
God in Tondism faith is known and understood with special names: – Kyetondeka, Ttonda, Namugereka, Omulezi w’ebitonde, Ddunda, Lugaba, Mukama, Omutenza Ggulu, Liisoddene, Kiwamirembe among others.
- Kyetondeka – means he has no beginning and end
- Ttonda – He is the creator of Heaven and earth and Universal spiritual Authority and the most perfect being
- Ddunda- A good shepherd
- Namugereka – He has decision over life and death
- Omulezi w’ebitonde – He is the overall authority over all creations
- Mukama– means the Lord Almighty
- Omutenzaggulu – The Lord of heaven and the universe and the solar system
- Liisoddene– He has the capacity to see the invisible and forecast the future.
- Kiwamirembe – The source of peace, freedom and stability
- Gguluddene– He is magnificent and great
There are many other names and descriptions referred to God all for the intention ofexultation and abundant praise and glory to him

According to the faith interpretation God almighty is one but he divided powers to different spiritual powers that is why human beings have power to bring other humans, animals have powers to bring more animals, insects can bring more insects and all living creatures carries Godly authority to pro-create. In the spiritual world God transferred part of his powers to different spirits within the Universe and these spirits are his messengers.
KATONDA N’OBWATTONDA
Obwattonda kitegeeza Katonda, engeri gye yatondamu n’engeri gye yatondekamu ebintu eby’enjawulo mu miten- dera egy’enjawulo, okufuuka enteekateeka ye mu nsi won- na. Ensibo y’okutonda eri mu ttondo. Ttondo kiteegeza en- tonnyeze. Entonnyeze za kulungo ng’eggi, nga munda mwe muli ensigo, mu kika kye kirungo eky’obulamu eky’amazzi ag’eddongo.
Ettondo y’ensibo oba enkwaso. Ettondo lirimu ebitundu bisatu;
Obuto – Ekitegeeza ekintu ekipya Obutonnyeze – Ennamba y’ekintu, kwe kulamba
Obutondo – Ettondo, omuva amateeka g’ekintu oku- beera ekiramu
Obwattonda bugwa mu biti bino; Olubereberye, Obutonzi, Obutonde, Obubumbe, Obuzaale, Obuntu n’ensi.
OLUBEREBERYE
Omutonzi ng’agereka ensi nga Nnamugereka, nga yata- bula ebirungo eby’enneetondeko, n’assaawo enteekateeka n’enkola esaanira mu nsi yonna, olwo n’atandika okubanga n’okugabanya buli kimu nga bwe kinaabeera nga mwe muli ebintu, abantu, ennimi, amateeka n’ebirala bye tumanyi
n’ebitamanyiddwa. Okutonda okwo tekwakoma awo, yasi- gala agenda mu maaso bw’atyo mu buli kintu era aggyawo ebimu ku ebyo ebibaddewo, bw’alaba nti tebikyasaanira n’ateekawo ebipya, era nga yeeyambisa enneetondeko ezo, n’abisindika mu nsi, ne byetondeka, era ne bivaamu ebi- tonde ebirala.
Mu kiseera ky’enkuba okutonnya wajjawo embuyaga nga ya bintu bisatu;
- Embuyaga esooka nga gwe muggundu, okwerula ekkubo.
- Embuyaga ey’okubiri ejjiramu ebimyanso, ng’empiima, okumanya oba ekyo ky’ekitundu ekituufu, awagenda okukolerwa omulimu gwa Katonda. Bwe wabeera nga si watuufu enkuba n’embuyaga biwuguka ne byeyongerayo.
- Ng’omutonzi akola enteekateeka, ey’ekitundu ekyo w’anaakolera omulimu asooka n’asindika akaliro oba akatangaala akafumiitiriza embeera y’ekitundu ekyo, nga katono nga bwolaba x-ray, ne kaaka nga kamulisa mu kitundu ekyo kyokka, Omutonzi w’asuubira okukola omu- limu gwe. Bwe bubeera kiro kabeera ka mwezi. Bwe bu- beera emisana kabeera ka musana.
- Ekyo bwe kiggwa ne wajjawo ekire eky’amatondo amanene agasooka. Gagwa limu ku limu nga gapima oba watuufu oba si watuufu nga bwe gazzaayo amawulire. Bwe wa-
beera awatuufu geyongera ku musinde n’ekigendererwa eky’okusisimula ebitonde.
- Ekyo bwe kiggwa, olwo n’ategeka ekire ekijja nga kyetisse ebirungo, ne kiteekebwa mu kitundu ekyo kye nnyini, ebi- rala ne biddirira ng’embuyaga, enneetondeko, ebimyanso, eggulu okubwatuka n’obukubakuba, nga yo yennyini ten- nayiika.
- Bwe bisanga nga watuufu, wajjawo embuyaga ey’ekimpoowooze. Etera okubeera ng’ennyogoga n’ekire ekikutte enzikiza. Oluvannyuma wajjawo obutangaavu, olwo mu kire ne muvaamu amatondo amalala amanene naye nga matono ko. Ago ge tuyita enneetondeko. Gakuba limu ku limu nga gagwa wansi okumala obudakiika bu- tono oba ebbanga eppime.
- Olwo, enkuba yennyini n’etandika ng’egobererwa em- buyaga ey’amaanyi ng’eyongeramu emisinde, ebimyan- so n’okubwatuka kw’eggulu. Amazzi ne gayiika mu bungi, wamma ne lukoya okukulugussa n’okunyweza ensigo z’enneetondeko wonna buli wamu we zaagali- bwa ng’obutonzi bwe bubeera bwasazeewo. Ate enku- ba bw’ekya, ng’enneetondeko zibulamu okuggumizibwa n’okubunyisibwa, enkuba eddamu, ng’eggumiza ebifo, en- neetondeko mwe zaagudde, nandiki nga tewaamatidde. Olwo enkuba n’ekya.
Katonda teyatonda mulundi gumu:
- Katonda yasooka ye n’atereeza enteekateeka y’omwoyo
gwe, nga gukola ng’amasannyalaze.
- N’azzaako emyoyo ng’ababaka, emyoyo ng’abakuumi era
abaweereza ku nsi ne mu ggulu.
- Olwo n’atonda ensi ez’enjawulo ezikola emyetoloolo oba zi ssemazinga, n’ayawula zi ssemazinga embeera, n’enkula yaazo.
- Yassaawo emyoyo, obutonde n’ebitonde nga mwe mwali
abantu n’ebintu mu ngeri ezitali zimu.
- Baasooka ne babiteeka ku kizinga ky’ensi, Nami etali eno
wansi, ku ludda olw’ebuvanjuba, olwa kkono.
- Embeera y’obudde n’entambula y’empewo, okubanga olukalu lw’ensi n’okulujjuza lusaanire. Okumezesa n’okuteekateeka obulamu obuggya.
- Awo yatta mwoyo bulamu n’okuseruza enneetondeko ku nsi kuno ey’olubaale era n’aleeta abaami, abakungu, aba- kuumi okusala ensalo z’amawanga, emyoyo n’ababaka n’abakugu nga bonna ba mbuyaga.
- Okuwa ebiragiro, n’okusindika emisange n’emisambwa
okugereka ebipimo mu ndyo, obulamu, obudde n’emmere,okujjuza mwoyo n’okuwanga enkola zonna.
- Awo n’assa ebirungo n’okujjuza ebibulamu, eby’obuggaga n’okutereka obulamu. Okuleeta omuntu n’okumuwanga ebika by’enkula z’abantu musanvu ez’enjawulo; Obu- menke, Abantu ab’empewo, abantu abaduggavu, abantu abeeru, abantu abamyufu, ebikekenke, abantu Abachwezi ne binnabantu. Baawangibwa mu mawanga gaabwe mu bitundu musanvu. Abo be baavaamu abantu, endyo, ense n’amawanga ne gawangibwa mu buwange ebw’enjawulo obwo. Byonna n’abiwa omukisa.
EKIFAANANYI KY’EBIKEKENKE
- Awo nga byonna biwedde ne yeekisa. Buli kitongole ky’atandika okukola emirimu gyakyo nga bwe kyalagibwa. Okussaawo n’okukyusa byakolebwa, era bikyakolebwa. Nga bwe kyali na kati bwe kiri. Atonda, aggyawo, assaawo, asanyaawo, apima, ateekateeka, ateesa, abonereza, ajuna alyoke atenderezebwe.
OBUTONZI
Obutonzi kwe kukola oba okussaawo amatondo. Bwe yali atonda yassaawo amatondo aganaavaamu ebyetaago byonna okusobozesa ebitonde okubeera obulungi mu nsi. Oluvannyuma omwana w’omuntu yatandika okweteerawo ebibye, ebinaamusanyusa n’okulumya abalala ebitaali bya Bwakatonda era ebyayonoona omukwano gwe n’Omutonzi n’obutuukirivu.
OBUTONDE
Obutonde ye njawukana y’amatondo. Obutonde mulimu ffe, ebimera, ebisolo, ebinyonyi n’ebintu eby’enjawulo; empewo, amazzi n’ebirala okusobola okubeezaawo ensi mu ddembe, era nga buli kimu kiyamba kinnaakyo. Teri kiriwo kitalina nsonga.
Obutonde kiva mu butondotondo obutono, obwetondeka ku nsi ne bukola obutonde era nga buli kamu kalina obuton- dotondo bwako nga ge mateeka kwe butambulira ekiyitibwa ettondo. Bw’okyusa amateeka gaakyo, okizibuwaliza oku- beerawo, ate nakyo kiyinza okufuuka omutawaana eri ensi oba kabe kasinge, kyo okufuna ettondo.
OBUBUMBE
Obubumbe ye ngatta y’ebirungo. Obubumbe ye ngatta y’ebirungo eby’enjawulo ng’omubumbi bw’ayinza okugatta ebirungo asobole okuggyamu ekibumbe ky’ayagala, oba ng’omufumbi w’akatogo, oba ng’omuzimbi w’ennyumba bw’atabula enkokoto. Mu birungo ebyo yayawula ennyan- ja n’olukalu, emigga n’ebidiba, emiti n’omuddo, ebiwuka n’ebinyonyi, ebisolo n’abantu. N’ayawula eggulu n’ensi, ebbanga n’olukalu. Mu buli kitundu eky’ettondo erimu n’atondekamu ensi ez’enjawulo, n’ebirungo eby’enjawulo, buli ttondo n’obujjuvu bwalyo, n’alyoka abutondeka nga bw’asiimye bibeere.
Lyo, ettondo ne litandika okuvaamu mu nsibo yaalyo obwe- tondeko bw’obutonzi obwaliwangirwamu, ne buzaalukuka ku nsi. Ate nabwo ne buzaalukukamu ebitonde ebirala. Era buli kimu nga kibeerawo ku lw’okubeerawo kwa kinnaakyo. Eby’omunnyanja bibeerawo ku lw’ebyo ebiri mu nnyanja. Oby’okulukalu bibeerawo ku lw’ebyo ebiri ku lukalu. Eby- omubbanga ne bibeerawo ku lw’ebyo ebiri mu bbanga.
Ensolo ennene zirya ku ntono okubeerawo, n’entono ne zirya ku bitono n’ebiwuka okubeerawo. Obusa ne bufuu- ka emmere y’ebimera, ate ebimera ne bifuuka emmere y’ebyennyanja, n’ensolo ne zifuuka emmere y’omuntu, kyokka ng’omwetoloolo gwonna, Katonda yabitonda nga birina okukolaganira awamu nga buli kimu kirina bwe ki- yamba kinnaakyo. Awo we wava okutuukiriza ebigender-
erwa by’Omutonzi nga buli kimu, kitambulira mu buwange bwe kyawangibwamu, obwo ne bufuuka obubumbe nga gwe mubumbiro ogwawamu.
OBUZAALE
Obuzaale bw’ettondo mwe lisibuka. Buli Kintu ekiri ku nsi kirina engeri gye kizaalukukamu okwala n’okuvaamu ebirala. Gye kinaavaamu kinnaakyo era okwala ne ku- beerawo n’omuntu bw’atyo ebisajja n’ebikazi, ssaalongo ne nnaalongo mu lubiri, era n’ensibuko eva ku kwegatta oku- kubisaamu ebirala ensi ejjule ffe, twedaaza.
OBUNTU
Enjawula y’ettondo. N’omuntu yatekebwamu obutondo obutono, asobole okuvaamu obutonde obulala. Ebinyonyi, ebisolo n’ebirala nabyo bwe bityo mu buwange bwabyo.
ENSI
Omwetooloolo oba ssemazinga kwe tuli. Katonda bwe ya- tonda ensi yasigala nga ye y’agyefugira n’ebigirmu. Tewali amanyi ntandikwa na nkomerero. Tewali amanyi enteeka- teeka n’ekyukakyuka! Ye, gyali. obulamu, n’amaterekero ga byonna, yageesigaliza, ne yeekisa mu njuba ey’omuggulu ne byama bye, eyo mu nju Bbanga. Teri atuukayo. Bamalayika n’ebitonde ebirala bakoma mu ggulumizo. Ebibye bimany- iddwa mwoyo yekka, ekitegeeza mwoyo mw’ava!
OKUWUNZIKA KATONDA N’OBWATONDA
Obutonzi, obutonde, obubumbe n’obuzaale tebiriiwo lwa muntu yekka, wabula Omutonzi yatondanga buli kintu kiramu. Ensi yo, nga yo, nnamu era ntegeevu. Omuntu agiriko ng’ensekere bw’ebeera mu mutwe gw’omuntu, yo nga temanyi nti eri ku kintu ekiramu ekiyitibwa omuntu.
Bw’anaaba, ensekere erowooza nti mataba. Bw’ayokya en- viiri erowooza nti muliro gwa namuyenga. Bw’asalako en- viiri erowooza nti nno nkomerero, era n’ebirala bwe bityo bwe biri. Ekimera tekyogera, naye kimanya awali ekitan- gaala n’enkuba ng’etonnya oba obudde nti buzibye. Ebiwu- ka birina emmanyiso yaabyo. Ebinyonyi bimanya gye bya- vudde ne gye biraga, n’omwana omuto amanya omuzadde we wadde tayogera.
Eky’enjawulo ebintu ebiri ku nsi bifaanana n’ebiri ku mun- tu. Ensi erina amaaso. Ensi erina amatu. Ensi erina ebi- bira nga z’enviiri. Ensi erina obuteebe nga z’enyindo. Ensi erina obumwa n’ebirala ng’omuntu bw’ali. Ekyuka, ewulira, ekyusa, era yeekyawa, ne bw’ebeera nnyanja, n’emira aban- tu! Omuntu yasigala tategedde nsi kwali, nti nayo muntu. Omutonzi yakyesigaliza!
Katonda omulimu gwonna gwe yakola gwamusanyusa, n’ebitonde eby’emyoyo bye yassaako, ng’ababaka be, nga bakola okuweereza Ye. Yasalawo ne banne bonna bee-
27
teerewo ekyewundo, ng’okwekulisa, gabeere amatendo ag’okutendereza n’okugulumiza Omutonzi, oly’ebyo ebikoled- dwa. Ne bateekawo ekintu ekifaanana nga bo, kyokka nga kya mubiri, kyeyagalire ku nsi n’okuvisaamu ebisanyusa n’ebirala. N’abiwa obuyinza okutonda nga bwe byetoolako omwoyo gwabyo nga bigabanyiza ku ebyo ebitondeddwa.
Eky’akabi, ekintu ekyatondebwa mu buganzi ne kitandika okuvvoola obutonzi, obutonde, obubumbe n’obuzaale. Ne kyeteerawo enkola ezaakyo ezitali mu buwange bwakyo. Ekyavaamu, buli kimu ne kisoba.
Obutonzi, obutonde, obubumbe, obuzaale, obuntu n’ensi ne bikyawa ekitonde ekyo ekiyitibwa omuntu. Olutalo lw’okugolola n’okuzzaawo embeera, abatume, banabbi, empisa n’enjigiriza ez’enjawulo, ebibonyoobonyo, okukaa- ba n’okwejjusa, okwegayirira, n’okusaba buli olukedde, n’enjawukana mu nzikiriza n’enjigiriza ez’enjawulo, end- wadde n’eddagala ery’enjawulo, abajjanjabi n’abalimba byonna ne bijja, ng’Omutonzi ye asirise bwe cceccerere.
Eyo n’efuuka ensibuko y’olutalo lw’obutonzi, olw’okumanya n’okutegeera okutono, ng’okwo kw’otadde obwakiwagi, em- puttu n’okunyooma, ng’omuntu yennyini y’abikola. Omu- tonzi nga Ye, buli kimu akiraba, era nga yeewuunya omun- tu! Obutonzi bwo, ne bwongera okunyweza ssemateeka gwe baabuwangiramu, obutonde ne bufuna ettondo, obubum- be ne buzannya jangu onkwekule ku muntu, obuzaale,
ne bwepunguusa, nga bwe bumma omuntu obuwangaazi, ensi yo, ne yeekyawa nga bw’ekuba buli kiramu ekiyitib- wa omuntu, obuntu bwo, ne bukola oludda olusirikale ku muntu yennyini.
Omuntu ye n’asigala nga tamanyi era nga tayagala ku- manya! Ye mbu musukkulumu, omuloodi, omwepansi! Olw’emputtu z’omuntu, ebyo byonna, ne byegatta, ne bikola olutalo ku muntu, ne bikuba, ne birwaza, ne bitemula, olwo ne bisiba omu ku omu, emigwa, bwe bisuula e Mpanga nga bwe baakola Ssebwana, Bemba, Mpoobe n’abalala awatali kusaaga!
Omuntu n’asobya Obutonzi, naggyawo ebitebe bya Katonda, ne yeteekerawo ebibye nga bw’alaba. Omubaka wa Katonda, nga Musisi nga y’avunaanyizibwa ku kifo ng’ekyo, nanyiiga era n’akola omulimu gwe, n’asindika Musisi Kagugumuko, n’akka ku nsi n’ayonoona ebintu n’ensi, ne mugendera- mu obulamu bw’abantu mu bungi. Ye n’addayo, n’asirika n’alinda okwenenya n’okwetonda, omuntu atereeze!
Obutonde bufugibwa Katonda era y’abuwa okutegeera n’okumanya nga kwossa obuyinza. Bali ne bajja ne bakola ebitasaanye ku butonde kale ng’ennyanja. Ekiddirira bwe busungu bwa Katonda. E Kkooki mu Rakai, waliyo ennyan- ja eyitibwa “Kijjanebalola”. Lumu yasobezebwa nga bakoler- amu ebitasaanye, n’ekulugguka, n’egenda, amazzi gonna ne gaggwaamu. Ne kisigala nga kisenyi na luwonko. Abantu ne
bajja, ne bazimba ne balima, nga n’ebyennyanja byakoma dda. Waayita ebbanga, abagezigezi ne basaba Katonda, en- nyanja edde. Lwali teruli lutyo, ennyanja n’ejja nga balaba. Amazzi ne gajja n’amaanyi mangi ne gasanga amayumba n’abantu mu bifo byago, bonna ne basaanawo n’ebintu by- abwe era kye kigiyisa abagezigezi, “Kijjanebalola” mbu kyaj- ja balaba, ne kibabikka nga balaba!
Olusozi ne lusobezebwa, abantu ne beekola ebitasaanye, n’emitti egiri ku lusozi ne gitemebwa. Olusozi ne lunyiiga, olw’okusobya obubumbe n’obuwange bwalwo obutatade. Ne lutta ettaka mu bungi n’amazzi ne bikulugguka, ne bikka, ne bibikka abantu mu bungi, era ne basaanawo.
Omuntu n’ayingira amagye nga muvubuka muto. Tawasan- ga, tazaalanga nga kitaawe ne nnyina tebalina mwana mu- lala, olw’ensobi z’ensi. N’atuuka eyo n’akubwa essasi n’afa! Abamukubye ne bajja, abazadde ne babatta. Olulyo ne lu- koma olw’obuzaale okuweebuulwa!
Okunyigirizibwa bwe kubeera ku luuyi lumu, oluuyi olu- lala lwekaanya, ne lusunguwala, era ne lukola ebitasaanye! Omuntu neyezza eby’abalala, n’afuuka nnaggwano, ne bam- ulumba byonna ne babimulesa. Abantu be ne basituka, ne berwanako nga balwana ne bali, ne basaanyawo bangi! Kyo- ka ate nabo ne babasaanyawo! Katonda bulijjo yeewuunya, emyoyo gy’abantu n’ebirala obutaba na buntu, ne baggwaa- mu obuntubulamu, ne beesaanyawo, nga abataagala bula-
mu, ate ne balaajanira ye, olw’okwesaanyawo n’obutabeera na buntu.
