
Enzikririza y’obuwangwa n’ennono kyekli?
Lino ly’ekkubo erituusa omuntu ku bwenkanya n’amazima ng’ayita mu kwefumiitiriza , ng’atya Ttonda Namugereka awamu n’ababaka be, gy’emisambwa, abalongo n’amayembe. Gino gye gimu ku myoyo omusanvu egikola empummumpu y’Obwattonda. Buli lw’omanya ebintu ebyo n’obirowoozaako otegeera Ttonda Nnamugereka.
Kiki kyoteeegeeza n’emyoyo omusanvu?
Gy’emyoyo omusanvu oba ffe gye tuyita emisambwa, (Abazungu gye bayita Angels) egyeyolekera mu Musoke (rainball).Abo ababaka Ttonda be yatuma, buli omu okubaako n’ettoffaali eryabumba ensi eno. Musoke bw’akwata ku ggulu teguba gumu, ggwe olaba Kyenvu naye nga munda eriyo amabala amalala mukaaga.
Mulimu: Kyenvu ye Musoke, Erimyufu ye Kiwanuka, Eryeru ye Musisi, Kiragala omukwafu wa Kitinda; kiragala ow’amazzi ye Ndawula. Orange oba kipaapaali teyaligaba ate Kakobe (Purple) ye Kawagga.
Kati ate olwo Ssewamala Musoke y’ani?
Emyoyo egyo omusanvu bwe gumala okuwera, gikola kye tuyita Ssewamala. Oyo ye mwana wa Ttonda omubereberye gwe yakwasa ebiramu byo nna wamu n’ebyeggulu. Ye Kabaka w’ensi n’eggulu.
Ate Yesu?
Ekyo kikoppe. Okubaawo kwe kuli mu myaka 2020 sso nga Ssewamala wa myaka emitwalo 7. Ssewamala tafa, mwoyo ogutafa, w’ali, talivaawo sso nga Yesu yazaalibwa n’ayonka n’amabeere, yafa n’akubwa n’emiggo. Yesu abbulukukira mu muzimu, sso nga Ssewamala mwoyo oguwambaatidde emyoyo gyonna.
Mmanya ntya nti Ssewamala waali?

Bwe bulamu bwo. Ttonda bwey ategeka okubaawo kw’e nsi yakamuka ttondo era lye lituviirako okuyita enzikiriza eno Tondism. Ettondo eryo mwe muva obulamu. Ebiramu byonna biva mu mazzi kuba ku lubereberye gaali mazzi ate nga n’ebitabo byonna ebitukuvu bigamba nti bwe byali olubereberye bwe biri ne kaakano era bwe biriba. Okuva mu ttondo eryasooka eryakamuka n’olwaleero ebiramu byonna bwe bikola, ne bw’eba mbaata oba muntu, nte n’ebirala bikamuka ttondo okufuna obulamu.
Kati ate Adamu ne Kaawa?
Kikwasa ennaku omuntu okutulimba nti Adamu ye yali omubereberye ku nsi, nti era Kaawa yava mu lubiriizi lwe. Batulimba era nti Adamu baamubumba mu bbumba, ssinga bwe kyali n’olwaleero taata bw’aba agenda okutonda omwana mu mukazi yanditaddemu bbumba ekitasoboka. Jjukira nti bwe kyali olubereberye bwe kiri ne kaakano era bwe kiriba emirembe n’emirenbe.
Ttonda bwe yamala okubumba omulembe ogwa Katonnyeze, yagubumbako omulembe ogwokubiri ogw’ekizikiza. Mu Katonnyeze mwe yategekera byonna ebinaabaawo, ebiribaawo n’ebiriwo. Bayibuli eyogera ku kizikiza naye teyogera ku byali mu kizikiza.
Biki ebyalimu?

Ekizikiza kyamala emyaka 1000 nga tekyenyeenya. Mu kizikiza mwalimu omuklembe ogwokusatu oguyitibwa Omulawula, gwali gwa muliro gwokka nga tannaba kutonda biramu. Omuliro ogwo gwe yakwata n’aguzingazingamu enjuba. Mu njuba mwe yassa emyoyo omusanvu nga be babaka be abanaamuyambako okutegeka ensi.
