakoowoola, era bajjanga ne bakola emikolo kuno ne baddayo okutuusa mu 1972 bwe baasitukira ddala amakanda ne  bagaku ba mu nsozi zino. Ensonga enkulu ezaabaleeta kwe kuzzaawo Obwakabaka, okutereeza eby’obukulembeze mu ggwanga ne mu Afrika okutwaliza awamu, okumanyisa abantu obutonzi, obutonde, obuwangwa bwabwe n’obulungi obubirimu.

Wangoola and Budhagaari
Prof. Wangoola and Late Budhagali

Okusobolola ebyo ebizze bisoba mu mawanga gaffe, Ebika byaffe, mu nzigya ne mu mpya zaffe, omulimu gwe baakola obulungi nga babikkula emyaliiro, egyo egiri mu mayinja ne mu njazi Omutonzi mwe yakweka o bubonero n’obulambe bwa buli kintu nga bwe kyabaawo mu nsi muno.

Ebyafaayo bya Walusi bitugamba ensi nga bwe yatandika era bitulaga okubeerawo kw’ebintu byo nna, ebirina obulamu n’ebitalina. Tutegeezebwa nga ensi tennabaawo waaliyo akatonnyeze, ako kajja kayingiwala bwe kagejja ne mwekola ekizikiza. Ekizikiza ekyo mwalimu emiramwa, amaloboozi agaali gajjudde okusiiya, okutokota, okubwatuka, okusaalirira, okubugujja n’amalala nga bwe gawulirwa okuva mu biramu byonna ebyagabana ensi.

Okusaanawo kw’ekizikiza mwava emiriro egyekung’aanyiza mu njuba, emmunyeenye n’emyezi ne mu lule lwa Musoke. Olwo ensi n’egabana obutangaavu. Amabala ga Musoke ageekung’aanyiza mu lule olwo egyo ne gibeera emibiri omusanvu egy’Obwattonda era nga gy’emyoyo omusanvu egikola Obwattonda.

Ekizikiza ekyo mu kusaanawo kwakyo mwavaamu empewo n’omuyaga omwali amaloboozi  ng’enkuba etonnya nnyo, emiriro n’amaloboozi nga biri wamu kintabuli, okwo kwe kwali okubeerawo kw’ensi n’okwegabanya kwayo. Ebyo byonna byali wano mu nsozi z’e Walusi era obubonero bwabyo bweyolekeras mu nsozi zino n’okusingira ddala e Mirinze mu zzaaliro.

Mu nsozi z’e Walusi tuyigirizibwa emirembe egyajja gibaawo okuviira ddala ku gwa Katonnyeze, omulembe Omuzigi, Ekizikiza, Obutangaavu, ogw’Eggi, omulembe Olubereberye,  omulembe Omuberusi, Omulunguusira, Omululumo, Omuwawa, Omuganda ne guno gwe tulimu omulembe Omutinzi. Gino gy’emirembe 12 ensi mwe yaakatambulira.

Walusi ayongera okutuyigiriza nti olukalu lwabaawo, n’olubisi ne lubaawo. Ziyite ensozi n’ennyanja. Mu kubaawo kw’ennyanja, ensulo ate nga ziva mu nsozi, ky’ova olaba teriiyo mazzi gakulukuta nga gambuka olusozi, wabula gava mu nsozi ne gakkirira.

Mirinze

The Nature remains of the Python creature for the Creation account in Mirinze, Walusi

Bw’otuuka mu zzaaliro e Mirinze, ogumu ku mitwe egisangibwa mu nsozi Walusi, gukulaga bulungi olubereberye lw’okubaawo kw’ebiramu n’okubaawo kw’omuntu. Kubanga omuntu tasookanga biramu kubaawo, wa bula muvannyuma ku byo. Ebiramu ebyayalulirwa  mu jjaluliro e Mirinze bye bino: ebisolo, ebyewalula, ebibuuka, ebiwuka n’ebimera. Ezo ne zibeera endyo ettaano omuva ense z’abantu.

Ebiramu ebyo nga bijja bizaalukuka mwe byazaalira Enkerettanyi (ebiramu ebyefaanaanyirizaako ensolo) era ezo ze zaasima empuku mu nsozi zonna kubanga zaalina obuyinza n’amaanyi mu butonzi. Olw’okuba nga zo zaalii zaawukanako n’ebisolo, zaawuliranga empewo era Enkerettanyi ezo ze zaavumbula omuliro mu mayinja.

Enfaanana y’Enkerettanyi, ezimu zaabanga n’ebiwaawa nga zibuuka, zaalyanga middo na bibala. Bwe zaavumbula omuliro ne zitandika okwokya emmere olw’okubeezaawo obulamu bwazo. Ezimu zaabanga n’emitwe nga ogw’ekyennyanja naye ng’emikono gya bantu. Ezimu zaatambulanga ng’abantu, ezimu nga zirina engalo 12 oba okusingawo, nga waliwo ezirina obuwuuwo, emikira n’ebirala.

Enkerettanyi embereberye yayitibwanga Kijjolooto. Era yali nsajja, ate enkazi ng’eyitibwa Nakijjolooto omuva erinnya Kijjo ne Nakijjo. Kino kiyinza okukulaga Ekika ky’Engeye kyakumeka mu Bika? Olw’okubeera ng’abantu bavudde mu  biramu ebyo bye tulabye mu ndyo ettaano, awo we wali amakulu g’okweddira emiziro n’obubbiro mu mawanga ag’enjawulo.