Omuntu n’atuula n’akola endwadde enkambwe, eby’okulwanyisa binnamuzisa, n’asindika mu bantu kyok- ka nga yo ensi eraba nga kye bakoze si kya Bwakatonda, tekyetagisa mu nsi, era nga tekisaana, nga kitabula obu- wange bw’ensi. Ensi n’enyiiga, n’esiikuuka, n’etabanguka, n’ebalwanyisa. Oluusi omuliro, oluusi omuzira, oluusi ama- taba, oluusi embuyaga, ensi yonna n’ekola ‘tsunami’ nga yo yeetaasa. Omuyaga ne gujja, n’enkuba etali ya bulijjo, ne Musisi Kagugumuko, n’amazzi agatategeerekeka, ekizimug- gulu ne kijja, ne kitta abantu, ne kisitula ebintu n’ebiramu mu bbanga, ne kibyolekeza obwengula, ne kibikasuka mu bitundu ebirala. Ab’eyo baalabira awo ng’ekuba etonnya, ya musaayi, ne bewuunya ekigudde mu nsi! Ensi ng’ejjude ekivundu n’omusaayi!
OBUWANGE BW’EBIFO EBIMU EBY’OBWAKATONDA KU NSI
Katonda bwe yatonda ensi yassaawo ebifo bye yeesigaliza okusinziiramu okugifuga n’okutuusa amawulire eri ebi- tonde oba kiyite entabiro oba ‘center/ sanctuary’.
ERIISO
Eriiso gwe mukkiro gw’amaanyi g’obutonzi oba empulizig- anya ku nsi wano ekyogerwa nga Akaalo ka Buganda oba entabiro. Eriiso kifo eky’obufuzi bwa Katonda n’okukkirako amawulire gw’Obwakatonda, okuva awo gagenda eri bakabaka, obutaka, abantu n’ensi, era eriiso gy’emikkiro gy’obutonzi eri ensi okumugulumizanga n’okutuukiriza ebyo by’ayagala bibeere mu Ggulu ne ku nsi.
ERIISO KU KIBUGA KYA KATONDA
AMAKULU GA KABONERO AKALI WAGGULU KU SSERUGGULAMIRYANGO
- Omuti. Omuti gukiikirira ddagala n’obujjanjabi
- Olusozi. Olusozi oba eggulumiro likiikirira ebika, buli kika n’ekiggwa kyakyo. Ekiggwa kabonero ka nsisikano, ensibu- ko n’obuweereza mu bwakatonda.
- Empologoma. Empologoma kabonero ka bwakabaka oba bukulembeze engeri amaanyi ga Katonda gye gakkamu mu kitundu ekyo.
- Empungu. Empungu kabonero ka bwakatonda akakiikiri- ra obubaka n’ababaka ab’empewo oba kiyite bamalayika oba emisambwa.
- Emmunyeenye. Emmunyeenye kabonero ka nsibuko. Y’entandikwa y’amaanyi, amaloboozi, okutambula nga gakasuka obubaka n’ebiragiro n’okulanga ensisikano. Ob- wamusisi butambula wamu n’emmunnyeenye ssaako ne kibunoomu.
- Omwezi. Omwezi ke kabonero ak’enkukunala akategee- za okussaawo n’okuggyawo era Katonda ye mwezi, era ye nnyini biseera.
- Enjuba. Enjuba y’emmuliso y’ensi, kye kitangaala, era lye bbanguliro ly’emyoyo kye tuyita eggulumizo, ensibuko y’omuliro. Etambulira mu Bwakiwanuka. Ddungu ne Kiwan- uka be baakwasibwa omulimu gw’okutabaala ensi yonna, okutambuza amawulire g’ebiramu. Waliwo “Enju Bbanga”, enju eyo mu bbanga Katonda gye yeekisiza. Ly’eggulu ewabeera
Omutonzi era akobonero ke ak’omuliro.
Akabonero ako y’entabwe ey’awamu evaamu amatabi g’ebirala byonna n’ebijja n’ebikozesebwa byabyo, kwossa obubonero, okuweereza Omutonzi, abantu n’ebirala mu nsi.
OBULUBAALE
Obulubaale bye bifo by’omwoyo gw’Obwakatonda oba ekifo awateekebwateekebwa ebyo Katonda by’ayagala bikolebwe oba okusunsula amawulire amalungi n’amabi. Olwo ate gagende eri ensi nga galondobwamu agasaana okutuuka eri abantu n’ago agasigala nga ga nkiso nga galinda ekiseera kyago. Era kikulemberwa Abalubaale (Bakabona) ne Bas- senkulu. Abantu bagendayo okufuna mwoyo wa Katonda oyo ayitibwa Lubaale ne basobola okufuna empuliziganya wakati waabwe n’omutonzi.
EKIFAANANYI KYA WAMBAALE
Lubaale oyo alimu ebiti bibiri;
- Mwoyo wa Katonda ayitibwa Kitiibwa, y’oyo owa waggulu ennyo akka obussi okutuukiriza emirimu gya Katonda nga ye akolera mu Bwakatonda ddala kubanga ava mu Katonda ddala eyatonda eggulu n’ensi.
- Ne wabaawo mwoyo lubaale, oyo atoolebwa ku oli n’asindikibwa mu bitonde, okutambuliramu ng’enkwaso oba giyite amasannyalaze oba ‘magnet’ mu Lungereza. Omwoyo ogwo ne gulyoka gukolagana n’obutonzi, obutonzi ne busobola okuba nga bufuga buli kitonde kyonna ku nsi kuba buli kitonde kyonna kirimu mwoyo ogwo oguyitib- wa Lubaale nga ge masannyalaze agakiyunga ku maanyi amalala gonna agafuga ensi n’okukisobozesa okubeera ku nsi era okukikuuma okutuusa bwe kiriddayo mu Ggulu n’okukisobozesa okudda nate ng’omuzzi mu bantu. Ge gayamba ekitonde okubeera ekiramu, obutavunda,
okumanya n’okutegeera mu bwa mwoyo.
Obulubaale ky’ekifo ky’omukkiro gw’emyoyo okuteeke- bwateekebwamu mu kifo ekyo nga waliwo empagi mu- sanvu; Kinene, Mukasa, Musoke, Kiwanuka, Lubaale, Omuntu w’omunda n’ensi. Amaanyi ago awamu gayitibwa Obulubaale. Ekitwala abantu mu kifo ekyo kwe kubalyowa emyoyo n’okufuna obuwabuzi mu ebyo ebibeera bibasobe- dde.
TTANGAALIZO – OBWAKINENE
Waliwoamaanyiag’obwakineneagayitibwaag’obwasseziringa nga matabaazi. Omutonzi yagassaawo okweyambisibwa okutabaala abafuuse bakiwagi ku nsi eno. Mu bantu oba ebiramu gabeera ga nsikirano kiyite “obujjajja”. Mu butonzi, agafunira ennyanga mwe gabeera era n’atandaazaawo, ne wayitibwa e Ttanda ekiva mu kigambo entandaalizo. Kinene nga jjajja w’abaana y’ayitibwamu okusaba singa obaako ekikwetaagisa amaanyi ago nga kikulemeredde. Ensi yon- na, tewali atamanyi Ttanda ewa Kinene n’ennyanga zaayo. Omulimu gwa Kinene, atuukiriza endagaano ya Katonda gye yakwasa Olukokobe okufeffetta abakyamu n’obutakkiriza boonoonyi, okubabega emyoyo gyabwe, okugibikkula n’okubawemuukiriza. Abazuulwa nga bakyamu bakubwe oba baggyibwewo. Abeefuula nti baweereza be naye nga nabo bakyamu, abakwatira ddala n’abanyanyagaza, n’abafuula abaddu mu mbuga ze. Abeera omuweereza omutuufu amu-
wa amaanyi ag’enjawulo okwaŋŋanga ebizibu, okumanya n’okutegeera asobole okuweereza abantu n’Omutonzi ssaa- ko okukuuma ensi n’ebitonde.
EKIFAANANYI KYA KINAWATTAKA
OBUKASA
Obukasa kiva mu mwoyo guli ogwa Mukasa nga bwe bu- lamu obutereke; omukka gwe tussa. Omwoyo ogwo buli kiramu gwe kikozesa okubeera ekiramu. Obutonde gwe bukoze. Katonda yaguwa ekitebe kyagwo, abantu okusin- zizaamu n’okugulumiza Omutonzi. Era bagendayo okusaba obulamu, emirembe, ezadde n’obuwangaazi era kye kiva ki- yitibwa Bukasa.
EKIFAANYI KYA NNAMIRYANGO
Eyo y’entabiro y’amaanyi ag’obulamu obwa Mukasa, obu- lamu obutereke. Ky’obulwako mu bulamu osaba Mwoyo Mukasa akukwasizeeko w’olemereddwa.
EMBUGA ZIBEERAKO AMAYUMBA AG’ENJAWULO
Kyokka embuga yonna tebeerako nnyumba emu ng’ekyokulabirako e Ssese, e Bulubaale waliyo eya Musisi, eya Musoke, eya Kiwanuka, eya Kinenennyumba n’eya Wan- nema okwo kw’ossa abantu abalabirira embuga. Ne mu bifo ebirala bwe kityo bwe kiri. Kino kye twogerako z’ennyumba ez’ensonga ezaafuuka ebbanja eritamanyiddwa olw’ebbanga eddene nga ebintu bisaanyeewo. Bwe tuba tunaatereeza awo we tuba tutunula. Embuga zino ze zigabirira ekitebe ekikulu eky’eriiso ennono. Ziri mu bitundu bingi mu nsi
yonna. Okwo kwossa n’ebiggwa eby’ebika eby’enjawulo. Eky’okulabirako obulabirizi buba n’obwassaabalabirizi nga ly’eriiso. Wansi ne buba n’amatwale n’obusumba, emiruka okutuuka ku kyalo. Enkola y’eyo y’emu. Enteekateeka ya Katonda gye yakwasa Obuganda n’olulyo ly’abaddugavu gye tubategeeza.
OBUWANGE BW’EBITONGOLE EBY’ABABAKA AB’OMWOYO N’EMPEWO ZAABYO, EKWATAGANA N’EMPEEREZA
Ebitongole eby’omwoyo bisigala bikolera wamu mu bu- wange n’ababaka baabyo ab’empewo kyokka ate buli kimu nga kyetengeredde mu buweereza bwa Katonda eri ensi n’ebitundu ebirala. Emitendera n’esengeka egwa mu biti bino:
- Kitiibwa – Omwoyo omukulu ogwa Kitiibwa oba kiyite en- tabwe.
- Ebitongole eby’omwoyo n’engeri gye bigobereramu emirimu
mu mpeereza.
- Ababaka ab’empewo n’obuweereza bwabwe mu bitongole
ebyo oba ebiwayi ebirala ne mu madaala ag’enjawulo.
- Olwo ate ebitongole, mu buntu ne bituma ababaka mu bantu abaliko amaanyi gali nga be bayitibwa abatume mu biwayi oba madaala, okusinziira ku kiba kyetaagisizza, ekiseera ekiriwo, obwetaavu, n’obusobozi.
Katonda bw’amala okutonda ensi, n’agiwanga, nga agi- wangiddemu ebibye ebimanyiddwa n’ebitamanyiddwa, eby’omubiri n’ebyomwoyo, ebirabika n’ebitalabika. Ensi y’agiteekamu omwoyo gwe ne gujjula wonna ssaako n’ababaka be ab’emyoyo n’ababaka be ab’empewo. Yalon- damu ebitundu ebimu bye yatonda mu ngeri ey’enjawulo
olw’ebigendererwa bye n’abyesigaliza.
Ebitundu bino yasalawo n’abikuuma butiribiri ng’akozesa ababaka be ab’emyoyo n’abempewo. Awo n’addamu nate n’atonda ffe abantu n’atussa ku nsi. N’emigaso gyon- na egy’etaagisa, egitusobozesa okubeera ku nsi era n’atuwangamu omwoyo gwe, ate natuwanga ku nsi eno nga tukuumwa amaanyi ge ag’obuwange omuli; mwoyo we, embuyaga, ababaka n’empewo ez’enjawulo ezimanyidwa n’ezitamanyidwa.
Obuwange obwo bulina enkola, amateeka n’ebiragiro ebiva ew’Omutonzi. Ebyo biri mu nnimi n’enkola ezitategeer- ekeka mu ngeri ey’enjawulo gye yagitondamu, ezeetaagisa obuwabuzi n’okutaputa okuva eri Omutonzi, ababakabe n’omwoyo gwe. Obuwange obwo bwe bututuusa ku nda- giriro ey’obubaka.
Obubaka obwo bwe butume obw’omubiri obw’ababaka be batusindikira mu buli mulembe, buli nsi nga bajjude omwoyo gwa Katonda. Balina empuliziganya n’ababaka be nga nabo bennyini, n’abawangiramu obutonzi. Ababaka ab’empewo, mwoyo wa Katonda, obutonde obw’enjawulo, bubafuula ababaka ba Katonda olw’empuliziganya, obumu, enkola gye balina n’Omutonzi era n’abakwasa emmanyiso y’obutonzi, endagiriro, ekitabo n’abawa n’enjogeza y’obutaputa.
ENNAMBIKO N’EMITENDERA MU BUWANGE
BUTONZI
ENTEEKATEEKA OKUTUUKA
WANSI
MWOYO KITIIBWA
MWOYO MWENE
EBITONGOLE EKKUMI N’EBISATU
MANDWA KU NSI
MWOYO EMPEWO
EMISAMBWA
EMISANGWA
ABATUME
OMUNTU OBA EKIBIINA
Era ababaka abo aba Katonda obasanga nga enda- giriro yaabwe bagiggya mu babaka ab’omwoyo, ababaka ab’empewo n’emwoyo ye nnyini Kitiibwa olwo ne bafuna endagiriro.
Abatume ab’ennyama bafa ne bagenda, naye obuwange bwa Katonda busigala butambula, era ng’ensi esigala ebw’eyambisa ng’efuna ebyaliwo, ebiriwo n’ebiribaawo kuba nabo bwonna buwange era nga tebulina we bwawula ku buwange obwa Katonda bwe yateekawo.
Katonda yassaawo ebitongole kkumi na bisatu ng’ogasseeko eky’olukokobe. Bwe yali atonda ebiwayi ebyo, yabyawulamu emitendera, enkola n’amaanyi ag’enjawulo n’obuweereza.
Naye nga mwoyo yenna avva mu Mwoyo Kitiibwa avva wag- gulu mu busatu obwa; Musoke, Kiwanuka ne Mukasa, olwo n’ebyetondeko okuva waggulu okutuuka wansi ku miten- dera egisembayo.
Mwene ng’ava mu maanyi gali aga Kitiibwa, n’ayawula amaanyi agaddako mu bw’embuyaga nga ye mulabirizi w’ebitongole ekkumi n’ebisatu, ng’akola ng’omuduumizi mu byo okubisobozesa okutambuza emirimu gy’Omutonzi.
N’ayawula amaanyi agaddako ag’abamalayika oba ababaka nga gali mu biwayi ebimu ku bino: Nnende n’omumyuka we nga Nnende ye w’enteekateeka wonna kiyite ensuwa (universe), ate nga Mmandwa wa wano ku mwetoloolo guno (earth). Era n’abiwa obulamuzi, obugatta ebiwayi byonna okukola nga ‘Attorney General’. Obwo ng’era bwe butwali- bwa Nnende ne Mmandwa oba kiyite ekitongole ekiteesi- teesi.
N’ayawula amaanyi agaddako nga gali mu misangwa. Omuntu agamba nti omusangwa gwa Mukasa, Omusang- wa gwa Musoke, Omusangwa gwa Kiwanuka kyokka nga tayogera ku Kiwanuka oli, Mukasa oli oba Musoke. Wabula ayogera ku Kiwanuka, Musoke oba Mukasa, Omusangwa. Abo be bakuumi b’ebifo ebitukuvu n’ensi, bannansangwa
era bavunaanyizibwa nnyo ku butonde obutasaanawo. Naddako omutendera gw’emisambwa. Egyo givunaanyizib- wa nnyo ku bika, embuga, empisa, ebiragiro n’enteekateeka. Gye gikola nga ppoliisi bw’ekuuma ssemateeka oba consti- tution. Yagissa mu buli kifo, mu bbanga, mu mbuga, mu mwoyo ne mu bantu.
Yaddamu n’akola emisambwa mu biwayi eby’enjawulo n’agibumbira mu myoyo gy’abantu ne bazaalibwa nagyo. N’agissa mu buli kifo kiyite emitala. Buli mutala n’omusambwa gwagwo era ne tugiyita amannya g’omutala ogwo, kyokka nga gyawula amabala n’ebiwayi. Eky’enjawulo ku misambwa gikola nga ppoliisi- (police). Tegibeerako nsonga etagikwatako.
Ne wabeerawo emisambwa egikka okuva waggulu mu bika eby’enjawulo egiyitibwa ababaka oba kiyite bamalayika.
Ne wabeerawo emisambwa egitalina kitongole kya nkalak- kalira; mpulirakamenya. Gy’egyo egirabikira abantu ate ne gibula. Bagiyita nnakyeyitize.
Ne wabaawo emisambwa egy’endagaano, endagiriro n’ebiragiro egitumwa ku nsi olw’ensonga Omutonzi gy’aba yeetaaze. Gikola enteekateeka ne gigenda mu nnyumba, Omutonzi gye yalonda, eyitibwa ennonde ne girondayo omuzzukulu owa batume abaasooka ne gimwetondekako n’azaalibwa nga mulambe, nga mulonde era nga mutume. Ne gimuteekamu ebirungo byonna bye giryetaaga mu maaso
okumusobozesa okuweereza omutonzi. Oyo eyatumwa mu nsi n’ayitibwa omutume.
Naye Katonda asobola okuwuliriza n’okuwa ekitongole oba omuntu yenna ky’asabye ng’ ayita mu ye, era ng’akozesa mwoyo we oli owa waggulu Kitiibwa, ng’ate tayise mu biton- gole bye n’afuna kye yeetaaga.
Naye tekiggyaawo nteekateeka ze, ez’akasengejja, okulon- doola n’okugolola omukyamu oba abajeemu ng’ayita mu bitongole bye eby’enjawulo, eby’enteekateeka. Omutonzi ng’asiimye ajjulula mu madaala, mu mbeera, mu zadde, ed- dembe, enfuna, ebifo, obulamu n’ebirala ng’ayita mu biton- gole bye ebyo bye yateekawo.
Ebitongole byonna bya Katonda, era bya mwoyo. Mu biton- gole ebyo mulimu abaweereza nga be tumenye, abaman- nyiddwa n’abatamanyiddwa. Ng’ebitongole bigoberera biri waggulu mu butonzi naye ng’eno wansi bigoberera emyoyo egy’enteekateeka, Katonda gye yassaawo.
Kyokka nga Katonda yalekera omuntu n’ebiramu ebirala olukusa okwesabira kye byagala obutereevu nga tebayise mu babaka n’abaweereza ba Katonda naye mu Mwoyo. Mu nkola eyo, era bangi bazze nga baddibwamu ne bafuna bye baagala nga bayita mu mwoyo omutuukirivu.
Kyokka era nga yawa obuyinza emyoyo egyo egy’enteekateeka
okulondoola, okuwabula, okuluŋŋamya, n’okugolola ebisobye, n’abakyamye nandiki okubiggyawo oba n’okubaggyirawo ddala.
Kale nno Katonda bw’ayanukula, oyo ayanukuddwa yeesi- imisa, ayogerwako ng’omuzira eri abalala, yeegombesa kabekasinge n’okukola ebyamagero, n’afuna n’essente, n’erinnya wamma ggwe nga yeesiimisa.
Naye oludda oluteesiteesi, olusirikale, lwo lusigala lulon- doola ebyo ebisobye n’abo ababeera bavudde ku mugendo nga lugolola, era nga bwe lukuba. Kale ezo z’enkola za Ka- tonda ng’ayita mu mwoyo, z’azze akolamu ye n’ababaka be.
Mwoyo Kitiibwa oba Mwoyo Mutukuvu, ye, teyeetengeredde era taggyaawo nteekateeka za Katonda ezibaddewo, era nga nakati weeziri. Abeera tazitegedde oba n’anyooma, n’agenda mu maaso okukola emirimu gya Katonda, ate nga bw’ayonoona, oluvannyuma yeesanga aluguddemu nga Noah oba Kibuuka Omumbaale n’abalala. Ate tebikoma awo, ebizibu by’abeera afunye ku nsi ne mu ggulu bwe kiba!