Katonda atudde mu muliro, mu njuba era ensi yonna ky’eva ekuma omuliro kuba obwo bwe bulamu. Ne mu masinzizo bakuma emisubbaawa okwesembereza omuliro, bw’oba tolina muliro tolya. Obwo bwe Bwakatonda. Wadde Ttonda yatuula mu njuba, era yeekweka n’agikwasa Kiwanuka nga bwe bulamuzi. Enjuba yagyambaza engule n’agikwasa Ndawula.
Omulembe ogwokuna gwe Nabulamu, gwe bayita Ttondo Ttonda. Yategeka eggi mu bisenge byalyo n’assaamu endyo ttaano omuli olw’ebinyonyi n’alukwasa ennyonyi Muzinge ekulire ebinyonyi byonna. Ebyewalula yabikwasa Mmamba; olw’ebimera yalukwasa Mpindi n’ategeka ebisolo n’abikwasa Njovu ate ebiwuka bikulirwa Nseenene. Wano Obwakabaka we butandikira.
Mu ndyo yassaamu abantu babiri, omusajja n’omukazi. Omusajja ye Muntunsolo Kijjolooto Ssenambi ne mwannyina era mukazi we Nassanga Nassolo. Abalala kwe baggya Adam ne Kaawa. Ffe mu nzikiriza tugamba nti ekitonde ekikazi n’ekisajja byonna Ttonda Nnamugereka yabitonda omulundi gumu era birongo. Era Ttonda ky’ava agamba nti yatutonda mu kifaananyi kye.

Okweyanjuluza kw’ekizikiza.
Ttonda bw’amala okutegeka ebintu ebyo byonna, yayabya ekizikiza. Kwali kubwatuka okw’amaanyi okulinga laddu. Buli ddoboozi erikozesebwa ku nsi liva mu kizikiza kino. Buli kitonde kyonna, enjazi, amazzi byonna byali mu kizikiza ekyo. Emyoyo omusanvu gyayabako Ttonda okumaamira eggi, nga bw’olaba Musoke bw’asimba erudda n’erudda. Enkalu yali ku lusozi Mirinze e Bulemeezi. Ekizikiza bwe kyeyanjuluza kyakankana nga n’omukazi bw’amala okuzaala n’akankana. Musisi ye yawwebwa obuyinza okwetoolooza ensi mu Bulaaya, Asiya ne Afrika ng’eggi lyabise. Awo Omutonzi wwe yatubulirako. Eggi bwe limala okwalulwa, ebisusunku tebiba na mugaso wabula akaana. Akaana ako ye Ssewamala. Ebisusuku gwe gwali omubiri ogwatonda SSewamala. SSewamala kitegeeza nti nkumaliddemu eby’ensi n’eggulu, buli anannoonyanga tandabenga era ggwe Kabaka w’ensi n’eggulu. Ffe tugamba nti wadde Ttonda yabula, naye yaddayo n’awummulira mu mmunyeenye eyo ennene eyitibwa Sseng’endo eyeetooloddwa obumunyeenye obutono obungi.
Musisi yeetoolooa ensi yonna ng’awerekerwako Bamweyana eyagendanga ayana. Nabamba gwe mwoyo ogwaggya eggulu wansi n’alibamba waggulu. Era ekikolwa ky’Obwannabamba kujja ngalo wansi n’ozitwala waggulu mu kabonero k’omusaalaba bannaffe ke babba ne bawangamu ekifaananyi kya Yesu.
Kitinda ye yayanjala ensi, n’ategeka ebiyinja, ensozi, emitendera, ebiwonvu, ebikko, ennyanja, entobazzi. Kawagga ye yalagirwa okuba obulamu eri ebintu byonna. Okuwagga kitegeeza okufuuwa empewo, nga bw’olaba amawuggwe bwe gawagga. Okugeza omuntu bw’assa, akapaapaali ne bwe kaba tekateekako bwe kafuna obwakawagga obwo kassaako.