Omutonzi yateekateeka amayinja n’enjazi mu nsozi ez’enjawulo okuterekamu obubonero n’obulambe nga naawe omuntu bw’ofiirwa kitaawo n’omuzzaayo ku butaka. Waali otuuma ettaka oba oluusi n’ozimbako ejjinja ky’oliraga abaana n’abazzukulu. Amayinja n’ njazi bye  bijjukizo. Mu nsozi za Walusi mulimu ebifo bingi eby’omuwendo era eby’ekitii bwa.

Mulimu Obuwanuka, omuwanukira amalobozi ssinga wabaddewo obwetaavu eri abantu. Mulimu Obukkiro, emyoyo gyonna we gyakkira. Mulimu Mayembegambogo, eyo gye tuyita ewa Gguluddene. Mulimu ekifo kya jjajjaffe Ssewamala, oyo atudde n’ekiragiro ky’okuzaala n’okwala okujjuza ensi eno.

Tulinamu ekifo ky’Ennombe,nga z’enzizi  12 ezeesima zokka era tezikalira era n’amazzi gaamwo ga mukisa eri abantu bonna nga toyawudde nzikiriza. Mulimu ebifo ebirala bingi nnyo ebiraga obutonde bw’ensi eno.

Ebikolebwa ku Walusi

Ku Walusi abantu bajjayo okwenenya n’okwegayirira ate era n’okusaba. Okuwonyezebwa endwadde n’okusobololwa okuva mw’ebyo ebyabasobako. Bino babikola nga bayita mu mikolo omuli okufumba ebijjulo, okuwaayo ebibala, okuwaayo obubaani, okukuma ebyoto n’okunaazibwako. Mu nsozi z’e Walusi muno emikolo mingi egy’Obwakabaka egikolerwamu n’egyo egitannaba kutuukirira naye nga byonna buvunazanyzibwa mu nsozi za Walusi.

Walusi taboola ggwanga newankubadde Ekika. Ky’ova olaba nga Obwakyabazinga bwali butuuseeko wano, Obugabe bwa Ankore, O bukama bwa Bunyoro n’amawanga amalala agatwetoolodde n’agali ewala. Tukyaza abantu bangi n’okusinga ennyo abanoonya okumanya ebikwata ku ssemazinga waabwe Afrika n’engeri gye bayinza okubeerawo ku ssemazinga endala ezibeetoolodde.

Ani akuuma olusozi luno?

The Sacred Hills of Walusi... - Tondism Faith - Official | Facebook

Buvunaanyziibwa bwa Walusi ng’omusambwa era buvunaanyizibwa bwa Ttonda okuleeta muno Abasiige  nga bava mu Bika eby’enjawulo n’amawanga ag’enjawulo. Ku mulundi guno nga tumaze okuviibwako Omusiige Ssebyayi Kyabangi ne maama Namuganyi Akukireeka, Walusi ne Ttonda tebannatuddizaawo Bwamusiige. Ffenna abatuddemu tulindirira bulindirizi kubanga Obwamusiige tebulondebwa bantu wabula nga naffe bwe twaleetebwa obuleetebwa nga tuli Bakabona okuva mu Bika eby’enjawulo, tuyambako kw’abo abazze n’ensonga zaabwe.

Enzikiriza y‘obuwangwa n’ennono

Enzikiriza gwali gumu ku miramwa egyaleeta bakadde baffe mu nsozi z’e Walusi mu 1962. Bakadde baffe baagezaako okuwandiika ebyo ebyajjanga bibaweebwa omwali Obwattonda okukaayana nga bugamba nti emirundi gyonna, bwe muteekateeka embaga mukola za mizimu gya bajjajja bammwe naye nze siteegekerwanga mbaga. Yagamba nti muddeemu munsinze, mungulumize kuba nze nnyambadde Obwattonda omuva Obwakatonda bw’obujjajja bwammwe.

Yalagira okukubirwanga ebivuga ebya buli kika nga tukung’aanye ku lulwe, okumuyimbira ennyimba omuli n’ezamaloboozi nga tusuuta ettendo lye. Era yatussiza ebitontome (essaala) ebijjudde ebigambo eby’amagezi mwe tuyita okumusinza, okumutendereza n’okumuwa ekitiibwa ekimugwanidde ebintu bye tukoze obulungi. Ennyimba weeziri, ebivuga okwo n’ebitabo biwandiikiddwa ebinnyonnyola wamu n’omuli ebitontome ebimusinza.

Si ekyo kyokka, atuwadde n’obukulembeze, obwassaabakabona ne bulabika gye tuli, obwannaababona, bakabona ne bannabbona abaseesaamu ng’abo bonna balyoyi ba myoyo gyaffe.

Ekifo kya Ssewamala

Mu kiseera kino, Ssaabakabona w’enzikiriza y’obuwangwa n’ennono gye tuyita Tondism Faith ye Jjumba Lubowa Aligaweesa. Omulimu omunene gwe yeebagazze kwe kutalaaga wano ne wali okutuusaayo amawulire n’amaloboozi nti ffenna tudde eka ku nsibuko z’obujjajja bwaffe awali obulamu n’emirembe.