Ekyokulabirako ng’enteekateeka babagambye mugende mwewandiise mufune “endagamuntu”. Ogaanye nti okola mu offiisi nnene. Ekiseera kituuse ab’enteekateeka nga balondoola ne bakukwatira mu nsobi. Bakugambye lee- ta “endagamuntu”. Ogambye nti togirina, okola mu ofiisi nnene! Bategeezezza omunene nti ono tumukutte, mukya-
mu, yeeyambisa linnya lyo, ate talina ndagamuntu. Teye- ewandiisa. Omukulu alagira nti mumukwate, mumutwale, mumusibe, mumuggye ne mu ofiisi. Mumuggyeko ebitiibwa bye yeekwasa kubanga ye yandibadde ekyokulabirako, ate kati ayonoona erinnya lyaffe. Mujeemu!
Amagezi Katonda agawa abantu ng’ayita mu bitongole bye eby’enteekateeka ate n’awa amagezi agajja obuterevu okuyi- ta mu mwoyo we. Ky’ova olaba Abaganda bafuna okubikku- lirwa eby’omuggulu, ne bafuna okubikkulirwa eby’obutonzi, ne bafuna okubikkulirwa eby’ensi, ne bafuna okubikkulir- wa eby’obutonde, ne bafuna okubikkulirwa eby’obulamu, ne bafuna okubikkulirwa eby’obufuzi oba kiyite obukulem- beze, ne bafuna okubikkulirwa eby’omwoyo.
Ebintu byona ne basaawo obubonero bwabyo nga bwe bu- langibwanga, okusobola okuggulumiza Omutonzi, okumu- saba bye baagala n’okutuukiriza okwagala kwe, n’okufuba okubeera abalamu, abagezi ate abawangaazi. Naye ensi, ebiseera ebisinga temanyi kuvvuunula bubonero obwo ate ne yeesamba okugenda mu baliko omwoyo oguvvuunula, okubavvuunuulira.
Ensi olw’obwekulungirivu, Abaganda baabumba ensuwa ennekulungirivu, kyokka nga ya midumu ebiri. Ne bagamba nti eyo ya Musoke. Oyinza okusanga obuzibu lwaki nneeku- lungirivu era nga yamidumu ebiri? Naye nga ekyo kiva mu kulaga obwekulungirivu bw’ensi, okumanya n’okutegeera,
eggulu n’ensi nga amakulu; oyinza okufuna okumanya n’okutegeera nga bijja butereevu nga biva mu bwamwoyo. Ate oyinza okufuna okumanya n’okutegeera ng’oyise mu bi- tongole bye ebiteesiteesi nga bisunsuzi w’ebyo, ne bikug- giramu omuganyulo gw’obwetaavu obwo, obukutuusa ku lugero lw’obwetaavu bwo.
EMISAMBWA GIRINA AMAGEZI ERA GYANUKULA KI KU NSONGA ENO?
Emisambwa misambuzi. Okusambula kwe kussaawo n’okuggyawo. Ekitongole ekyo kirimu ebiwayi eby’enjawulo mu bw’empewo omuli; Ababaka, Emisambwa (Malayi- ka), Emisange, Emisangwa, Majjiini, Mayembe, Binna- bantu, Bamuntupewo n’ebirala ebigwa mu ttuluba eryo ely’embuyaga. Emisambwa misange, ginnasangwa, egya- sookawo.
Kale ani yagikola, ani yagituma, era gikola mirimu ki? Ensonga eri nti emisambwa tuli batonde, ab’omwoyo, ab- alwanyi, abagezi, abatuukirivu, abangu era abamaanyi.
Omusambwa si muntu. Omuntu ye alinga ekiwuka ekiri mu nnimiro y’omuntu ne kyeyita ekigezi era eky’amaanyi. Kale n’omuntu bwatyo bwali. Omuntu ali mu nimiro y’emisambwa! Ensi yonna gye ginnannyini. Oyo yena av- voola n’okuvuma emisambwa, mujja kumulaba ng’alinga amazzi agakozesebwa mu kabini (kaabuyonjo) ne gafuuka amacaafu. Tegaddayo kugulumizibwa kubanga ekifo we
gagenze kifu;
- Omuntu avunda. Omuntu afa.
- Omuntu yeerabira. Omuntu akaaba.
- Omuntu alumwa. Omuntu tawangaala.
- Omuntu tamanyi nsibuko. Omuntu tamanyi biddako.
- Omuntu alwala. Omuntu yeeganya.
- Omuntu talina maanyi. Omuntu yawaba era n’omwoyo
talina.
- Omuntu kye yeeyita si kyali. Omuntu tamanyi butonzi.
- Omuntu asabiriza, era kivve!
Kale asoboka okutulika ng’ensekere. Kulwala n’atalaga magezi ge yeetenda. Oyo atalina liiso lya munda oba oku- kongojja talaba musambwa. Emisambwa gya njawulo; wa- liwo egya waggulu, waliwo egy’omu mwoyo, waliwo egy’omu mazzi, egy’omu bbanga, waliwo egy’omu mpewo, waliwo egy’omu bantu munda. Kale emirimu n’ensi bitambuzibwa misambwa.
Omuntu ayinza okulya oba okubeera n’enkolagana n’ebire? Ekyo kitegeeza nti omuntu kantu buntu ng’ensundo ku mu- biri gw’omuntu. Kale ssekessa, ekisaanyi, wadde ky’amaanyi, kikambwe ate kinene naye tekisuula muti wadde okugu- beezaawo.
MUKASA
Omubaka Mukasa n’ekitongole kye Ekikasa be bakola ku bulamu obutereke, obuvaamu obulamu. Katonda amagezi yagakweka, era buli kaseera asigala nga yeewuunyisa, nga bw’atenderezebwa! Bwe kityo bwe kiri ku bulamu obuter- eke. Obulamu obutereke y’enkiso era kye kisa.
Obulamu obutereke kye kirungo ekivaako obulamu, oku- leeta obupya n’okuzza obuggya oba okuzzaamu amaanyi obwo obuliwo, oba buli obusangibwawo. Obulamu obuter- eke nabwo bubeera mu njuba kubanga, Obwakatonda nab- wo mwe buva okukola obusatu obwa Kitiibwa; Kiwanuka
(amaanyi agavuga), Musoke (okumanya n’okutegeera) ne Mukasa (obulamu obutereke).
Katonda bwe yamala okutonda ebintu byonna ne yeekisa mu njuba ey’omuggulu eyitibwa, Enju Bbanga. Bwatyo n’obulamu nabwo n’abwesigaliza. Na kati ebitonde tebi- manyi bulamu gye buva, era tebimanyi bulamu gye bulaga oluvannyuma lw’okufa.
Ebiti ebikola Obwamukasa bye bino;
- Etterekero oba eggwanika ly’ebirungo by’obulamu, omuli
amaanyi agazzaamu obulamu n’ebiramu.
- Olwero nga ge maanyi agaleetera ebiramu okwala.
- Okuzuula emitunsi kwe kutojjera okuzzaawo ebyali
bisaanyeewo.
- Nnamuyenga, omuliro ogukka ne gusaanyaawo ebiramu oba okuvuyanga ebiramu naye ne bitasaanirawo ddala. Ka- tonda aba ayagala kuyisa biro, ebimu ne bivuyangibwa ebi- rala bisobole okutojjera.
- Ettoomi bwe butuuze obunyweza, ettaka obutajjulukuka nga akolagana n’amaanyi aga Kiwanuka, Muwanga ne Ggu- lu.
- Akasengejja – Okunuuna obutwa n’omukka, ge maanyi ag’Obwamukasa agaggya mu nsi obusagwa. Ebitonde ebimu bibeera n’obusagwa nga biyinza okwonoona ebitonde ebi- rala.
EBIRUNGO MU BWAMUKASA
OBWAMUKASA – OBULAMU OBUTEREKE
- Omwoyo gw’ebbumba oba kiyite eddongo. Obwo bwe bwamukasa mu bubumbe.
- Amaanyi agazaalukusa ye nsaano, esaanuusa, kiyite “Reproductive Energy”.
- Enneetondeko z’ensigo ezikuuma obuwangaazi n’ebiramu obutasaanirawo ddala kiyite “Eggs or Seeds or Cells”
- Ebbugumu mubeeramu amaanyi agabeezaawo ebiramu ku nsi, kiyite “Temperature”.
- Omukka ogw’emmezeso bwe bunnyogovu obusobozesa okukakkanya ebbugumu oba omuliro ate ne butambuza ebirungo by’obugimu kiyite Nitrogen.
- Ebirungo by’ekiriisa ky’obulamu obw’ekyengera, okwaza, obugimu bw’ebiramu kiyite Vitamin.
- Omukka oguzigula n’okulwanyisa obucaafu n’obutwa mu bitonde nga gusibwa, nga si mujun– gulule, era y’enkwaso y’omukka oguggyawo ebikyafu kiyite oxygen.
- Obwamukasa butambulira wamu n’Obwakiwanuka kiyite amaanyi agavuga oba pressure oba force, emmezesa.
- Mulimu obuweke obuvamu ensigo ez’enjawulo okussaawo obutonde kiyite Genes.
Ensigo oba genes mu Lungereza , bwe zimala okukalira, zivaamu emmezeso. Emmezeso eyo gye mitunsi. Emitunsi gikola gyokka na gyokka n’amazzi, amakambwe agasoboz- esa okukuuma ekimera nga kiramu. Eyo ye mmandule, eyogerwako oba kiyite amafuta. Emmandule n’egenda mu kimera n’ekiyamba, okulongoosa. Emandule eyo ekola ng’enkwaso oba amasannyalaze oba amasanda agakuŋŋunta ebirungo, ebiyingiziddwa mu kitonde, okuvaamu emigaso egy’ekiramu.
Obwamukasa lwe lufu oluva waggulu mu Bwakatonda nga lulimu enkwaso eyo gye twogerako. Enkwaso eyo, ekola nga magnet. Y’eyingira ebimera n’ebitonde ebirala okusobola
okusika, okukuŋŋunta n’okuvisaamu ebyo, ebitonde bye
bibeera byetaaze, okubeezaawo obulamu.
Ebimera birina omutunsi, nga lye kkolero, erikola ebirun- go, ebisobozesa ekimera okubeerawo. Ate amazzi agakole- bwa emitunsi, ge masannyalaze oba amasanda, oba ama- futa agasengejja. Kati bwe kityo bwe kiri ne ku muntu oba ebisolo ebirala ng’akalulwe ly’ekkolero erikola emmandule eyo, oba asidi (acid) oyo eyeetagisa okukola obulamu mu byo. Kyekyo lwaki eyitibwa, “Emmandule ya Mukasa”, kuba yeyambisa amasannyalazze ga Mukasa ag’olufu.
Obwo bwe bwamukasa mu kulongoosa n’okubeezaawo ebi- tonde nga bikozesa amaanyi ag’olufu agw’Obwamukasa. Ebbanga ddene wano mu Afrika ng’abantu beebuuza lwaki abaatusooka baamezesaanga ensigo ne bazirya nga zimeze ne bakolamu eby’okunywa, ne balya n’ebikoola nga bito, n’obutiko obwakamera? Ensonga y’eyo. Baanoonyangamu emitunsi giri, egirimu ebirungo biri eby’olufu lwa Mukasa ol- ubeera mu mmandule ya Mukasa. Y’ensonga lwaki baawan- gaalanga nnyo, nga bagezi era nga balamu. Y’ensonga lwaki ebyo baabikolanga lwa nsonga eyo. Era nga boogera Bwe- za bwa Mukasa abasobozese okuyunga ku bulamu buli obw’enkwaso enkunŋunta.
MUWANGA
Muwanga awamu ye mmezeso y’ebitonde n’okubinyweza ku lukalu ne mu butonzi, ng’assa amaanyi ge ag’Obwamuwanga okukwataganya obutonzi, obutonde, obubumbe, obu- zaale, ensi (zi ssemazinga) n’ebiramu (kale ng’omuntu) mu nsi kye bayitaba okunyweza oba okuwanga. Nga bw’olaba omusumaali nga ogutaddeko magineenti wag- gulu. Bw’ogiggyawo ne gugwa kubanga omusumaali gulina amaanyi agagukwatiride ag’obwamuwanga waggulu, obwa- muwanga mu bbanga n’obwamuwanga wansi. Waliwo ebi- mera nga akatiko ebitalina mirandira gy’amaanyi, ng’era
obutonde bwabyo bunafu. Naye akatiko kasobola okwasa et- taka erikaluba ate ne kayimirirawo mu mbuyaga, ne katale- mererwa, kubanga kalimu amaanyi g’Obwamuwanga.
Obwamuwanga bwe bwatonda ensi mu kuwangibwa. Ob- wamuwanga, maanyi era masannyalaze. Obuwange bwa buli kintu bulimu Obwamuwanga. Kuno kwe kuva omu- limu gwe okuyitibwa, omuwangaazira oba omuwangansi. Muwanga ye mugabanya w’obunywevu buli kintu n’akissa mu kifo kyakyo we kisaanira era n’akiyamba okunywere- rawo nga yeeyambisa amaanyi gali aga Ggulu agayitibwa gguluggulu.
Muwanga alina emirimu mingi mu ngeri ez’enjawulo;
- Muwanga alina ebyo waggulu mu butonzi ng’ebire, empe- wo, zissemazinga waggulu n’ebirala nga biwange mu bban- ga- obwo bwe butonzi.
- Muwanga alina ebitonde nakati ebitamanyiddwa ntonde- bwa yaabyo, n’ebyo ebimanyiddwa, naye ng’obutonde by- abyo, obwo, buwange mu byo, nga kw’ossa abantu, ebim- era, ensolo n’ebirala – obwo butonde.
- Muwanga yatondeka amayinja amanene ageeberese ku gannaago, kiyite enjazi n’ebintu ebirala nakati eby’ewuunyisa obutaseeseetuka ku Musisi ayita buli budde, n’embuyaga, kyokka nga biwange mu maanyi agatategeerekeka, agabi- kuumirawo ebbanga lyonna -obwo bwe bubumbe.
- Obwamuwanga butuuka ku birowoozo, enkola, amawanga
n’ensi kw’ossa ennimi nga biwange mu biramu ebyo, kale ng’abantu oba ebirala n’engeri gye byevaamu okukola ebi- rala, ekyewuunyisa nakati – obwo buzaale.
Obuwange bwa byonna ebyo, bukulaga nti waaliwo Obwa- muwanga. Bwe yamala byonna n’assaawo emirongooti mu bifo eby’enjawulo, egikirako amaanyi, okulawuna n’okukola empuliziganya. Olwo omulimu gwa Ggulu, Omubaka, ne gugenda mu maaso okunyweza endagaano ya Katonda n’emirimu gy’ababakabe nga bakozesa amaanyi aga Ggu- lu agayitibwa gguluggulu, obutonzi, obutonde, obubumbe n’obuzaale okubeerawo olubeerera.
Obutonde n’obuzaale basobole okwekuumira ku nsi ng’Omutonzi bwe yayagala nga binywevu gguluggulu ng’obuwange bwabyo bwe yabissaamu nga bitambulira ku buwangwa bwabyo ne mwoyo wa Katonda nga akola ng’endagaano ya Katonda nabyo.
Katonda bwe yamala okutonda ensi ng’akozesa amaanyige aga kitiibwa yateekawo enteekateeka oba giyite engereko era nga byona akozesa Kitiibwa. Olwo kitiiibwa n’assaawo ebi- tongole by’akozesa okumukwasizaako emirimu gy’akatonda kyokka nga gya lubeerera.
Ekitongole ekisooka kye kitongole ekya mwoyo, ebirala ne bigoberera. Ekitongole ekya bamuntumpewo, Ekitongole e Kiwanuka, Ekitongole ekiwanga, Ekitongole ekikasa, Eki-
tongole ekisoke, Ekitongole ekitabaazi n’Obwakinene. Awo ekitongole ekiwanga n’akiwa okussaawo n’okuwanga, saako okukuuma nga bali wamu ne Ggulu bye bakyakola nakati ng’okussaawo ebibira, okukuuma ebitonde, enneetondeko, emigga n’ennyanja ku ttaka byonna nga bitambulira mu buwange bwabyo obutajjulukuka kyokka ng’obuwange busobola okukyukakyuka okusinziira ng’Omutonzi bw’aba asazeewo.
Enneetondeko kwe kumezesa ekipya awabadde ekirala. Muwanga y’aleeta enneetondeko awabadde eddungu ne wa- fuuka ekibira. Ebiramu ne bijjulukuka mu bifo byabyo ne bidda mu bifo ebirala n’abiwangirayo.
Akolagana n’olufu mu bwamukasa nga ge maanyi amayam- bi okubunyisa obuwange bwa Katonda ku bitonde ng’ebyo bikwatagana ne Kiwanuka, Lubaale ne Musoke okutambu- za emirimu egyo. Omwo nga mwe muli obutabaazi, obu- kuumi n’Obwakabaka n’ebikola obusatu. Ate ne byeggata n’ensi, omuntu n’olukalu nabwo busatu. Ate Eggulu, em- pewo n’olukalu, nabyo busatu. Olwo ne bitambulira mu ttu ery’awamu, eriyitibwa emiko gy’emmanyiso.
Emiko gy’emanyiso kitegeeza engeri Katonda gy’assa oku- manya n’okutegeera, amawulire n’obuwange mu nsi. Katon- da y’omu, nga bw’akozesa emiko gy’emmanyiso era bw’atyo bwasindika emiko gy’empuubo eri aboonoonyi ng’ayita mu kukyusa obuwange bw’alaba nga nti bwonoonefu era
tebukyasaana n’abuggyawo, asseewo enkola endala ng’ayita mu lukokobe n’obwa Kinene ne mu basirikale be abalala, kwe kusindika emiko gy’empuubo okutuukiriza ebigender- erwa bye. Obwamuwanga bukola mu kunyweza, okulamya oba okulunŋamya.
- Waliwo Obwamuwanga obukolera eri waggulu mu Kiti- ibwa (Omwoyo Omutukuvu ogukola obusatu Obwamusoke, Kiwanuka ne Mukasa).
- Waliwo Obwamuwanga obubbulukukira wansi mu Baba- ka (Malayika) nga Muwanga kennyini, Musoke, Kiwanuka, Mukasa, Kitinda, Musisi, Kinene, Kkubo, Walusi n’abalala.
- Waliwo Obwamuwanga obubbulukukira mu bujjajja ng’emizimu, amayembe, amajjini, emisambwa, emisange n’ebirala. Ky’ekyo lwaki bagamba nti teri mpewo etegaba ate era etabonereza. Zo zaawukana mu mitendera oba mu lulimi lw’ennaku zino kye bayita ‘cceppe’ oba ‘amayinja’. Era ne zikola mu bitongole byazo nga Ssenkulu oba mu by’abalala ng’abakozi.
Obwamuwanga kye kitongole ekikuumi ky’endagaano, obu- taka, n’okukaliza enteekateeka za Katonda. Awaguka ebi- wayi n’abeera mu lubereberye, mu butonzi, mu butonde, obubumbe, obuzaale, mu nsi n’obuntuntu;
Muwanga e Kabutalejja
Ky’ova olaba nti waaliwo jjajja Muwanga owa bulijjo mu kiggwa aleeta “obubaka obujjaja”. Muwanga e Kabutalejja yali mu bw’omuntu ng’akola nga jjajja okubbirako abantu n’okubavvuunulira obutonzi kye bugamba ensi ng’era aba- baka abalala bwe bakola. Asobya oba ajeema nga bamuk- wasa Kinene oba abalala okumuvunaana oba okumuwabula oba okumumalamu empulunguse n’embazuulu, nnandiki okumuwummuza. Ekitwala abantu ewa Muwanga kwe ku- waaba esonga zaabwe, okubayunga ku myoyo gy’abantu abalala gye bali, okusobola okuwabulwa, okufuna obujj- anjabi n’ebirala. Okwo ssaako okunyweza oba okuggyawo endagaano ezaakolebwa. Oba okuzza embeera obuggya oba okuvunaana nga mwe muli n’ebirala.
Muwanga Kisinde
Kisinde masannyalaze agatambula ng’embuyaga mu Bwa- muwanga. Ensi n’ensalo zaazo gy’eziri yonna, oyo Muwan- ga Kisinde atuukayo, kubanga mbuyaga egatta wonna mu Bwamuwanga nga atambuza amasannyalaze okutuukiriza emirimu gy’Omutonzi, ensi etereere. Amaanyi aga masanny- alaze ag’enjuba, ag’omwezi n’emunyenye, mu Bwamuwanga ge gatta, ne gakola akatambi akabunyisa obwamuwanga okukalira wonna. Amaanyi mu bw’embuyaga nga gatam- bulira mu nkola ey’akatimba akali mu langi eya kitaka, ge gayitibwa Muwanga Kisinde okukwatagana n’ebintu byon-
na ebiri mu nsi era n’ebifuna empuliziganya n’amayengo ag’obutonzi ssaako okubibeezaawo, okukyusibwa oba n’okubiggyirawo ddala.