Ndawula ye yatuggyako ebyoya bye twalina mu kusooka, n’assa enjala we zirina okugenda. Buli kitonde kyonna Ndawula ye yaliyooyoota okutuuka w’okirabira. Kiwanuka yawongebwa oba okusaddaakibwa okweyimirira ebiramu. Ensi gye tutuddeko mpange nga bw’olaba bwe bawanga amasabo oba ennyumba. Kiwanuka yasaddaakirwa mu muliro era atudde omwo. Ebiramu tebiimalenga gaviibwako bulamu bwabwe kasita bamanya nti Kiwanuka muwonge. Ssainga Kabona akwata akaliga akateewalukidde,, akalaba obulungi akatali kalema n’akayisa ku muliro eyo ssaddaaka eyinza okweyimirira omuntu n’atafa. Y’ensonga lwaki mu nzikiriza tetulya ndiga kubanga y’ekweyimirira. Kiwanuka ye mulongo omukulu akulira abalongo bonna n’emyoyo gyonna.
Omuntu waabulijjo alina kukola ki mu nzikiriza?
Bw’oba oyagala okwenunula, okuva mu mbeera embi kkiriza bakabona ba Katonda bakubuulire ebigambo bya Ttonda, bawe omutima. Olina okusinza buli lunaku. Buli kitonde okusinza tteeka, buli lunaku waakiri emirundi esatu. Emmambya bw’esala olina okusinza, mu ttuntu ng’enjuba ereeze mu kawompo, awo obwattonda oba nabwo. Okusaba kuno okw’omu ttuntu kutandika ku ssaawa 6:00 ne kukoma ku ssaawa 8:00, mu biseera ebyo wonna w’osabira essaala eba nnungi nnyo. Kale awo ofukamira ne weewombeeka n’osaba ate n’oddamu akawungeezi ku ssaawa 12:30 ng’enjuba egenda okutuusa ku ssaawa 4:00 ez’ekiro.
Lunaku ki olw’okuwummula mu nzikiriza y’obuwangwa n’ennono?

Luba Lwamukaaga kubanga tukkiriza nti Omutonzi bwe yali atonda ensi, yagitandika ku Lwassande n’amaliriza ku Lwomukaaga. Kale kw’olwo tolina kukola, genda osinze, yambalako ulungi, tokolerako byambyone.
Ensinza y’obuwangwa n’ennono eyawukana etya n’ey’Abazungu gye baaleeta?
Twawukana mu kusinza ku anga ffe tusinza Ttonda Nnamugereka ate bannaffe basinza Katonda. Yawukana nnyo kubanga ekigambo Ttonda kitegeeza oyo eyeetonda yekka na yekka era eyatonda ebiramu byonna. Ate Katonda kitegeeza Katonda muntu ate ye Ttonda Mwoyo. Obwakatonda bukolagana n’emibiri emiramu okugeza embwa bw’esisinkana embwa ezaala mbwa, omuntu azaala muntu. Kale kiringa bo bannaffe abasinza omuntu. Ekirala ffe tusinza mu nnimi zaffe, Omulugwala asinza mu lulwe, n’Omugisu, Omuteeso bwatyo. Bannaffe basinza mu Luganda naye n’ebikolwa ya Bazungu na Bawalabu. Peetero bwe yawandiika ebbaluwa teyagiwandiikirako Baganda oba Banyankole oba Baganda sso nga yali abalaba naye kuba si babe.
Ng’amadiini gano tegannajja, ensi teyaliimu bisiyaga, baana bawala kugenda ku nguudo okwetunda. Obusungu bwa Ttonda buvudde ku mizikiti na makanisa ng’abantu basinza mu ngeri etaabalagirwa. Faaza ayimirira z’ali n’agamba nti mugernde ,uzaale mwale era alifa tazadde talifumbirwa, kyokka nga ye tawasa. Kati oyo aligenda mu Ggulu? Baatulimba nti enkomerero ya mwaka gwa 20o0 naye nagwo gwayita. Baatugamba nti Katonda tazaala, kyokka ate bagamba nti Yesu mwana wa Katonda.