Muwanga e Ntale
Muwanga e Ntale ye w’olukalu akwataganya ensozi eza kuno n’amawanga amalala. Ensi eriko emiroogooti egy’obutonzi oba kiyite engulumiro oba kye tuyita ensozi. Ensozi oba en- gulumiro ezo zikola obuyungiro ne bugenda nga bugatta ensi yonna mu maanyi ag’Obwamuwanga mu kisinde. Muwanga e Ntale ye w’emirongooti n’entabiro. Katonda yakola ensi eno ng’erimu emirongooti egy’obutonde gye tutalaba era nga kyama kye. Egyo gye giyitibwa ensozi. Buli kitundu kirina olusozi lw’akyo nga bw’olaba enkuubo oba kiyite grid lines. Bagamba Muwanga eyawanga ensozi n’emitendera, ekite- geeza okuyunga ekitundu ekimu ku kitundu ekirala ekye- sudde.
EMIRONGOOTI GY’OBUTONZI KU NSI
Muwanganseke
Muwanganseke ye Muwanga owa wansi omuyita amazzi oba kiyite olutimba lw’omwaliriro mu ttaka. Era yeeyam- bisa emikutu gy’omu ttaka egiyitamu amazzi, n’atuukiriza byonna by’ayagala oba kye beetaaga kibeere, kale ng’ensozi eziwanda omuliro, nnamuyenga, obuteebe, laddu, ama- taba, musisi, amawulire amapya eri ensi, n’ebirala ng’akwatagana n’omugattiko gwonna awamu mu Bwamu- wanga n’ebitongole ebirala. Okukola olutimba luno amasan- nyalaze aga muwanga g’ebunyisa mu muwatwa omuyita amazzi, ng’amasannyalaze gayingira ettaka (olubaale) nga gayita mu mirongooti egy’obutonzi. Amaanyi oba amasan- nyalaze aga wansi mu ttaka ge ganyweza ebintu ku lubaale
kye tuyita gravity mu lufuutifuuti.
Emunyeenye ziyunga ku bwamuwanga okuwa ekkubo endagiriro oba ‘ttageti’ wali wennyini w’ayagala ensonga etuuke, nga zeeyambisa n’emirongooti okusindikako ensasi z’endagiriro.
Akuumisa abantu okubeera n’amazima bave mu ku- lojja kino na kiri era y’akuuma endagaano za Katonda ng’amateeka ekkumi, endagaano y’ennono, endagaano z’omwoyo n’ebisuubizo eri Katonda. Muwanga bw’osobya nga akukwasa Nnamalere akoona ekkondere. Nnamal- ere ng’akutwaala ewa Kisinde, Kisinde ewa Kkubo, Kkubo bw’alaba gukusinze ng’akukwasa Kinene.
Ebyo byonna bitongole ebikola Obwamuwanga.
MUSISI
Musisi ke kagugumuko, amasannyalaze g’obutonzi era omu- kozi w’okukunga ensisinkano; ng’amayengo, ebiseera, aban- tu, entabwe z’obusimu mu nnyunga. Eddoboozi ly’olupimo; okulabula oba ng’omulanzi w’ebyo ebiwedde oba ebiggya oba ebigenda okubeerawo. Oluusi aggyawo ebibi n’aleeta ebirungi, oluusi n’aggyawo ebirungi n’aleeta ebibi.
EKIFAANAYI KYA MUSISI MU BIRE
ENSISINKANO
Aleeta amaanyi ge ne gakunga enkuba, n’agatta amayen- go, enkuba n’etonnya. N’aleeta amaanyi ge n’akola amay- engo, ne galeeta ekyeya n’amalamu abalwanyi amaanyi, ne bawangulwa, abalala n’abawa amaanyi ne bawangula.
Tunuulira nga Israeli-(Yisirayiri) baafukamira ne basa- ba, oluvannyuma Musisi n’ayita ne bagenda ne balwana. Mu kulwana, abaabalwanyisa ne bajja n’ebyokulwanyisa eby’amaanyi ne beekanga nga batabuse nga bakubagana bokka na bokka, Israel (Yisirayiri) n’ebazinduukiriza ne bawangula.Oluvannyuma Musisi n’addamu n’ayita olutalo ne luggwa. Katonda nga tannawa Musa ndagaano y’amateeka ekkumi ku lusozi Sinaayi, Musisi yakkakkanya olusozi olwo nga Musa n’abaana ba Yisirayiri balindirira endagaano ya Katonda. Era Musa yafukamira n’asaba Musisi n’ayita amazzi g’ennyanja emmyufu ne geggyawo abaana ba Yisir- ayiri ne basomoka ennyanja.
Misiri n’Abalooma baagobereranga obubonero bwa Musisi. Naye okutegeera okupya okwajjawo, kwaggya abantu ku nteekateeka za Katonda ne badda ku magezi g’abantu, oku- manya n’okutegeera kw’Obwakatonda ne kuvaawo. Osanga omusirikale omukulu n’eggye lye, obubonero ne bwe bwera- ga ku ggulu ne ku nsi naye n’atasobola kumanya kye bute- geeza. Obubonero bwa Musisi kwe kukankana, obumyanso n’ekidde okukwata n’okuwuuma, n’embuyaga ey’amaanyi.
Musisi akuba ebizingazinga bye Asia. Okwo kwogera kw’Obwakatonda nga alina by’atuusa eri ensi. Naye wadde akuba, ensi tefaayo ky’ategeeza. Ekikka kya Musisi aku- ba ebizingazinga bya Asia, eryo ddooboozi oba bubonero bw’okulabula ng’ate nabo bali mu kkubo lye.
OKUWONA
Omwezi ogusooka, ogwokuna, ogwomwenda ne kkuminee- biri baakolanga ssaddaaka, ez’ebinyonyi, ensigo, ebisolo, okusaba, ebyoto n’engoye eziri mu mabala ga Musoke nga bwe basinza n’okwegayirira olwo ensi n’etereera.
ENKOLA YA MUSISI
Musisi alina omwetoloolo mw’ayitira okutambulira mu lunyiriri lumu waggulu, ku lukalu, ne mu ttaka. Mu ku- tambula okwo n’asisinkana embuyaga, amayinja, en- fuufu, n’amazzi byonna ne bikola omulimu gumu gwa kunyeenya nsi, embuyaga n’ekunta, amayinja ne gakulug- guka, enfuufu n’efuummuuka, amazzi ne gakkakkanya et- taka n’okulyasamu, emisinde egyo egy’embuyaga n’amazzi n’enfuufu erimu ebisubi ne bikuubakuuba amayinja mu ttaka ne bikoleeza omuliro oguvaamu omuliro gw’enjazi (vol- cano), olwo n’ekasuka omuliro, amayinja, n’enfuufu, okub- watuka n’embuyaga ne byongera ku musinde gwa Musisi.
Musisi yali yaginga emitima n’okupika amaanyi mu gyo. Oluusi abalala gyabika, abalala ne girwala, ate abamu ne ba- wona obulwadde. Musisi ayongera mu misinde gy’omusaayi, n’okutereeza enkuba y’omutima gye gukubamu, kye tuyita ettunnunsi.
Amasannyalaze ga Musisi gasisimula obusimu obuli mu bi- ramu ng’obwo obusimu obuli mu bwongo oba awalala mu biramu. Kitwale nti akola nga kyajja oba charger mu Lun- gereza eri ebiramu okusisimula obusimu bw’omubutofaali (cells) bw’ebitonde. Obutofaali obufudde buzuukuka oba obutofaali obubadde bugenda okufa abusisimula ne bud- damu okukola. Kiyite ekiwujjo oba motor mu lufuutifuuti. Musisi y’akyaginga ensi n’etambula. Era n’etambuza, amazzi, empewo, ebbugumu buli omu n’afunako. Ky’ova olaba Mu- sisi bw’ayita abantu bafukamira ne basaba ne beebaza naye wayita ebbanga, enkuba, oba ekyeya, entalo, enkuba oba n’ebirala ne bijja. Bw’aba waakuyita oba okulekera awo bikibunoomu bibeera bingi.
AMAKUBO MUSISI MW’AYITIRA
Amakubo Musisi mw’ayitira bye biwonko nga agenda yeeko- na ku ngulumiro oba ensozi, amasannyalaze agamuvaamu buli mayiro lukumi geekona ku masannyalaze ag’ensi. Bwe byegatta n’embuyaga, enfuufu, amayinja, n’amazzi okusin- ziira ku misinde egibeerawo, muvaamu Musisi omulala ay- itibwa kagugumuko.
Kagugumuko oyo, y’asika amasannyalaze agava ku njuba ne geegatta okufaanana nga laddu ne biyingira mu mpompogo- ma n’amaanyi mangi nnyo, ate ne bifuluma nga bibwatuka n’okubwatuka olw’okw’enkuba kw’amayinja ne bikoleeza omuliro oguvaamu enjazi ezisaanuuse oba volcano mu Lun- gereza. Ate bwe biyitira mu nnyanja olwo kyetabula, emis- inde emingi ne bivaamu ekisoke ekisobola n’okukanyuga eby’ennyanja mayiro kikumi, oluusi n’okusanyaawo ebyalo. Oluusi gye biyitide bisitula ekintu kyonna ekiwalira nga agasolo, ebinyonyi, eby’ennyanja mu bbanga wala nnyo ne bikwata n’omuzira ate ebyo ne bitonnya n’enkuba gye bag- amba nti yabaddemu n’omusaayi.
Olw’omwetabulo omungi oguba guzze mu nsi obudde bukyu- ka, ekyali ekyeya enkuba n’etonnya, awaali enkuba ne wa- fuuka eddungu, abaali abalamu ne balwala, ate abaali ab- alwadde ne bawona. Abaali abagezi ne basiriwala, n’abaali abasiru ne bageziwala. Kye bava bagamba nti Musisi ajja n’enkyukakyuka, amawanga agasinga bwe gawulira oba okulaba kibunoomu wabeerawo obwetowaze, okusaba, ok- wegayirira n’okwebaza.
Ebyo byaliwo ng’ensi n’omuntu byakatondebwa. Ebyo ebig- gya olwa Musisi bivuddemu obuvumbuzi ne ssaayansi ow’engeri ezitali zimu olw’ebyo ebibeerawo oluvannyuma olwokuyita kwa Musisi ate buli muntu n’ataputa bibye sso nga kyetaagisa okumanya okw’enjawulo okutali kwa bulijjo wabula okuva mu kubikkulirwa kwa Katonda.
Katonda yatonda ensi nga buli mayiro lukumi yagiteeka- mu ensisikano y’amaanyi ag’enjawulo okutereeza obudde n’embeera z’abantu era awo we wali ebiwujjo. Buli lw’otuuka ewali ebiwujjo, waliwo olusozi oluwanvu nga lwa njawulo ku lulala era mu buli kitundu bamanyi ekibeerawo, omuzira, emizimu, embuyaga,ebimera eby’enjawulo.
Ebiwujjo mikugiro gya mbuyaga olutimbe olw’ensi, naye nga lutambula okukendeeza emisinde oba okw’ongera emis- inde, amaanyi gali bwe galutomera n’ekyusa nga lugyongera emisinde oba okukendeeza. Bwe lwezingulula agamu gakka mu ttaka, amalala ne gagenda mu ggulu, mu ngeri agamu gakendeera amalala ne geeyongera emisinde n’awalala bwe kityo, n’awalala bwe kityo, okukkakkana nga Musisi akend- edde amaanyi.
N’olwekyo Musisi ge maanyi ageegasse ng’otaddemu amazzi, amasannyalaze, omuliro, embuyaga amayinja, enfuufu n’emisinde. Bwe byegatta bwe kityo ekigambo ne kifuuka Musisi era Abaganda kye bayita Musisi Kagugumuko.
ENVUGA YA MUSISI OKUFUUKA EKIKOLWA
Erinnya lya Musisi mu Lungereza ye Spoiler Zone oba kiyite omwonoonyi ku lw’enteekateeka okusobola okulongoosa, okuggyawo n’okuteekawo. Aggya ensasi bw’akka n’afuuka amayengo, bw’atuuka ku bisowaani oba amatanga oba ki- yite dish ne bimufuula kyonna kye byetaaga, okusinziira ku
nteekateeka.
Oluusi mbuyaga, oluusi Musisi, oluusi nkuba oba muzira, oluusi masannyalaze, oluusi muliro, oluusi ndwadde, oluu- si ntalo, oluusi kwenenya ensi erabira awo. Teri alina buso- bozi ku byo. Bw’akka mu nnyanga amasuka ate ne yeeso- lossa mu nnyanga endala mu bwangu mu maanyi amazibu. Akozesa magnet n’amayengo mu ngeri enzibu okunnyon- nyola ne muvaamu ebirala. Okuva mu nnyanga ekkubo ly’akwata ze mpompogoma okutuuka ku bisowaani ebirala ebisalawo yeeyongereyo oba aveemu ekirala.
Amasannyalaze aga ssipaaka (spark) era nga gali mu Bwaki- wanuka era ng’alimu ebbugumu n’omuliro gakka, ne gatuu- ka ebunaayira ewali ebbanga awo ne gakyuka ne gatandika okukka ng’amayengo okutuusa bwe gasanga ebisowaani. Ebisowaani biringa amatanga g’amaato abazungu ge bayita sails. Ebisowaani bino byakolebwa mu maanyi ag’obutonzi era biri mwenda ku nnanga y’emu naye nga ku nnanga eyo buli kimu kirina nnamuziga yaakyo okuggyako ebisowaani ebisatu ebikola ekiwujjo ekimu bitambulira ku nnamuziga emu. Enkola ya buli kimu yeno;
- Eya bbogoya oba earth ekwata amaanyi ago n’egasindika mu ttaka okukola ebirala ng’okugakendeeza oba okukak- kanya ensi.
- Ekitiiyo oba spade projector dish ekyo kigakwata ne kigas- indika waggulu. Okusinziira ku maanyi Abaganda bakayita kazimu oba mu maanyi ag’ekika ekya waggulu y’embuyaga oba mu lufuutifuuti Tornado.
- Engabo oba shield ekkakkanya amaanyi n’egasala okuso- bola okuwonya abantu oba ebiramu ebirala.
- Ennyogoza oba freezer eyo egakwata n’egannyogoza n’egongerayo. Okusinziira ku maanyi, ebifo ebimu obun- nyongovu bwa kigero, ate mu bitundu ebirala ne bibeerera ddala nga bya muzira gwokka kati nga North Pole ne South Pole.
- Controller oba endagiriro eyo egakwata n’egasindika okusinziira bwe kiba kisaaninde.
- Empuku (destroyer pump) emira amaanyi ate n’egawanda
ng’omuliro.
- Ekiwujjo oba propeller etemaatema nga bw’ewujja amaanyi ago ng’era emanyi okukola ebirala.
Ekiwujjo kiberaawo buli kilometer 1000 era ekimu kiri Walusi ekirala ku ngulumiro ye Sinai.
EBY’AMAGERO MU BWAMUSISI
Amaanyi ga Musisi bwe gakka gafuna ebiragiro mu kitongole ky’obulerwa ekya Mukasa. Mukasa y’asalawo abagwanidde mu ngabanya eno;
Obwalukwata oba ‘Magnetal Power’, bwe bukola ebyamag- ero ku abo abawa emitango.
Obwaddungu oba Hunter Power bukola ku abo abateekayo okusaba kwabwe ewa Katonda nga bayita mu bwa Kiwanu- ka ne Ddungu okubayiggira babeere waakiriwaakiriko.
Obwawamala oba Target Power ku abo abateekayo oku- saba kwabwe era nga basaanide ne baanukulwa, kale ng’okugamba nti oyagala obuwumbi kkumi era n’ofuna omuzindo ogwo.
Obwakinene oba Satan Power bwe bw’olukukobe era nga bukola ku abo abamenyi b’amateeka ga Katonda nga ba- jeemu, era nga tebamutya olwo abo ne basuulibwa mu ntata
y’okunsi. Ate nga waliwo Katonda baagezesa obutuukirivu bwabwe amanye ekigero mwe basaanide okutambulira oba biki ebisaana okubaweebwa.
WALUSI
Walusi y’omu ku abo ababaka ekkumi n’abasatu era ng’egimu ku Mirimu gye kuddukanya ntimbe oba kiyite amatanga ga Musisi, era nga gwe musangwa gw’ekitundu. Obwawalusi bufuzi bwa zi ssemazinga oba ensi ez’enjawulo mu bw’eggulu, era kyekyo lwaki ayitibwa Walusinsi. Ku luuyi olulala, Walusinsi y’akulira ensiitaano n’ensisikano ng’akolagana n’abalala ekkumi n’ababiri. Olwo Walusi n’ajja mu birala nga Wamala, Ssewamala, Nabbamba n’ebirala nga bwe tugenda okulaba.
Walusi takoma kukwatagana na Musisi kyokka, naye Ob- wawalusi kitongole kiramba, ekirina abaweereza n’emirimu mingi egy’enjawulo. Ate era alina obuyungiro n’ebitongole ebirala okutuukiriza emirimu gy’Omutonzi. Ensengeka y’emirimu mu Bwawalusi n’ebitongole byayo bye bino:
Sserwanga – Lugaba
Mutenzaggulu – Ssewamala
Nabbamba – Mulaalo
Wanga – Kukkaliza nsonga za muwanga
Muleguza – Lubanga
SSERWANGA
Waliwo amaanyi agakolera waggulu mu Butonzi ku ddala lya Katonda erya Lugaba. Amaanyi ago gayitibwa Lusaano, okusanuusa era gakola ng’empiso oba injector. Mu bwasser- wanga, amaanyi gano gayingira munda ng’omukka (gas).
Sserwanga gwe musambwa ogupika okujjanjaba obulwadde oba okukoona oba okusiriiza ng’akola mu Bwawalusi. Eki- tongole kya Sserwanga mu bwawalusi kiddira entuuyo ne kizikammulamu amawulire nti, birungi oba si birungi, olwo ne wajja okuddaabiriza. Ettaka n’emiti abiviisaamu en- tuuyo, ‘ mu nkuba n’etonnya nga mulimu eddagala wano n’awalala.
Ekitongole kino kipika nga kyeyambisa ebbugumu n’obunnyogovu, okufuna amawulire, okuddaabiriza oba okutuukiriza ekyo kye nnyini Omutonzi ky’agala kibeere. Kisindika ebbugumu mu biramu oba ekintu kyona, olwo nekifuna amawulire mu ntuuyo oba omukka oguvaamu. Olw’ebbugumu, olwo ebintu ne bifuna obwetaavu okuyin- giza obunnyogovu.
Olw’ebbugumu, ffe abantu tuyingiza obunnyogovu mu kuny- wa. Mu kunywa, ne tuyingiza n’ebirungo ebiyamba omubiri. Oluusi batupikamu obunnyogovu. Olwo, olw’obunnyogovu, ne twota akasana, olwo ne tufuna ekirungo kya vitamin D oba ebirala. Engeri n’enkola zikyukyuka okusinzira bwe kiba kisaanide. Oluusi tunywa okuyingiza ebbugumu oba ne tunywa okuggyamu ebbugumu. Naye tusaana tukimanye nti ekitongole kya Sserwanga mu bwawalusi ky’e kiteekawo embeera oba enkola ey’okupika oba kiyite injector technol- ogy.
OMUTENZAGGULU
Ekigambo Omutenzaggulu oba Ssewamala kitegeeza eya- kola eggulu n’amala nga ye, Omutonzi akola, ku lulwe okutereeza ebyo waggulu. Oyo mutegesi era muluŋŋamya, ate y’ayunga ensukumo ku mirongooti n’okuwambaatira, era n’akola omwaliriro gwa Nabbamba, olutimbe okutuu- la na biri, n’okubaka ensasi eziva waggulu, okugaana nga sinuŋŋamye. Ebyo by’ebire ebitambula nga bikola enkyu- kakyuka z’obudde okutaasa ebizibu ebyalizze.
Ensengeka y’obudde mu Bwawalusi n’enkola y’ebire mu Bwamutenzaggulu
Source: Google
Ekire Ekisengejja (Altostratus). Kikola ng’akasengejja okukuma ensasi oba kiyite omutenzaggulu. Ate era ne kiko- la ng’endabirwamu okukuba ebifaananyi nga bwe kisoma amawulire. Ate era, Omutenzaggulu guzaalukukamu ekire eky’enkuubo oba ziyite layini oba empalo z’empimo.
Ekire ky’enkuubo (Stratus). Kyetissi ky’amawulire ne ku mirongooti. Ekire eky’enkuubo kikola ng’endagiriro ng’ekyo oluusi kivaamu Musoke. Musoke abeera n’enkuubo ne langi ez’enjawulo eziwerera ddala musanvu. Okwo ebitonde kwe bigya langi ezitali zimu. Asimba ku nsi ne mu bire n’akuba ebifaananyi nga bwalongoosa embera z’obudde. Bw’asimba anuuna obusagwa n’omukka omubi, ate naweereza omukka n’amazzi ebirimu obutegeevu ne langi ezitali zimu, ezo nazi- bunyisa ku bitonde, ebitonde ne bizeeyambisa ng’obwetaavu bwabyo bwebuli.
Ennyanja efuuka endabirwamu nga yeeyambisa Musoke n’ekuba ebifaananyi ku lukala era Musoke oyo ayitibwa Ekisoke. Ekifaanyi ne byozebwa, amawulire ne gaddayo, obutonzi ne busalawo ki eky’okukola, olwo ne buweereza ekitongole ekikwatibwako nga kijjira mu kire oba ensasi oba embuyaga oba ekiro oba nga misana, era mwe muva ebintu nga Musisi, omuyaga, amataba ne laddu okuyita ng’abipima n’okutuusa obubaka eri ensi. Eky’akabi ensi ki- gizibuwalira okumanya obubonero n’amawulire ago, obu- tonzi bwe gaweereza ku nsi.
Ekire ky’ensukumo (Cirrus). Ekyetissi eky’ensukumo. Ekire ekiteesiteesi ky’emirimu ekikola ng’ennyungiro nga kyetissi eky’ebire ebirala. Kirina amaanyi oba amasan- nyalaze ametissi nga kikolera mu bwa kyefuula. Kiri mu Bwamukasa era kibunyisa emirimu nga kikozesa amaanyi ag’ekiwujjo mu ngeri y’embuyaga era nekiyitibwa kikunta. Mu Bwakinene asaanyaawo ebyo ebifuuse ebisassalala, wasobole okuddawo ebirala. Aleeta embuyaga ey’amaanyi, ebbugumu n’amazzi agatali malungi, n’akyusa embeera. Akka ku ttaka n’asitula enfuufu, n’amenya n’amayumba oba ebirala, kye bayita kazimu-ggulu.
Ekire ky’entonnyeze (Cirrocumulus). Ekire kibeera n’entonnyeze ezibeeramu ensigo. Obwo Bwamukasa. Ekire, kikka ne kituukira ddala kumpi. Oluusi obudde bukwatira ddala, tekibeeramu kibuyaga, ne kita entonnyeze, oluusi ng’emaze okutonnya, oluusi nga tennaba kutonnya. Ama- tondo ago, gabeera manene okusinga ku ga bulijjo.
Ebirengejjo (Cumulonimbus). Ebirengejjo, ebire, Nna- kazadde w’ebire ebirala. Kye kifumba ne kijjula nga bwe kirabye ekyetaagisa. Kiri mu bwamukasa era kikka ne ki- tuukira ddala wansi ku ttaka ng’olufu ne kisuula ssuulwe, ate bwe kinuuna amazzi mu ngeri y’omukka ne kigazzaayo waggulu ne kigabira kiri eky’etissi, ekiteesiteesi ekigatwala mu kire eky’enkuba ekinene nga gamaze okulongoosebwa n’okuggibwamu ebikyamu.
Ekire ky’amazzi (Nimbostratus). Ekire mazzi eky’enkuba kitambula mpola nga kirimu embuyaga, omuliro, amazzi era ng’okiraba kizitoye nga kikulembeddwa omukka oguyitibwa ekidde. Obudde ne bukwata, ne kita amazzi ne gatonnya we kibeera kyatumiddwa. Amazzi ago ne gayitibwa enkuba. Bwe gatuuka ku ttaka ne gakulugukka ne gayitibwa mu- koka. We galegamye ne gayitibwa ebidiba. Ebidiba bye big- agaba okuyita mu ttaka ng’ensulo okubuna wonna.
Ekire ky’emmanduso (Altocumulus). Mmanduso kye kivaamu amatondo amanene agasisimula ebitonde aga- vaamu omuzira. Kya Kiwanuka era eggulu libwatuka nnyo n’enswa ne zibuuka. Era kivaamu amatondo amanene nga enkuba tennatonnyera ddala ne gasirika, olwo enkuba n’eryoka etonnya nga kimaze okupima.
Ekire ky’entambi (Stratocumulus). Kiyitibwa enkwaso oba lumaama. Kimaamira ekitundu kyonna ebirala ne bi- teekateeka ekiddako. Kya lubaale mwoyo era kikwata en- tambi za buli kimu. Kikwata wonna ne kimala okw’ozaamu ne kitwala amawulire.
Kiriro (Cumulus). Nkoona, abalala bakiyita nkodo. Kir- indirizi. Kikwatirira budde. Enkuba eyinza okutonnya ng’omusana bwe gwaka oba n’etonnya mu kafo kamu n’erekera awo, oba n’esiba omulundi gumu. Kye kivaamu laddu okusisimula ebitonde, kiri mu bwakiwanuka ne Ki- nene. Mu bwakinene y’ayitibwa Kiriro era ng’omulimu gwe
kukuba ekyo, bali kye baagambye oba oyinza okukiyita en- sasi ez’omuliro.
Ekire eky’omukungujjo (Cirrostratus). Waliwo olufungo olutambulira mu kire, lwo lukola nga nnamuziga nga train okuseeseetula biri bituuke wennyini we babyagala bikole omulimu oba kiyite bulldozer. Kirimu amaanyi agasindika era kisindika nga kiva mabega wa biri. Kyeyiringula nga namuziga oba ekiwujjo nga bwe byeyongerayo. Bwe kituuka we bakyagala kiyimirira ne kibulira mu kiri ne kiyambako.
Ssewamala oba Walusinsi oba Omutenzaggulu gwe mu- sangwa ogw’e Walusi naye ng’Obwawalusi bulina omusang- wa mu buli kifo ky’entabwe awali ebiwujjo, kiyite Spoiler Zones. Era be bamu naye ng’oyinza okusanga amannya gakyukakyuka nga ku lutimbe lwe Nevada, Omusangwa guyitibwa erinya ly’ekifo ekyo kale nga Nevada, Tutti nga ye Tutti, Shetlands nga ye Shetlands. Nevada, Walusi, Tutti n’abalala bagwa mu bwakibaawo ng’obwo bwe bwa Kiwanu- ka ddobboozi, kibe oba order ekitegeeza ekyamagero.
Wamala ali wansi wa Ssewamala ng’omuweereza. Wa- mala akola bwa kayungirizi ku bitongole ebirala ng’eky’Obwakinene, Walusi, Mukasa, Musoke n’awalala era akola ng’omuwabuzi. Olwo Wamala n’omugatta ne banne okukola n’abalala mu nsi nga bwe kiri.
Wamala ne ku lusozi Nnono gy’ali okukolagana ne Muso-
ke. Wamala akolagana ne Musoke nga kyokka ali wansi wa Walusi era bali mu kibondo kimu eky’okuteeka mu nkola emirimu gya Katonda, kyokka nga Wamala alina ekitundu ekya informer oba kalabaalaba wa Katonda oba batuukirivu oba boonoonyi. Wamala alina akabonero ke oba ekitebe nga gwe mugga Wamala era kye kijjukizo kye mu Bwakatonda, abantu n’ebiramu ebirala okusobola okugulumiza Omu- tonzi nti yakola ensi n’amala.
OMULAALO
Nabbamba gwe mulaalo ng’abamba wansi ne waggulu mu nkola y’akatimba okutambulira obubaka n’amawulire amapya agabeera gazze olwo ensi n’ebunyisibwa obufuzi bwa Katonda ng’endabiso. Nabbamba ye mukessi nnasang- wa, ababaka gwe batuusizaako ebiragiro okukwasaganya Obwamuwanga.
WANGA
Obuwange bwaweebwa obukuumi. Ky’ova owulira nga bagamba nti ekinene kya Wanga okunyweza obuwange bw’ebitonde. Wanga y’avunanyizibwa ku ntabwe z’obuwange (mirongooti) era alina n’obutume obujja mu bantu, nga bunnabbi. Wanga akola ne Muwanga, naye ng’ali wansi wa Walusi okunyweza ebintu obutajjulukuka ng’akozesa amasannyalaze aga katimba.
MULEGUZA
Okuleega, okulusika olutimba, olwo ye n’aleega entimba zonna, era waggulu ne wansi, obutaseeseetuka, kubanga buli kiseera bwe ziseeseetuuka zirina okuzzibwawo, n’okussaamu obugumu nga bwe kiba kisaanide. Ky’ova ola- ba amaanyi ago gatambulira mu butonzi nga lwe lufungo lwago. Muleguza abamasannyalaze kye bayita kkekeeya er- eega waya zaabwe.
Lwaki Musisi tabotola wali timbe? Musisi aziyizibwa amaanyi ag’Obwawalusi, amatangize oba amasannyalaze agagugubya oba kiyite resistor, naye ng’amaanyi ago gali ku bimu, ku bitongole by’Obwawalusi ekiyitibwa Nabbamba. Obwawalusi, Mukasa, Kiwanuka, Kinene bukola obusungu ne bukkira mu lutimbe lw’omutenzaggulu ng’ekkundi mu ngeri y’ekire ekirimu embuyaga. Bikkira ddala ku ntimbe za Walusi n’emirongooti gya Muwanga okutuukira ddala wansi ne bisitula n’embuyaga mu ngeri y’amaanyi amangi ng’amaanyi ago galimu emisinde, embuyaga, amasanny- alaze, okweswanta, okwekulunga, okwenyoola, okwetabula ensisikano eyo ey’amaanyi agava erudda n’erudda esitula n’embuyaga, embuyaga eyo eya kagugumuko n’eyunga wansi ne waggulu.
Amaanyi ago gakkira nnyo awali emirongooti gya Muwanga ng’eyo y’entabwe. Buli awabeera entabwe z’obutonzi, wag- gulu waazo ku mutenzaggulu wabeerayo ekkundi. Ekire
eky’etissi kitambulira waggulu wa katimba era oluvnnyuma lw’amayengo ga musisi byambuka ne benyoolera waggulu olw’obwegassi. Ensi olw’okuba amaanyi ago gabeera mu bbanga nga wansi waliyo amasannyalaze nga ne waggulu waliyo amasannyalaze, era okuyuuguuma kubuna wonna. Bw’atuuka gy’alaga n’akoleera okukola obusungu, okwasa, okubwatuka, n’okunyenya kujja, olwo n’avaamu kagugu- muko. Ekyewuunyisa Musisi Kagugumuko bw’agenda, ate amaanyi ga Musisi gasigalawo. Abantu bangi bamanyi nti bibeera biwedde, so nedda.
Ali mu bwakyefuula, afuuka. Namba emu Musisi, nnamba bbiri afuuka laddu, nnamba ssatu afuuka omuzira, nnam- ba nnya afuuka Nnamuyenga, ate n’akola amataba oba kiyite tsunami. Ate era n’akola kikunta oba kiyite omuy- aga. Bibeera bityo okusisimula ensi eve mu tulo, Omutonzi agulumizibwe, ensi etereere. Omuntu atuukirize obuwange, n’endagaano gye yakola n’Omutonzi.
Awabeera amampaati w’akuba okusinziira mu nteekateeka ze. Enteekateeka zaasigala mu nsi n’obutonzi, n’obuwange bw’ensi nga bwe yaziwanga. Okuwona ebizibu tulina okumanya ebigambo bino; nti ebyo bye biyitibwa emiko gy’obutonzi. Ebyo bye biyitibwa omusendabuziba, era tegu- manyi mwana wa muntu kubanga maanyi ga butonzi.
Ekyama kye kino. Omutenzaggulu anyigiriza olutimba, okulussa wansi n’ebire, ne Kinene ne banne ne basindika olutimba olwo wansi ne waggulu, olwo amasannyalaze ne geegatta awali emirongooti n’entabwe ne bikola kagugu- muko. Bw’agenda, biddayo naye nga akkira ku bisowaani mpola, bano ne baseeseetula entimbe.
KKUBO
Omuteesiteesi w’entambula z’embuyaga mu nsi nga zis- inziira ku biragiro bya Katonda. Kkubo akozesa amaanyi ag’enkwaso agasika oba ne gasindika mu lufuutifuuti kye twandiyise Magnetic Power. Malaiyika enkulu mu Bwak- kubo ye Kisinde.
Kkubo y’entabwe ekola ku mpulirizo, emikkiro n’emigenzo, era nga z’ensitale (layini) n’emmanduso omutambulira amawulire oba ebiragiro. Era y’enteekateeka, ssemateeka, omukwasisa w’obutonzi, obubumbe, obutonde, ensi, ebi- ramu, obuwangwa, ennono n’ebyo ebitamanyidwa nga Yye, y’endagiriro.
Kkubo okupima yeeyambisa amaanyi ag’emmunyeenye n’engulumiro za Muwanga oba kiyite emirongooti gy’obutonzi okufuna wa omulimu we gulina okukolebwa. Ogwa Kku- bo kutangaaza oba kuwa ndagiriro, olwo ye ne yeegatta n’ebitongole ebirala okutandaaza ekkubo.
Kale, ng’amaanyi okukka okuva waggulu okutuuka wansi ku kizinga, we gaandiyagaliddwa, Kkubo asobole okuteeka- teeka bw’ati nga ye bw’aba asazeewo;
- Nga gava ku Wanjuba, ne gayunga ku bire
- Okuva ku bire ne gayunga ku bbanga
- Okuva ku bbanga ne gayunga ku nnyanja
- Okuva ku nnyanja ne gayunga ku kizinga awagenda oku- kolebwa omulimu
- Nga Kkubo, y’alaga ekkubo
- Kitinda n’akola ogugwe ogw’okuyunga ebitundu ku bin- naabyo; Wanjuba ku kire, ekire ku bbanga, ebbanga ku nnyanja, ennyanja ku kizinga.
- Kitinda akola ogugwe, ogw’okutinda oba okuyunga nga
Kkubo bw’abeera asazeewo.
Kitinda y’agatta enyungiro, Mukasa ne Lubaale ne bajja ne bassaawo olutimbe olufu era nga lwa nkwaso, okusobola okubunyisa biri ng’emmezeso, okukweka olulyo, obuwange bw’obuwaŋŋamizo n’ebirala.
Kkubo, oyinza okumugerageranya ku kkampasi, mu lufuutifuuti, compass oba thermometer oba ekyuma eky’okukebeza n’ofuna ki, ky’oyagala nga bw’olaba xray. Kkubo kimyanso era masannyalaze. Kkubo alina bino; Ob- wamukasa, Obwamusoke, Obwakiwanuka; Olufu, ebimyan- so n’ebire. Ng’oyagala Kkubo, osabira mu mukka n’ekyotezo n’oyolesebwa amazzi.
Mu bwa Kkubo kkampasi (compass) y’eriwa? Amayengo mu bbanga, amayengo ku mazzi, enjatika ku takka, ebisinde ku njazi, empaama ku ttaka n’ebirala ebigwa mu biti ebyo, era ebyo, tebyajja byokka. Era ne bw’ogoberera ensozi, ensenyi n’embalama. Olufu bwe lujja mu ttumbi, n’aleeta amawulire buli lunaku amapya ku nsi n’okulaga kiki ekiri- wo n’ekyokukola nga beegasse ne Musisi, Mukasa, Mu- soke Kinene, Kiwanuka ne Mwoyo. Kkubo y’emuteesiteesi w’endagiriro ng’akola nga kkampasi (compass). Kkampassi
mu butonzi zassibwa ku ngulumiro empanvu ennyo, aban- tu we batatera kutuuka. Engulumiro zino si ziri eziwanda omuliro naye ng’oyagala okuziraba, gwe noonya eggulumiro ku buli ssemazinga ezitali za muliro naye nga ggulumivu nnyo. Okwo ku ggulumiro we wabeera amaanyi aga Kku- bo oba kkampasi. Era kkubo ng’anaakola, akulemberwa akamyaso, ng’oluusi kawerekeddwa kibwatukira oba lad- du.
Omwetoloolo ogwo ne gufuuka omwoyo gumu mu nsi; bulamu, ddembe, oba mitawaana, Omutonzi n’akola ekyo ky’ayagala ensi ebeere, era ensi n’ekibeera. Eyo, y’enkola ey’okussaawo oba okuggyawo ng’obutonzi buyita mu mpuliziganya eyo, ebbanga lyonna ku lw’abantu n’ebintu. Ku lw’abantu n’ebitonde, kiyinza okuba ng’ekiteekebwateekebwa, nga kyakubeerawo emyaka lukumi egijja, oba kikumi oba kku- mi oba gumu oba lunaku.
Kkubo lupimo, olupima embeera n’ekyo eky’etaagisa oba ekiriwo. Lukozesa Obwamusoke (okutegeera), Obwamukasa (enkwaso y’obulamu obw’omunda), Obwalubaale (enkwaso y’obulamu bw’ebiramu) okulaga layini, empalo oba enkuu- bo omutambulira amaanyi; ng’ebbugumu, amasannyalaze n’ebirala.
Omulimu gw’okupima n’okugereka owatuufu gukolebwa Kkubo ng’ampima nga bw’olaba kkampasi, mu lufuuti- fuuti, compass. N’akola okutangaaza nga yeeyambisa emu- nyeenye n’emirongooti gya Muwanga; olwo Ddungu n’akola
omulimu gw’obuteesiteesi ensonga eyo etuukirire nga bwa- ba alabye obwetaavu bw’ensonga, we yeetaagibwa, gamba; ng’enkuba, omusana, omukka g’owobulamu, kikunta, ob- ulwadde, amataba, laddu, bwe bityo na bwe bityo.
ESSAAWA Y’EMMUNNYEENYE
Bikolebwa okutuukiriza okwagala kw’Omutonzi, ebitonde n’obutonde bitojjere oba biveewo okusinziira ku biragiro ebizze. Muwanga ebyo by’atuukiriza ne banne, ne bakola ogwabwe. Lubaale mu bw’embuyaga akola ogw’okutambuza ng’ali wamu ne Mukasa mu bw’amazzi n’ekwanso, okumera. Ebirungo bya Mukasa ne Lubaale ne bikola omwaliriro mu
kika kya katimba ak’enkwaso okubunyisa we kyetaagi- sizza. Kiwanuka n’aleeta ebbugumu n’obulamu, Musoke n’ateekawo okutegeera n’okuzaalukusa, ebitonde n’ebibeera ebitegeevu ate ebiramu. Obwetaavu, bwe buleeta enkola, ebeera esaanide, mu kiseera ekyo. Amaanyi ago gakolera wamu nga buli kitongole n’ogwakyo. Musoke n’emunyeenye, okwo ssaako Lubaale Mwoyo be bakwata ebifaananyi ebi- weerezebwa mu butonzi.
N’olwekyo Kkubo, ddoboozi mu bubonero era ye nteekateeka olugero (measurement) ensi kw’etambulira okusinziira ku biragiro bya Katonda, n’ekyo ekibeera kyetaagisa mu kiseera ekyo era y’akozesebwa mu kwanukula okusaba kw’abantu n’obutonde ewa Katonda okusinziira ku kisaanide. Kati Kkubo n’assaawo empalo (lining) oba emigendo egituukiriza ensonga oba embeera ezo ng’agatta obutonzi n’obuzaale mu nsi okukola amakubo ago.
Amasannyalaze oba olufu bwe bikola obutafaali n’amaanyi ageegatta n’embuyaga okutambuza ensasi oba sparks okusinziira ku kiki ekibeera kigenda okukolebwa. Bwe kivaamu olwo ne kifuluma nga kiweereddwa erinnya eddala n’omulimu, era ne gukolebwa ku nsi. Kale olufu bwe lwe- gatta ne nsasi oba kiyite spark ezimasuka okubuna wonna oba okusika, zisobola okutuuka buli wamu ne bwe kiba kin- nya oba olusozi ne bw’oggalawo kasita wabeerawo obulamu, bitambulira wamu n’ekitangaala n’empewo gye tussa. Bwe kyekoona ku ekyo we kyetaagisa, enkwaso y’olufu n’esika
oba n’ekasuka; ky’ova osanga ku bimera nga kukutteko omusulo ng’ate enkuba teyatonnye. Era ebiriko olufu, mag- ineeti oba enkwaso y’olufu, y’emu esikamu ebitetaagisa, era ogenda okulaba ng’ate olufu terukyariko. Ekifo ne kikyuka ne kidda mu mbeera endala oba ekintu ekirala, ng’enkwaso y’ekola ekyo.