Obwakatonda bwogerera mu birooto era nabo bakukkiriza kuba Yesu yayimiriranga mu nsozi z’e Sinai n’afuna obubaka. Kaakati bw’oba otegedde nti Obwakatonda bwe bukuwabula n’okukulung’amya kati weebuuze nti bannaffe abo bo baloota mu Luyisirayiri? Lwaki bw’ofa bakuziika ku muzikiti nga bw’onmooba okomawo ojja kubbulukukira mu baana bo? Omuntu bw’afa ne mumuziika ayitibwa mugenzi, bw’akomawo tumuyita muzzi mwe muva ekigambo Muzimu. Eriyo omuzimu gwe wali olabye nga gusaba ssappule oba Tahbir?
Katonda w’Omulokole wa mputtu, mulina kumwasira okulabika. Naye ffe olutuula n’oyimbamu ennyimba z’abalongo n’eza lubaale ng’alinnya ku mutwe. Kati balinnya nsozi okukuma ebyoto naffe gye tubeera. Kale weewuunya abantu! Ku nsi, Abaddugavu tumazeeko emyaka emitwalo 5, bo Abazungu bamazeeko emyaka emitwalo ebiri n’ekitundu. Kati bayinza batya okuba nga be batusinga okumanya Katonda?
Lwaki abantu basaba ne batafuna?

Kubanga basaba bubi mu ngeri etaabalagirwa. Olaba omuntu eyeeyita Jalia, asaba ng’ayagala Katonda amuwe omutwalo. N’atandima ng’akoowoola Katonda nti ,….”Nze Jalia, nsaba ompeeyo omutwalo….” Ati ekiro ku ssaawa mwenda, Katonda n’enmyoyo omusanvu bwe bakola ttaba miruka okugaba ebirungi n’ebibi, bw’awulira eddoboozi lya Jalia awa w’e Buwalabu ku banga liri mu nnono y’eyo sso si yiyo. Musaba mugaggawaza balala. Weeyite Nakatudde kubanga liri mu buwangwa bwo.
Nabbi Muhamad yafiira Madina era amalaalo ge gali mu mayinja ag’omuwendo era mazimbe. Kyokka amalaalo g’omusiraamu yenna tebagakkiriza kugassaako wadde ejjinja omuzimu gwa jjajjaawo gunyiige gukusiraanye.
Lubaale, Omuzimu, amayembe, Omusambwa n’abalongo byawule bli kimu okisse mu luse lwakyo.
Kitaawo wadde wamaanyi nnyo bw’akwata omuggo n’oddukira mu kitanda ewa jjajjaawo takuggyaayo. Ne jjajjaawo tasinga mukulu wa kika n’oyo tasinga wa asolya. Omuzimu gutudde ku mutendera gwa LC I era gwe gusookerwako naye tuguwa ekitiibwa era gwe mugairizi ogusooka. Palamenti gyeri, naye bw’oba oyagala amazzi ku kitu ndu ebbaluwa ogiggya wa LC I.
Ejjembe gy’emyoyo bajjajjaabo gye baaleeta ku Kika okuyambako mu mirimu egy’enjawulo, ge maanyi agayamba ku ebyo by’otobola kweyambako. Waliwo amayembe ag’obutonzi agatawangibwa. Muno mulimu Lukwata, Nnamuzinda, Kkunsa erikunsa empewo. Eyo lye limenya obusolya bw’abantu. Waliwo ejjembe lya Musisi eriyitibwa Lubanga erisisimula ettaka ne linyeenya. Eryo lye liseeseetula ebyazi n’ensozi n’okubunyisa amataba eri abo abataamutegeera.
Omuzimu gw’osaba ekyokulya, ejjembe osaba bukuumi n’okuyigga ssente entonotono, ate emisambwa gigaba bulamu n’emirembe. Abalongo be balongoosa byonna ebikulemeredde. Ebyo byonna si Katonda, waggulu waabyo eriyo Ttonda Nnamugereka.