Enkuba egenda okujja nga ebbugumu n’okupimibwa, nga byatuuse dda mu kifo ekyo. Omusana oba embuyaga bigen- da okujja ng’obupime oba magineeti yapimye dda ekifo ekyo oba ekikisaana, ky’ova olaba omuntu okutambula mu ddun- gu, oba mu musana, oba mu nfuufu, oba mu bunnyogovu, aba yatuusiddwako dda magineeti oba obupime bwa magi- neeti oba obupime bw’olufu, ebimusobozesa okwaŋŋanga embeera yonna. Ekyo kibeera mu buli kitonde era amawu- lire ganguwa okuddayo, Omutonzi n’akyuusa. Ky’ova olaba abantu we bakuŋŋaanira abangi enkuba etonnya, ate ewa- badde omusana, ne kifuuka ekidde oba enkuba n’etonnya, oba si ekyo, mu lutalo ne wakwata ekidde, enkuba n’etonnya obudde busobole okuweweera, ebitonde bifune obuweerero. Obukkiriza bw’oyo, bwe bungi bwa masannyalaze bw’afuna, obumusobozesa okuyita mu ddungu, mu nkuba oba mu muliro. Ow’amasanyalaze amatono, oba obukkiriza obutono ye talutonda. Mu Bwakkubo omuliro agujja ku njuba (sun) ne gukka ne gukuba ekyo ekyetaagisa okukuba, nga bali ne Kiwanuka. Omwezi (moon), kkubo agukozesa mu kubala ebiseera (timing). Ate emunyeenye agikozesa ng’ensasi oku- funa ttageti (target). Waliwo sparks z’aggya ku mmunyeenye
okukola lining, Kkubo w’anaatambulira lwa kubanga zirina ekitangaaza nga satellite.
KITINDA
Kitinda ye mugolozi, ye muddaabirizi, okumenya n’okuzzaawo ng’akola mu Bwakkubo. Musangwa era mutonde, mpewo Lu- malamawano era mutera okulaba ng’ekibala kiweddewo, ate ne kiddawo. Amazzi ne gabula ate ne gadda. Akwatagana ne Mayanja okuggyawo ekitasaanye n’okuzzaawo ekyasaana- wo. Bwatyo bw’akola okubuna ensi yonna ng’akwataganye n’ebitongole ebirala nga batinda ne batindulula. Okutinda kwe kuzibira, ate n’okutindulula kwe kuggyawo. Twebuuze, ki ekisuula emiti, n’ensozi okusirittuka? Ebitongole biri mwenda, bwe byegatta muvamu ekyo.
- Kitiibwa – Mwoyo maanyi oba masannyalaze
- Mukasa – Mwoyo Bulamu
- Kkubo – Omwoyo ogusindiikiriza
- Kitinda – Omwoyo oguzibira
- Dungu – Omwoyo omulawunyi
- Muwanga – Omwoyo oguteekawo
- Kiwanuka – Omwoyo omuggundu (pressure)
- Musisi – Omwoyo gw’okuseesetula, ogukola
kagugumuko (violeter)
- Kinene – Omwoyo oguzisa n’okukangavvula
Abo bonna abamenyweddwa kye kigungo oba kiyite nna- muziga okutambulira enkyukakyuka ku nsi, obudde, ebi- ragiro ne muvaamu wansi abalala mu bwannamansasaana. Oyinza okukiyita olukiiko oluteesiteesi oluva mu luli olu-
kulu oba kiyite paliyamenti ekolebwa Muwanga, Dungu, Mayanja n’abalala.
Kkubo bw’amala okuteekawo enteekateeka n’amakubo, Kit- inda nga agenda atuukiriza ekyo ekyetaagisa, nga bw’alumba azzaawo oba okuggyawo.
Kitinda musambwa gwa butonzi oguweerezebwa mu kukola mu bwamwoyo nga gukola mu buli Kitongole. Kitinda ali mu bw’embuyaga, mu bw’omuliro, ne mu bw’amazzi, ate nga mmanduso. Emmanduso kitegeeza switch oba eki- sumuluzo ekitandika. Amaanyi ga Kitinda ga masanda nga galina omuliro mu bw’embuyaga era nga gakozesa ebiwujjo n’empeduzo.
Kitinda ali wonna era tebamusamirira, kyokka akola mirimu gya Katonda gyokka okugikkaliza mu nsi yonna. Malayika eri mu bbanga era takolera mu bwannyama, obubumbe oba obuzaale wabula akolera mu mu bwambuyaga.
OMUBAKA KITINDA
- Mu butonzi, Kitinda akozesa amasannyalaze ag’enkwaso agayitibwa egguggubiro aganyweza ekintu kyonna mu kifo kyakyo. Ate ku luuyi olulala bukola ng’ennyungiro y’entabwe oba kiyite siteeseni, kale kitwale nga ssoketi (ball joint) ekwataganya n’ekitundu ekireeta n’ekitwala. Mu lu- fuutifuuti Kitinda ye Clipper.
- Mu butonde ate Obwakitinda bukola omwaliiro ogw’engalamizo y’obuwange. Omukutu oguggulira amaku- bo n’okugatta awetaagisa.
- Mu bubumbe, Kitinda, Ye mwerula oba amaanyi agolon- goosa n’okuddaabiriza ebiseeseetuse.
- Mu buzaale, Kitinda mulabirizi w’ensi alaga ensobi n’okukuuma endyo, okuwa amawanga amawulire mu bituu- fu n’ebisobye, era akola n’empewo nga Ddungu ne Mayanja ng’alagirirwa Mukasa ne Kiwanuka, olwo Obwamusoke ne bujja.
NNAMIREMBE
Nnamirembe mulwanirizi w’ababonaabona bafune emirem- be n’okusaasirwa. Kino kyekyo lwaki Nnamirembe abeera nnyo, awali entalo, amalwaliro n’abo ababonaabona era addaabiriza abanaku. Obwannamirembe buva mu Bwan- nambi ne bujja olwo ne bufuuka Obwanamirembe nga na- kazadde ne budda mu bwa Nnabuzaana olwo buzze mu bwempewo ne budda mu Bwannabingi ne budda mu Bwan- nakayima n’abalala. Olwo obwannamasasaana ne bujja.
OMUBAKA NNAMIREMBE
Nnambi bwe yafa yatukuzibwa n’afuuka Malayika enkulu mu bwakatonda era ng’ekola nga nakazadde. Obwa naka- zadde bwe bwa mulerwa, bwe bwannabakyala. Omulimu ogwo guliko abayamba mu bw’empewo ne mu bw’ennyama. Mu bw’empewo be bano; Nnabuzaana, Nnamirembe, Na- kayima n’abalala. Mu bw’ennyama be bamulerwa abagaba enzaalo, abazaalisa, abagaba eddagala n’ebirala.
Nnambi bw’amala okufa, yazzibwa mu bw’omwoyo ng’omutuukirivu n’awabula ensi nga ajjira mu Bwan- namirembe nga mwe muli Bannakayima, Nnabuzaana, Nnabingi n’abalala. Abaddugavu kye bayita Maliza, bo bali kye bavvuunula nga mother.
Nnamirembe mutonde, era alina ebifo bye eby’enkizo, ate nakati akyajjira ku bantu abalala, omwoyo gwe ne gubatam- buliza mu Bwannamirembe. Bwe bujunyi bw’abo ababon- abona wadde bo babeera tebamanyi Nnamirembe y’ani?
OLUKOKOBE
Ekitongole ky’olukokobe kirina amadaala ag’enjawulo, mu biwayi by’enjawulo, ng’omumyuka w’olukokobe ye Ki- nene, naye nga bombiriri balina emirimu egyabaweebwa egy’enjawulo.
Olukokobe lwo lukessi ate nga Kinene ye, musirikale. Ki- nene oluusi ayitibwa Walumbe. Olukokobe lwo, bwe lu- mala okuketta nga lukusuula ewa Kinene akukoleko, yadde lwo, lusobola okw’ekolerako buteerevu kubanga lubeera mu myoyo gy’ebiramu nga mwe muli abantu, ebisolo, ebimera
n’ebirala.
Nga Mukasa bw’alina akabonero ke ak’amazzi, ate nga Ki- wanuka, muliro, akabonero k’olukokobe munnyo. Omun- nyo kirungo kya bulamu; ky’ekyo lwaki owulirayo ebitongole nga Kinene Bulamu ate ng’ekiseera kye kimu waliyo Mu- kasa, nga naye akola ku bulamu. Amazzi, bulamu, omun- nyo, bulamu, omuliro, bulamu, kyokka nga byonna byeten- geredde.
N’olyekyo buli awali omunnyo, waaliwo ekitebe ky’olukokobe. Bino bimaamidde ensi yonna nga mwe muli n’ebyobuggaga eby’omuttaka, era ky’ekyo lwaki bizibu nnyo okuvisaamu ssente, era bangi basigala beevuma olw’entalo ezivaamu, endwadde ezigoberera, okufa ekyeyonoonere, okuwam- bibwa ne bafuuka abaddu, okufiirizibwa olw’obutafunamu n’ebirala ebijja mu ngeri eyo. Olujegere, akawanga, empiima n’embukuuli kitegeeza butabaazi ku nsi n’emagombe.
KINENE
Obwakinene bulimu ebiwayi bisatu;
- Obujajja mu bwannansangwa – endagiriro
- Obukuumi mu by’okwerinda okuggyawo ebikyamu
n’abakyamu okutuukiriza entumwa za Walumbe
- Okutuukiriza ebikadde waddewo ebipya mu nkola endala ng’okulumba bakiyagi n’okubalaga amazima baswazibwe ensi yeewuunye Omutonzi nti, “Eeeh! Katonda alina obuy- inza, omusajja omugagga, omuzira ali mu nkomyo, oba mu
ttaka, oba agongobadde? Takyategerekeka! Ekitiibwa kid- dire Omutonzi. Walumbe akulumba mu ngeri zonna ensi n’etya.
OLUKOKOBE, WALUMBE, KINENE NE KINENENNYUMBA
Waggulu ye Lukokobe (Ssetaani), ng’ebigendererwa bye kubega, kuggyawo, kuswaza, kwanika abakyamu n’abo abeeyita kye batali n’okusala emisango nga akuwaako obu- julizi n’osibwa mu njegere z’ensi n’okwasibwa Kinene.
Kinene n’asengejja ofe, ozoole, okubwe oba osiraane. Kyag- gyamu n’akusindikira Walumbe n’akulumba.
Walumbe akozesa Kinenennyumba n’omusirikale omuku- lu Kawumpuli “Kkubolyamulimba”. Oyo ajjirako amayem- be Lubowa n’ababe. Kawumpuli lyo jjiini era lijja n’agalyo. Bw’otakyuka oba okwenenya oba okuliwa, n’okugenda mu maaso n’okuvvoola ebika, obuwangwa, ennono, obwakaba- ka, ensi, abazadde, nandiki, ng’otigomya banno n’obujeemu obulala, olwo guba gukusinze. Bakusindikira ebizibu, end- wadde, obwavu, enjala, obugwenyufu, okuzaala ebikekenke n’ofuna ebikweno, amawano n’ebirala nojjirwa ebiwugulu, ensekere, envuza, ebiku n’ebirala.
Ogenda okulaba emmese enjeru, ebitinti, ebidandi, ebyok- oola, n’ojjirwa binnabantu, ensi n’emanya nti ggwe wasir-
aana. Olina ebizibu, ssente mmye. Okufiirwa, okufiirizibwa, ezadde erinywanywagagadde, okwekola obusolo, okuggwa ekitiibwa n’amaka okufa ne bagamba nti gundi yafa teri muntu. Era ne bw’ofa, mu ggulu tolaama, ogenda mu mu- liro, naye bwe weerwanako n’otereeza ogenda oddawo ne bagamba nti gundi yaloka, yaddawo. Kati atuukiridde.
Ate mwattu ogenda okulaba eby’obuggaga, abantu, en- simbi, eddembe nga bizzeewo okwo ssaako emikwano. Sso luli wawuliranga mpabaana, bunyeenyenkule, biwuugulu, bibe, nvuza, emisango, agasango, kufiirwa, bwavu, ttima, njala, empalana, obuggya n’ebirala.
Naye waaliwo obulambe nga omutonzi alina bwe yakutuma okole ku nsi n’otabimanya wadde okwenoonya kiki ddala ky’oli, ekitone kyo kizuulire obutume bwo n’ebbona ly’olina ovve mu bwannabyewanga. Obonerezebwa mu ngeri ze zimu okutuusa lw’otereeza oba n’osaanawo kubanga wa- liwo emisango egitali gyaffe emisikire, ekibi ekisikire era n’okigendamu nga tomanyi n’obonaabona.
Kye kiva kisaana omuntu okunoonyereza ddala kiki ekituu- fu ekivaako ebyo byonna? Mu kifo ky’essanyu n’eddembe alaba nnaku so nga ku nsi yatuteekako nga ebitonde bye ebiwunde, ebisanyusa, ebiweereza, eby’eddembe, ebiwulize tugyeyagalireko, tulye ebiriko bitusanyuse, tumutenderez- enga, tumugulumize nga tunonyereza era tuviseemu ebi- rala ebya magezi gaffe ng’abantu okufaanana bbo bwe bas-
saawo ebyo bye tukozesa ekitiibwa ky’Omutonzi kyeyongere okugulumira nga sitwerabidde ye eyabissaawo, amaanyi g’akozesa, ababaka bakola nabo, obutonde bwe yatuwa, obukulembeze bwe yassaawo, obwakabaka bwe yatuwa, abazadde abatuzaala, okutegeera n’okumanya, obulamu n’okwekuuma nga bye bikulembera tugulumize omutonzi era tumutenderezenga.
Ebyo bwe bitabaawo mu buli ngeri yonna we wava aka- vuyo akaleeta okubonaabona ng’ensi; empewo, amaanyi ag’obutonzi, obuyinza bwa Katonda bitukutteko ne bitug- gya mu ekyo kye twandibadde ne tutandika okubonaabona n’okusiitaana n’ensiitaano etubuzizza emirembe ne tudda mu kwebuuza nti ensi yaba ki? Lwaki kino, lwaki kiri?
Bw’atusindikira obubaka n’obunabbi n’ebirooto abataa- gala nkola ze ne batandika okubitaputa ekifuulannenge n’okwegulumiza n’okwefuula nti bo batuukirivu era be bali ku nkola ya Katonda ennambulukufu naye nga tebafuddeyo ku Katonda ky’agamba ku kizibu ekyo ekiriwo ensi n’abantu be? Ekibakaabya amaziga ng’ate abo bo bali mu ssanyu na kweraga, ogwo musango ogutalikoma ku nsi ne mu Ggulu era batunuulidde kimbabulira, n’omuliro mu ggulu.
KIWANUKA
Kiwanuka ava mu busatu obukola Mwoyo Kitiibwa, nga Kiti- ibwa ava mu Mwoyo gwa Katonda ogw’olubeerera, oguyitib- wa Lubaale Mwoyo. Obusatu obwa Kitiibwa, omuli Mukasa, Musoke, Kiwanuka bwetondeka okudda wansi ku mwalir- iro oguddako, ogwa Mwoyo Mwene ng’akola nga nnampala era omugabirizi w’omwoyo guli ogwa Kitiibwa eri ebitongole ebyo ebitambuza emirimu gya Katonda mu nsi yonna.
Omubaka Kiwanuka gwe musambwa oba Malayika en- kulu mu kitongole ky’o Bwakiwanuka. Mu lufuutifuuti ye Almighty Provider nga kiva mu maanyi, amayengo oba amasannyalaze ag’omuliro aguvuga ekyo ekiba kyetaagisiza nga gavu mu njuba.
Obwakiwanuka maanyi agava mu njuba nga gakolera mu busatu, wamu n’obusatu obw’omwezi okuleeta enkyukakyu- ka okusobola okutuukiriza ebiragiro by’oBwakatonda nga biva mu nteekateeka y’ekitongole kye ekya Mwene. Ensen- geka y’amaanyi mu Bwakiwanuka y’eno wammanga:
- Omuliro – Amaanyi ag’omuliro ate nga
masannyalaze.
- Enneetondeko – Amaanyi agamezesa ekyo ekiba kyetaagisa.
- Kkaaliya – Amaanyi ageetikka okuva kifo
ekirala okugenda mu kifo ekirala.
- Amayengo – Amaanyi agatambula nga gas
ensera okutambuza amaanyi amalala.
- Entonnyeze – Amaanyi ag’amazzi agafuula ekin
tu kiyite asidi (acid).
- Ebiragiro – Amaanyi agalagira amaanyi oba
ebintu ebirala okukola ekyetaagisa.
Kiwanuka maanyi ag’ensasi. Avaamu omuliro n’amazzi, amaanyi amasaanuusi, eddoboozi, ebiragiro, kigambo, ma- teeka, musirikale. Abuna wonna ku lwa Ttonda, okuduumi- ra ebitongole ebirala, era buli kitongole kirimu; Mukasa, Musoke, Kiwanuka, Kinene ne Lubaale. Olwo lwe lukiiko ly’emyoyo okuva waggulu okutuuka wansi.
MUSOKE
Obwamusoke buviira ddala mu busatu obwa Mwoyo Kitiibwa; Mukasa, Musoke ne Kiwanuka. Mwoyo Kitiibwa n’ateekawo ekitongole ekyeteekateeka nga kikola ng’omugabanya w’emirimu gy’ebitongole by’omwoyo nga kiddukanyizibwa Mwoyo Mwene. Mwoyo Mwene ng’akola ogugwe ogwa Katik- kiro, n’ayawula omwoyo ogwo, ogwawamu n’akolamu ebiton- gole eby’enjawulo nga mwe muli n’ekya Musoke n’abalala,
mu madaala n’emitendera egy’enjawulo, okutuukira ddala wansi mu bantu n’ebiramu ebirala. Ennambulula ya Mu- soke eviira ddala mu kitabo, “Ensi Teggwa Malojja”.
Ekitongole kya Musoke kikola mu kubunyisa amagezi omuli okumanya n’okutegeera mu lufuutifuuti ekiyitibwa “Sense”. Naye, okwongera ku kitundu ekyasooka wano we tutunuu- lira engeri gy’akkamu okutuukira ddala wansi ku biramu ebiri ku mwetoloolo guno kiyite ensi n’ebigirimu nga mwe muli n’abantu.
Amaanyi oba amasannyalaze ga Musoke gava mu Wanjuba. Amasannyalaze ga Musoke, omwezi n’emmunyeenye bwe byegatta bikola akatimba, nga ka Musoke, ne kava wag- gulu eri mu bbanga okutuukira ddala ku nsi oba olubaale nga bwe kasensera emyagaanya gyonna we giri, okusobola okubunyisa emmanyiso n’obutegeevu buli wamu.
Obutegeevu bubunyisibwa akatimba ka Musoke buli wamu ne ku muddo, era kyekyo lwaki omulenzi oba omuntu yen- na, bw’aba ayogera n’omuwala oba omuntu omulala, oba bw’abeerako n’ekyalowooza akuulakuula obuddoddo oba obutabi nga bw’abulya, okumuyamba okuyingiza obutegee- vu buli, obuli ku muddo oba obutabi obwo, lwa kubanga okusengejja n’okulambika ensonga kireetera amasannyalaze ga Musoke okukendeera mu mubiri era nga kyetaagisaawo n eya mangu okusobola okujjuuliriza amasannyalaze gali aga Musoke.
Enkola ya Musoke ku Muntu
- Akawago. Wansi w’eddokooli waliwo akawago. Omubiri gulimu empeke z’ensigo ez’ebiwujjo. Zeekyusa, zeenyenya, zikuba era waliwo omutima, ejjinja ly’enkoto, ne ku kalulwe n’akawompo. Obutundu obwo bwonna bukolera wamu, okukola entunnunsi nga bukolaganira wamu n’omutima. Era akawago kali mu bulago akapika okufuna entunnunsi n’omukka ogutambuza biri obulamu okubeerawo. Bw’otuga omuntu, biri byonna bisirika, n’afa.
- Eddookooli. Ssitoowa y’amaanyi agakozesebwa mu kus- inziira ng’okulya, okwogera, n’ebikolwa ebirala ebigwa mu ttuluba eryo, era kyekyo lwaki omuntu bw’aba anyiize, amaanyi g’ekikolwa, ng’okulwana gasimbukira mu ddook- ooli okusobola okusinziira.
- Omumwa n’ennyindo. Omukka omukyafu bwe gufulu- ma mu muntu kiyite carbondioxide, gw’olekera ne gukwata ku katimba ka Musoke okulaga endagiriro y’omuntu waali. Olwo omuntu n’ayingiza omukka omuyonjo ogw’obulamu kiyite oxygen naye nga mulimu amaanyi oba amasanny- alaze ga Musoke agavudde ku katimba ka Musoke. Omukka ogw’obulamu bwe guyingizibwa mu mubiri, olwo ebitundu ebikola ku kumanya n’okutegeera, bitandika okusenggej- jamu amaanyi gano okusobola okugeeyambisa.
- Eriiso. Kye kitundu kya Musoke ekitambuza obutegeevu mu nkola ey’okutangaaza nga bwe kisoma amawulire ate nga bwe kikwatagana n’ebitundu ebirala.
- Ekyenyi. Okumanya kuva mu masannyalaze ga Mu- soke ag’emmanyiso. Kale nno etterekero ly’amasannyalaze g’emmanyiso, kiyite sensing energy, liri munda wa kyenyi. Ekitundu kino kirimu ebitundu bibiri; ekisooka kye kiri waggulu ko, nga kikola mu kuyamba okufuna emmanyiso nga kyeyambisa amasannyalaze g’emmanyiso aga Musoke. Ekitundu ekyokubiri kikola ng’ebbibiro ly’amasannyalaze g’emmanyiso nga kye kiviisaamu amasannyalaze ago okuva mu g’awamu aga Musoke. Kikola nga ssitoowa oba etterekero kiyite battery, era kye kiriikiriza kinnaakyo ekya waggulu, eky’emmanyiso kikisobozese okukola omulimu gwakyo. Amasannyalaze g’ekitundu kino agasinga gayita mu nnyindo nga geeyambisa endagiriro y’omukka oguss- ibwa, nga bwe guyingira, bwe gufuluma.
- Akawompo. Ekitundu ky’akawompo kiringa aka- sawo naye nga kalimu amazzi aga asidi agali mu kika ky’ekirungo kya macule kiyite mercury. Olw’emmandule eyo eri mu kasawo akawompo ate nga eri mu kika kya macule (mercury), n’eyamba ekitundu ekyo ne kikola
ng’omulongooti kiyite antenna oba aerial eyingiza amasan- nyalazze gali aga Musoke n’empuliziganya.
- Akatimba ku kawompo. Waggulu w’obwongo ku mutwe gw’omuntu waliwo akatimba akalala aka Musoke ng’ako ke kakola ku kuyingiza obutegeevu mu tterekero ly’essengejjero eriri wansi kumpi n’akawompo.
- Essengejjero. Essengejjero lirimu ebituntu bibiri; Ekin- tundu ekisooka okuva ku kawompo kikola ng’etterekero ly’amasannyalaze agakozesebwa mu mulimu gw’okusengejja amawulire. Ekitundu ekyokubiri kikola ng’eggugubiro lya masannyalaze erikola amasannyalaze g’okusengejja okuva mu maanyi ga Musoke. Ensonga lwaki omuntu bw’abeerako ne ky’ayagala okusengejja awanika omutwe ewali akawom- po n’okuyisa ekibatu ku kawompo, okusobola okuzuukusa akatimba mu mangu bw’aba ne kya ssengejja, ng’okwawula ekirungi n’ekibi. Oluusi ab’ekiwalaata baweebwa amagezi okwambala enkoofiira oba obutamalaako nviri nga zisali- bwa, okwewala obutatataaganya katimba ka kawompo, aka Musoke.
- Ekyoto. Ekyoto kikola ng’effumbiro lya buli kitundu okusobola okuvisaamu amagezi agakola ku bintu ebitali bimu.
- Entambi z’enkoona. Enkoona ekola ng’ekyoto ky’entambi z’okumanya ebiriwo, n’ebyaliwo nga bw’olaba tape recorder oba ebyuma ebizungu ebikwata amalo- boozi oba ebifaananyi, okusobola okujjukiza mu nsalawo y’ebintu kiyite decision making. Ekitundu ekya wag-
gulu kikola ku kutereka bikadde ate ng’ekyawansi kirina emirimu ebiri; okukola ku bipya n’okukola ng’ebbibiro ly’amasannyalaze ga Musoke agatambuza ebitundu ebyo, eby’entambi. Wabula amabibiro gonna gabeeramu ebitun- du bisatu; emmanyiso (sensor), olufungo (charging system) n’olutambi (tape), okusobola okukola emirimu gyago. Eki- tundu kino kye kiyunga ku “Ntambi za Mukama” naddala kw’abo abaliko Mwoyo wa Mukama okubasobozesa oku- kola emirimu gye mu butuufu bwagyo.
- Akawago k’enkoona. Akabokisi kano ke kakola ku masannyalaze g’ebitundu eby’emabega nga kalimu n’okubala entunnunsi oba okukola ng’oyiro annyogoza
bbatule (battery) naye nga ali mu kika kya macule (mer- cury) era ng’ekitundu kikola ng’omulongooti kiyite aerial. Kye kitundu ekikwataganya entambi z’ebiriwo, ebipya n’ebikadde.
- Enkoto. Amasannyalaze ga Musoke gayingirira ku ngulu awali enkoto n’emunda nga gayita mu bitundu ebirala, okusobola okupima ensonga oba ebikolwa nga bwe biba bizze kiyite judgement era ky’ekyo lwaki omuntu bw’abeera apima ensonga akyusa omutwe ebbali n’ebbali.
- Akabubi k’omugongo (Enkizi). Kaviisaamu ebirungo ebiri mu ssitoowa yaako bikozesebwe okuzzaawo ebipun- guuse n’amasannyalaze ga Musoke agatambuza omubiri. Akazzi ako oba akabubi ka buwunga era kalinga enjuba y’eggi essaanuule.
ENKOLA YA MUSOKE KU MUNTU
EBYAMA BYA MUSOKE
- Musoke y’agabirira obutoffaali okuzaalukuka n’obulamu bwabwo, ebiramu byonna n’abifuula ebiramu n’ebifuna okumanya n’okutegera.
- Omwezi gwe guleeta enkyukakyuka z’obudde, ng’obudde obwo butambulira ku ssaawa y’omwezi. Omwezi gubala es- saawa kkumi na ssatu emisana n’ekiro, so si nga eno eyaffe ey’essaawa gye tubala ku nsi. Ate era omwezi gubala ennaku kkumi na bbiri okuweza omwezi. Buli nnaku kkumi na bbiri
wabeerawo enkyukakyuka z’obudde. Naye ennaku ebbiri ezisembayo; olw’ekkumi n’olumu ne kkumi nebbiri, enjuba ezza obuggya amaanyi mu mmunyeenye, omwezi n’ebintu ebirala bye tumanyi ne bye tutamanyi ekiyitibwa charging. Mu nnaku ezo ebbiri n’akatimba ka Musoke mwe kafunira amaanyi amaggya okujjuuliriza kw’ago agakozeseddwa. Mu kiseera ekyo Musoke kiyite rainbow w’alabikira ku ggulu era nga bye bimu ku byama ebikusike.
- Musoke atambulira ku katimba ke bw’omu, nga yeeton- godde ku bitongole ebirala. Amasannyalaze ge nga gava ku Wanjuba geegatta n’ago ag’omwezi n’emmunyeenye ne biko- la akatimba aka ky’envu omutangaavu, naye nga keesud- demu amabanga ag’etobese ne langi endala eza Musoke.
- Omugabe wa Musoke ku nsi ye Mmandwa nga gwe, Mu- sange ogukuuma ekitonde ky’omuntu n’okutwala om- wetoloolo gwonna. Omusange Mmandwa gwe gukola ng’omusunsuzi mu Bwamusoke kiyite Gatekeeper era gwe gusalawo ky’on’ofuuka mu mitendera gy’amadaala g’obutegeevu okusobola okubeera omutume oba omuweer- eza ku nsi, era awo we wava; Bajjajja kiyite Abakongozzi, oba Bassenkulu, oba Abatangaavu, oba Abalanzi, oba Ban- nabi n’abalala, oba n’okugamba nti gundi oyo wa njawulo.
GGULU
Gguluddene y’ani? Era Obwaggulu bukola butya? Obwaggu- lu nsaasi, ezivaamu eddoboozi n’omuliro. Eggulu okubwatu- ka ne muvaamu ebimyanso, okukubagana n’okwekuuba ng’Omutonzi akyusa embeera y’ensi. Olumu Obwaggulu bu- weereza kibunoomu ku nsi okuleeta amayengo n’amawulire agayitibwa okubonekerwa. Kwe kulaba ekyo, ky’otosuubira era ky’otaalitegede. Obuyiiya oba obuvumbuzi obuggya, n’ekivaamu enkola empya ebadde temanyiddwa mu biseera ebyo.
Enkola eyo, n’etambuza ensi obuggya n’okukyusa em- beera z’abantu n’obutonde. Ekyo kye kiyitibwa Ggulud- dene, ebboneekerero. Ebboneekerero kwe kulabisibwa n’okukenga, ekyo kye kiyitibwa obukalammuli. Obukalam- muli ge mawulire amakalu, ag’amazima ag’obutangaavu.
Katonda bw’asindika abatume, basigala beetaaga obujunyi kiyite obuyambi, okuva ewa Katonda. Yabateerawo ekiton- gole ekiyitibwa Ggulu okubawabula, okuleeta amawulire, okubataasa, okukenga n’okumanya nga babifuna buteree- vu, ekiyitibwa Mbagirawo.
Okumanya okutagerwa mu ntegeera eya bulijjo nga kiri mu daala eryomukaaga ne lyomusanvu nga kye kiyitibwa em- puliziganya (sense) eyoomukaaga n’omusanvu. Kyo ekirabo ekyo ne kiweebwako n’abalala abayitibwa bakakensa mu nsi, ng’ebintu bye bakola tebivudde mu kubisoma wabu-
la biva mu butonzi. Abamu ne bayitibwa abavumbuzi ab- alala ne bayitibwa ab’ebyamagero, abalala ne bayitibwa abatume oba kiyite bannabbi olw’okumanya okw’enjawulo n’omukisa.
Naye Obwaggulu ku luuyi olulala bwe bukwatiridde ensi, n’ebitonde, n’ebimera okunywera gguluggulu ekiyitibwa obunywevu, oba ekiyitibwa okuguma mu mutima oba mwoyo ekiyitibwa ng’obugumiikiriza oba obumalirivu ekivaamu obuwanguzi.
Obwaggulu buzzaamu amaanyi mu mirongooti egy’obutonzi egy’obwamuwanga oba kiyite okugikyaginga. Obwamuwan- ga bwe bunyweza amawulire, obulamu n’obutonde nga bu- kozesa amayengo n’amasannyalaze ku nsi. Obwaggulu bwe buzzaamu amaanyi n’amasannyalaze ago n’emirongooti ob- utaseebengerera.
Mukasa nnyini bulamu y’asindika amaanyi ge ag’ebire eby’omukka ebiyitibwa olufu. Bitambula wonna nga big- gyayo amasannyalaze ku mirongooti okugabunyisa ensi, ng’amaanyi ago bwe gakola emirimu egigatumibwa, ate bwe gazzaayo amawulire ewa Ggulu nti mirongooti gundi gyetaa- ga okuzzaamu amaanyi okusinziira ku mpeereza gye giweer- ezaamu. Ggulu n’atereeza ensonga eyo, ensi n’etambula.
OMUBAKA GGULU KU MIRIMUGYE
NNENDE
Nnende ye Ssaabawolereza, omutaputa w’enteekateeka n’ebiragiro. Kati ng’okusalawo kw’ebitongole mu Bwakaton- da, Nnende y’asalawo oba enteekateeka erindeko, oba eg- ende mu maaso oba n’aluŋŋamya okusinziira nga bw’alaba kibeere. Ekyo mwe muva Obwannende, ekitegeeza, “Nnende- kerwa obuyinza”. Enteekateeka ye Ssemateeka w’obutonzi kiyite Constitution mu lufuutifuuti. Empewo zirina obuy- inza, era buli kitongole kyemalirira, ate buli kitongole kigo- berera Ssemateeka, kati ye, n’ayamba okuggyawo entaputa ey’enjawulo, okusobola okufuna eddoboozi ettuufu ate nga limu.
Nnende agaziya mu kunnyonnyola, so nga entaputa yan- dibadde ya njawulo singa amaloboozi gaawukana. Ku mwa- liriro guno ogw’ensi n’ensi kiyite zissemazinga, Omukulu ye Mmandwa ng’ali n’ababaka, era yazaala obunnabi mu nsi ezitali zimu, omuwabuzi w’ensi, ate Nnende n’abeera ow’ensuwa yonna, ng’agatta wamu kiyite universe, ng’ali n’omwoyo gwa Kitiibwa.
Ebiragiro bw’amala okubisindika wansi, Namalere n’abiteekesa mu nkola olwo ne bituukirira, ekigendererwa ne kkibaawo. Ekondeere, eddoboozi ery’enjuba lijjira mu bwakiwanuka, neriggunda, nerikoona nti, “ddu”, ky’ekyo ekiyitibwa laddu, ne likkatira ekigendererwa ne kituukirira. Namalere n’akola ogw’okuttaanya ng’omukomazi bw’akozesa ensaamo ennene, okukutulakutula ebikuta, oluvanyuma ng’olubugo luvuddemu akozesa akasaamo akatono okuttu- la, okunyiriza n’okumaliriza oba okuwoola ekyo ky’ayagala.
Bwe kituukirira alekera abalala emirimu gyabwe, okukola ebyo bye beetaaga kyokka ng’ebyo byonna bikolebwa okuva mu muti ogufugibwa obutonzi era ekitiibwa ne kiddira Mu- kama Katonda, eyassaawo omuti, obutonde, embeera en- nungi n’ebirala. Ky’ova owulira nti Namalere akoona ekkon- dere, ng’ekkondere akoona eri mu kabonero ka njuba oba muliro.
ABADDUGAVU N’ENSUWA
Ensuwa bwe bujunyi bali kye bayita insurance. Obujunyi bw’oyo addukanya ensi ye Nnende. Ng’ensi eyo y’ensuwa. Omwetooloolo gwonna n’akumaakuma ebitongole ebi- rala okutuukiriza emirimu gyayo, okuwa amagezi, obula- muzi n’okukakasa nti Omutonzi by’ayagala bituukirira mu nsi, ate era ekitongole ne kizzaayo amawulire butereevu ow’Omutonzi.
OLULERA LWA NNENDE
Abadugavu mu nsuwa bateekamu olwendo. Olwendo olwo nga lwe lusena amazzi mu nsuwa, ng’ate amazzi ago kitegee- za nti bwe bulamu. Amakulu ebiramu byeyambise Nnende mu nsi, okufuna bye byetaaga era abiyunge ku bitongole ebirala okutuusa amawulire ew’Omutonzi. Ng’omuntu bwe weyaambisa olw’endo okusena amazzi mu nsuwa, bw’otyo bw’osobola okweyambisa Nnende okusaba Omutonzi, atuukirize by’oyagala oba okukuwa ekisonyiwo mu nsi.
Olulera, ebikusike mwe bitambulira. Oluseke olwo, okulu- saba okozesa lwendo. Mwoyo, kkubo lye okussa eby’enkiso mu nsi. Kkaaliya, omwettissi oba omuvubo oba ekisena nga bw’olaba ekirera bwe kiriisa omwana. Naye ensuwa y’ensi. Eky’enjawulo byegalise ng’ensuwa empunzikemu. Olwendo kye kirera mw’ayisa obulamu, okufa n’obulamu bwe bira- mu. N’olwekyo olwendo kye kirera ate ng’ensuwa gwe mwe- toloolo gw’ensi n’ebyayo kiyite ekisawo.
Omutonzi yatonda ebisuwa n’abiteeka mu bifo ebitali bimu era nga abyawudde n’amabanga ag’enjawulo nga gakola ng’olutimbe okwawula ensuwa eno kw’eri. Nga mu nsuwa ezo mulimu emigattiko egy’enjawulo n’ebintu ebirala bingi, kyokka ate nga byawuddwamu emyaliriro egy’enjawulo nga buli mwaliriro guliko ebintu byagwo. Kyokka ate ng’emmunyeenye ezo, oba zi ssemazinga, oba ebintu ebyo eby’enjawulo nga birina ennyungiro n’obutonzi okuva wansi we ziri okutuuka waggulu, nga bw’olaba olwendo bwe luli
mu nsuwa oba olulera bwe luli ku mwana mu lubuto. Omutwe gw’olwendo nga y’entabwe ya ssemazinga kwe tuli kiyite earth, ng’omukonda gw’olwendo nga y’ennyungiro eyunga ssemazinga oba ensuwa, eri, waggulu ku butonzi, okusobola okufuna empuliziganya n’Omutonzi ng’akola omulimu ogwo ye Nnende. Ky’ova olaba abaddugavu buli nnyumba eteekebwamu amazzi, ensuwa n’olwendo, era buli mugenyi bw’atuuka nga aweebwa olw’endo lw’amazzi. Olw’endo lubeera n’omumwa ku mutwe, oguyingiza ng’eyo ly’ekkundi ery’entabwe.
AMADAALA G’OBUTONZI MU BWANNENDE MU NSUWA
Olw’endo lwakula ng’ennukuta eya mukaaga. Obwekulungo bw’ennukuta eyoomukaaga n’omukono by’ebikola ekitundu ekisooka;
- Ennyanja mu ttaka. Mu kitundu kino, eddaala erisooka y’ennyanja mu ttaka.
- Olubaale. Eddaala eryokubiri lwe lubaale oba ettaka kwe tuli.
- Ensiitaano y’ensi. Ensiitaano y’ensi ly’eddaala eryokusatu mu butonzi bwa Nnende, omuli amasannyalaze ag’enjawulo, n’ebitonde mwe bisiitaanira n’ensi.
•E Bule n’e Bweya. E Bule n’e Bweya bwe bukiikaddyo, bukiikakkono, ebuvanjuba n’ebugwanjuba, oyitira mu Nnende okufuna ennyungiro.
- Ebbanguliro. Emyoyo gyonna gitwalibwa mu bbanga oku- tendekebwa obwakatonda ekiyitibwa okubangulibwa. Ekifo mwe gitwalibwa, omutendera ogwo guyitibwa ebbanguliro. Ensonga lwaki amawulire ag’abagenda mu ggulu gaawuu- kana kubanga eggulu lirimu emitendera.
- Eggulumizo. Buli mutuukirivu oba buli amazeeyo emi- tendera n’akyusa obulamu atwalibwa mu ggulumizo, oku- gulumiza omutonzi ng’ali ne bamalayika, kiyite emisambwa egya waggulu. Ye Omutonzi abeera walala mu nju Bbanga.
Omukonda gw’olwendo, bwe gusembera, awali omum- wa gw’ensuwa, gukyuka ne gukola ennukuta eyoomu- sanvu, ekitegeeza amadaala omusanvu ag’empuliziganya n’omutonzi mu Bwannende. Ge gano okuva wansi okutuu- ka waggulu;
- Bulamu Ttonda. Kkuumiro ly’emyoyo egy’enjawulo
- Buweebwa. Obwo bwa Lugaba obukola engabanya.
- Ffumbiro. Obwo buteesiteesi kiyite program ew’owali olukiiko lw’emyoyo.
- Entonnyeze. Bwe bulambe bwa buli kitonde n’ekitone kyakyo kiyite ttalanta.
- Buyungiro. Z’entabiro za buli kiwayi era we wali obwa Kitinda.
- Embuyaga. Ge makubo g’empewo, embuyaga eza buli ngeri era bwe Bwakkubo.
- Enju Bbanga. Bwe bwa Ttonda awali Omutonzi, era wa
nkiso.
ENGABANYA Y’AMADAALA MU MWETOOLOOLO GW’ENSUWA
AMADAALA | MU LUFUUTIFUUTI | OMULIMU |
Liisoddene | Incenter Power Buyinza | Nsibuko |
Ebula Empty Dark Space Teri kiriyo kiyite olutimbe
Obweyuno (No Horn) olw’enzikiza
Bukulu
Mu Mbuyaga
Seeding Entity
Magezi, birooto
Embuyaga ezikuŋŋunsa ebirala.
Ensitaano y’owaggulu
Trial Mass (Testing Center) Eggezeso.
Engulubiro
Emyoyo Ntende
Cover Storing Space
Buteefu, Ddembe
Ekkumiro ly’emyoyo.
Mulubaale
Spiritual MatterGgwangiro ly’emyoyo
Ekifo ky’ensonga z’emyoyo.
Obukasa Life Spare Cave
Kkalio ly’obulamu
Obulamu obutereke.
Ebunyenye
Tunes of Rules Amateeka oba ebiragiro.
Nsinansi
Bufukunya Entabwe
Giver Set Area (Programming area) Lukusa,ddagala Almighty Space Ggwangiro ly’ensigo Union of Layers
Omugabi w’enteekateeka.
Olutondotondo olungi.
Ennyungiro z’emitendera kiyite
Obugatte bw’ebitongole mu ekirera myoyo
Ebulubaale Ensi
Spiritual Cover
Buyinza, kulamya Humanity Space
Gwangiro ly,ensigo
Emyoyo n’obutuukirivu oba e Bu-
vamyoyo ewasimbuka emyoyo.
Awali endabirwamu oba ekire ky’engabana y’amabala kiyite eky’enkuubo.
Kitaka
Space View
Butuuliro
Ekifo ekiwunde awaterekebwa
ebirungo.
Olubaale
Ground
Tterekero, zziika, ttakalirya Ttaka
ENJUBA, OMWEZI N’EMMUNYEENYE
Mu buweereza bwa Katonda, emmunyeenye kitegeeza buyi- giriza. Omwezi kitegeeza butume. Enjuba etegeeza Bwaka- tonda. Omuntu oba abantu basobola okubeera abaweereza ku kimu ku ebyo oba ebibiri ku byo oba byonna okusinziira Katonda ky’aba asazeewo, kiteekebwe mu nkola.
ENJUBA
Enjuba y’entabiro y’amaanyi oba omuliro nga ge masanny- alaze, agagabira ebintu ebirala kye wandiyise okukyajinga oba okuzzaamu amaanyi. Ate era ly’etterekero ly’ebirungo mu ddaala erisooka, oluvannyuma ebisaanuusibwa okuga- bira ebitongole ebirala.
Enjuba eno ekwatagana n’enjuba eri ey’omunju Bbanga awabeera Omutonzi, era ebiragiro biva wa Katonda mu Nju Bbanga. Mu birungo ebisooka mulimu amaanyi ga Kiwan- uka, Omwoyo Kitiibwa, Omwoyo gwa Musoke n’obulamu obutereke, obwa Mukasa.
Newakubadde Kiwanuka, Musoke ne Mukasa bakola obusatu obwa Mwoyo Kitiibwa, naye ate mu ddaala lino, erisooka beetongodde mu buweereza bwabwe bonna, oku- kola obuna mu kuweereza ebitongole ebirala. Wadde ba- kola mu biwayi eby’enjawulo basigala beemalirira buli omu, mu kitongole kye. Eky’okulabirako ssemaka abeera ne ki-
taawe, ne jjajjawe nga be bamutwala, era nga be bamuzaala, kyokka ng’ate buli omu yeetongodde mu buweereza bwe eri omukulu w’ekika n’obutaka kubanga olukiiko n’omukulu w’ekika bonna abo lubatwala ng’abazzukulu baabwe, awa- mu. Kyokka era mu lukiiko lw’ekika mwena muba mwenk- ana mu maaso g’omutaka, omukulu w’ekika ekyo. Na bano bwe batyo bwe bali mu maaso ga Katonda.
Enjuba kitegeeza bino wamanga;
- Enju Bbanga, y’enju ey’omubbanga ekitegeeza enjuba.
- Ekitangaala nga ye Kitiibwa, Mwoyo Omutukuvu.
- Ssemuliro nga ge masanyalaze mu Bwakiwanuka.
- Ekitangaaza nga ge magezi ag’okumanya n’okutegeera mu Bwamusoke.
- Emmuliso nga ge maanyi ag’olubeerera agava mu Mwoyo wa Katonda ow’olubeerera agayitibwa Lubaale Mwoyo.
- Enjunabintu by’ebirungo by’obulamu mu Bwamukasa.
- Ekisu n’ebisenge byakyo kitegeeza entambula y’ebisowaani by’enjuba ku nnamuziga yaayo nga bw’ereeta enkyu- kakyuka ku nsi kuno n’ebitundu ebirala, omuva emirimu egy’enjawulo mu bitongole ebyawufu mu buweereza bwa Katonda.
EKISU N’EBISENGE
Omwetoloolo gwa Ssewanjuba, gutambula nga guli ku nna- muziga nga bwe gwetoloola nga bw’olaba olujegere lw’eggaali bwe lutambula ku ffuluweero. Ebisoowani oba ebisenge oba
ebitaala nga bikyuka okusinziira ku mannyo bwe gatam- bula. Ebisenge oba kiyite ebisowaani, era bwe bityo bwe bitambula wamu n’omwezi okukola ekyukyuka y’obudde n’okugereka ebiseera ku makya n’akawungeezi, emisana n’ekiro. Bw’eti enjuba bw’efaanana n’ebisowaani byayo, en- kola n’ekyukakyuka.
EKIFAANANYI KY’ENJUBA N’ENJAKA YAYO
EKISOWAANI | OMUGASO KYE KIKOLA |
Empewo | Kkaaliya (Carrier) Omugendo, omukuŋŋunto. Y’embuyaga etambuza amaanyi n’emigaso |
Endwadde | Ekitta (Destroyer) Gwe mufuulo, okukyusa embeera z’ebiramu. Obulwadde ne bulwaza abo oba ebyo eby’okukyusibwa. |
Masannyalaze | Amaanyi (Power) Ge maanyi ag’eyambisibwa okukola ekyo ekyetaagisibwa. |
Embuyaga | Mmanduso (Force) Embuyaga gw’emuggundu ng’embeera zikyuka okutambuza ensi n’ebigiriko okutuusa amawulire. |
Ekidde Ekinnyogoza (Cooler) Ye kiwombe, omulaalo, obwerende, eki- seera ky’enteekateeka waggyewo ekipya. | |
Amayengo | Ekibunyisa (Dynamo) Embuyaga gw’emuggundu ng’embeera zikyuka okutambuza ensi n’ebigiriko okutuusa amawulire. |
X-ray | Lupiimo (Meter) Lwe lupimo lw’amaanyi we geetaagisa endagiriro era olugero lw’ebiramu. |
Omuliro | Ekyokya (Cooker) Omuliro oba ebbugumu okwokya kyonna. |
Ebbugumu | Kye kibuguumirize okwokya, okusaa- Ekibugumya (Heater) musaamu, awatali kwaka nnyo. |
Enkyukakyuka z’obudde zirina ebigendererwa. Ekisoow- ani ekyaka omuliro omungi kiyamba okukammula ettaka, n’abakungula okwanika, okugoba obunnyogovu mu nsi n’ebirala, n’olw’ekyo buli kisoowani n’omugaso gwakyo.
Kati n’obudde obulala bwe butyo, nga bwe bukyuka n’ekisowaani ekyaka mu budde obwo, ku makya, mu ttun- tu, olw’eggulo oba ekiro. Wabula ekisowaani eky’endwadde kifulumya amaanyi agabeera ganuuniddwa omusana nga gukola emirimu gy’agwo, era ne gafuuka obutwa, obuvaa- mu endwadde.
EBIRUNGO MU NJUBA, OMWEZI N’EMMUNYEENYE
OMWEZI
Katonda ye, ye mwezi w’ebyo ebikyamu n’abiggyawo n’assaawo ebirala. Nga mu kwera okwo akozesa ebirungo bino, okutuukiriza emirimu gye egy’omwezi nga bwe yaa- likoze, nga ye ye mwezi:
- Ebbugumu eryaluza ebitonde nga lirimu ensigo en- tonde (genes) nga zeeyambisa ebiriisa (vitamin), empulirizo
(germination power) n’emmandule ensengejja (chlorophyn).
- Mwoyo Mwene akola ng’amasannyalaze, naye nga ye mugabirizi Omukulu ku lwa Mwoyo Mutukuvu, Kitiib- wa, ng’agabirako n’ebitongole ebirala okusobola okukola emirimu gy’Omutonzi nga kwasa n’okulondoola emirimu egy’Omutonzi. Mwoyo Mwene oyo, yakola ng’omukulu w’ebitongole n’okubirabirira, era ky’ekyo lwaki etterekero lya Mwoyo Mwene liri mu mwezi kubanga gwe gupima eb- iseera by’Omutonzi ate nga n’ebitongole, emirimu gyabyo egibitumibwa Omutonzi, gitambulira mu biseera ebigereke ate era nga bipime ebbanga lyonna.
Ensonga lwaki emmunyeenye ezimu zirina obulamu, ng’eno eyaffe kwe tuli, lwa songa zitambulira ku lujegere lw’omwezi, ate ng’omwezi gwe gupima ebiseera ebisaanide ne guteekawo enkyukakyuka z’obudde ezisaanira, okusobozesa ebiramu okubeerawo n’okubeera ebiramu. Olujegere luva ku omwezi ate ne luyunga ku nnamuziga ey’oku njuba nga byonna ebi- satu, bwe bitambula awamu ku nyungiro z’enjegere.
Wabula emmunyeenye oba ensi oba zi ssemazinga ezitatam- bulira ku lujegere z’emmunnyeenye olutali lya mwezi teziri- na bulamu kubanga tezifuna kupima kw’obudde. Omusana guyinza okwakira emyaka lukumi oba enkuba okutonnyera eddakiika kkumi mu myaka bina ekyo ne kiremesa ebiramu okubeerayo.
Kyokka ng’omutonzi singa asalawo asobola okukyusa sse- mazinga eyo n’agissa ku lujegere lw’omwezi era n’etandika okufuna embeera z’obudde entuufu, awo n’ebiramu n’abisobozesa okubeerayo nga bwazze akola. Eyo y’ensonga lwaki enzikiriza ezimu zitwala omwezi ng’ekintu ekikulu en- nyo mu bwakatonda nga kw’otadde n’okupima ebiseera.
ENJEGERE Z’OBUTONZI OKUVA KU NJUBA N’OMWEZI
ENTAMBULA Y’EKITAANGALA
Ebiseera bitambulira mu bitundu musanvu ng’ekitaangala kiva oludda ne kitambulira eddakiika kkumi, ne kigenda oludda olulala nayo ne watambula eddakiika kkumi, ne kidda waggulu eddakiika kkumi, ne wansi eddakiika kku- mi, ebukiikaddyo eddakiika kkumi, ne bukiikakkono ed- dakiika kkumi olwo ne wasigala akatundu katono nnyo wakati akakyayaka, olwo nako ne kazikira mu ddakiika ttaano. Mu kiseera kye kimu ate ne kiddamu okukoleeza eri awabadde wazikidde ne kiddamu mu ngeri y’emu okubala ng’ekitangaala bwe kitambula. Mu mbala y’omwezi eddaki- ika nkaaga mu ttaano ze zikola essaawa.
ESSAAWA Y’ABADDUGAVU EY’OMWEZI
- Essaawa ziri ssatu;
- Essaawa y’enjuba ebala ebiro n’obudde omuli eddakiika, olunaku, omwezi n’omwaka. Eyo ssaawa y’abantu ng’ekolera ku ntunnunsi za Kiwanuka ne Mwoyo Kitiibwa.
- Essaawa y’omwezi ebala bulamu, butonde n’engereka ya ssizoni n’okumanya enteekateeka y’Omutonzi ky’agamba ensi. Eno ekolera mu Bwamukasa (bulamu) n’obulamu bw’ebiramu obwa Lubaale Mwoyo.
- Essaawa y’emmunnyeenye ye y’entambula z’empewo, ob-
utonde n’amazzi ng’etambulira mu bwetaavu n’enteekateeka. Engereka kw’etambulira. Obw’emmunyeenye, obw’omwezi n’obwanjuba mu mirimu gy’abwo buviisaamu ensasi ku mmunyeenye n’ezigenda awo, awo aweetaagisa ng’obutonzi bwe buba bugerese. Obw’emmunyeenye bulimu Obwakkubo n’Obwamusoke ng’essaawa ye kkampasi kiyite compass.
- Obulamu bw’ebiramu bwe bufuga obulamu obutereke, mu kunyweza n’okubanga ensi empya, era nga kwossa okukuuma ebitonde n’obutonde obutasaanawo. Obulamu bw’ebiramu bufugibwa Lubaale Mwoyo nga gwe mwoyo gwa Katonda ogw’olubeerera era nga gulimu ekirungo ky’olufu. Olufu nga lulimu ebirungo by’obulamu kiyite enfukirizi, byonna ne bigenda ku biramu. Bwe lutuuka ku biramu, amasannyalaze ago, gasensera ne gayingira mu biramu n’ebirungo by’obulamu ate enkwaso ey’olufu n’enuunamu obutwa obuli mu biramu. Ebbugumu bw’erijja oba omusa- na bwe gwaka, ebiramu bituuyana, obusagwa ne buvaamu mu ngeri y’omukka n’entuuyo, ate mu kiseera kye kimu ebiramu ne biyingiza ebirungo biri munda n’ebyongera oku- bifuula ebiramu ddala kiyite charging.
Obutonzi butambulira mu nnaku kkuminabbiri era y’embala y’omwezi omujjuvu, ng’embala etambulira ku kisaawa oba nnamuziga y’omwezi. Omutonzi y’akola oluviiri oba olujegere lw’omwezi, nga lutambulira mu nnaku kkumi nabbiri. Buli lunaku lubeera n’erinnya ddala, ng’enjuba bw’eseeseetuka, n’omwezi guseeseetuka. Ensi n’ekola ng’olupiira olutam-
buza amannyo gali. Olwo mu nnaku kkumi nabbiri omwe- tooloolo ne guggwaayo okukola omwezi ogujjudde so si em- bala y’ennaku 28, 29, 30 ne 31. Mu mbala y’ennaku kkumi nabbiri, nga tutambulira mu mbala y’omwezi oba ekisaawa ky’omwezi. Buli mbala y’omwezi ey’ennaku kkumi nabbiri, ate n’ejja n’enkyukakyuka z’obudde nga bwe ntadde wano wammanga:
ENKYUKA Y’OBUDDE EYA BULI MWEZI
Buli kiseera ekiyitawo obudde bukyuka okusinziira ku kisaawa ky’omwezi, awo ne wajjawo embeera endala emu ku ezo ze nkumenyedde. Enjuba ye ddyo, omwezi ye kkono. Omwezi mirimu obudde, n’okusensera okusobola oku- tuukiriza ebigendererwa oba okuleeta ensisinkano. Enjuba maanyi oba amasannyalaze kiyite force, ebireeta obulamu n’okusobola okutambuza ebirala.
EMMUNYEENYE
Emmunyeenye omulimu gwayo kwe kusonga n’okupima ng’egoberera ebiragiro by’Omutonzi oba enteekatee- ka ze. Oluusi ekola nga ttoki (torch) oba oluusi ekola ng’amasannyalaze agapima kiyite x-ray okutuukiriza omu- limu gw’endagiriro.
Enkwanaganya y’obwegassi, ey’obusatu; emmunyeenye ng’akabiriiti oba ssipaaka (spark) oba akaliro oba kiyite ig- nition byegatta na bino eby’omwezi ne by’enjuba, ensisink- ano eyo ne yeegatta n’ebitongole byonna eby’obutonzi ne bikola emirimu gy’Omutonzi ng’olwo buli kitongole kikola omulimu gwakyo. Oba bantu, ekitongole kya Musoke ne kibassaamu amagezi agabalaga nti enkuba ejja, oba mbi nnyo, oba mulimu ne laddu. Oba bidduka ne biyimirira, oba babadde wabweru ne bayingira.
Ebitongole by’Obwakatonda byeyambisa endagiriro z’emmunnyeenye okukola emirimu we gyetaagisa. Ky’ekyo lwaki abantu abaliko ekitone kya mwoyo, batunuulira obu- bonero bw’emmunyeenye ne bamanya embeera yonna eg- enda okuddako. Bwe balaba enkuba ng’ezze ate nga mbi bakoowoola Omutonzi awugule. Buli ggwanga lirina bwe likola nga bugoberera obubonero obw’enjawulo ku ggulu ng’obw’emmunnyeenye.
Omwezi n’emmunyeenye bitambulira mu kukuuma obudde.
Leero, bw’etonnya ku ssaawa emu, enkya etonnya ku ssaa- wa bbiri, oluddako ssatu, okutuusa olujegere lw’obudde bwe lugwayo era bwe kityo ne kitandika bupya ku mbeera y’obudde empya, ezzeewo. Ekyewuunyisa enkuba bw’eba egenda kukya, n’ebinyonyi bimanya. Bw’eba eneetonnya, binaaba mu nfufu. Bw’ekya biyimba. Ne ku mirimu emirala bwe kityo bwe kiba. Byonna bikolera wamu, omwezi, en- juba n’emmunyeenye.
ENSIBO MU LUYIMBA LWA MAGGA
Nsibo ki eri mu luyimba lwa, “Magga atemereza ku nnyanja, okulya emmese”?
Akakwate kali ku magga, okunoonyereza buli wamu, ka- sobole okufuna eky’okulya. Okufuna kw’osinziira, olengere ebiriwo, odde waggulu okke wansi. Kitegeeza, ggwe ali wag- gulu, bw’onokkanga, ofuna ky’oyagala. Tobeerera awo. Oli- na okwambuka ate n’okukka. Naye ng’ogoberera ebikubuu- lirwa, okifuule luyimba nga y’endagiriro.
EKYAMA EKIRI MU MMUNYEENYE
Olaba amayinja ga minzaani? Okubaalansinga obuzito, okusobola okumira enjuyi zombi mu bbanga. Ate tunuulira ebiwaawaatiro bya magga. Okutemereza, okw’okuwujja. Emmunyeenye, nga magga ze zisibira eby’omu bbanga oba eby’omu bwengula, waggulu. Ezo yingini. Kiddamu nti ezo
ze yingini za Katonda ez’omubbanga.
AMAANYI N’ENKOLA Y’EMMUNNYEENYE
Emmunyeenye kye kigambo ekiva ku bungi bwazo. Zo em- munyeenye, n’omulimu gwe zikola ng’Omutonzi azigamba nti mmunyeenye ensi etereere. Kale emmunyeenye zirina amaanyi agavaamu, ag’emanduso nga gayitibwa emmun- nyeenyeso. Gakola nga sipaaka ne gasonga awantu, era ne gavaamu amayengo agayitibwa obunnyeenyezi agaleet- era ebitonde okukenga, n’okumanya obubonero obute- geeza ebidakko ku nsi, olwo ensi n’emanya okusinziira ku budde.
Obubonero n’obwetaavu, olwo ne batereeza oba ne bazi- yiza ensonga eyo. Waliwo emmunyeenye waggulu, emmu- nyeenye ezitambula okutambuza amawulire nga zikola emirimu, n’emmunyeenye ebiwuka ebyaka, n’okutegeeza ebitonde obubonero bw’omutonzi kye bugamba, obutonde ne bumanya. N’emiti, omuti oguyitibwa ommunyeenye era nga gwaka okutegeeza ebitonde. Naye byonna babitwala ng’omukisa okusinga, olw’amawulire amalungi bye bireeta eri ensi n’okulabula akabi akabeera kagenda okujja.
Obubonero obwo nsonga, amaanyi ag’emmunyeenyeso galinga emuliso kiyite x-ray. Ga kika ekiyitibwa solar oba ennyonnyogeze. Gava mu njuba ne gagenda mu mwezi ne gajja mu mmunyeenye era ne gayitibwa ennyonnyogeza.
Ebitonde byonna birina ennyonnyogeze. Kabe omuntu alina ennyonyogeze. Ennyonnyogeze ziyamba ebitonde okuman- ya nga bikozesa omubiri n’emmunyeenye okufuna okute- geera okw’obutonzi okutali kwa bigambo ne bikwanagana n’obwongo, okumanya Omutonzi kyagamba ensi.
Ennyonyogeze ziyamba okusoma ebyaliwo, ebiriwo n’ebiriddawo. Omuntu bwa kwata ku kintu kyonna, oba ekintu kyonna ne kikwata ku muntu, yeeyambisa ennyon- nyogeze okutegeera ki ky’agamba oba ekiddako nti obudde obujja bugenda kubeera bwa bbugumu oba bwa musana. Ebigenda okujja ku nsi oba ebivuddewo. Ennyonnyogeze ze ziyamba omuntu okubeera omutuukirivu n’awona oku- beera omwonoonefu.
Ennyonnyogeze ze zisikiriza omuntu okwegomba, okuwa- sa n’okuzaala. Ennyonnyogeze ze ziyamba omuntu oku- manya by’alya n’ebyatalya ng’Omutonzi bwe yamuteeka- teekera omubiri gwe n’obwongo ne kimuyamba okubeera omutukirivu n’obutagwa mu bizibu oba okulya ebiyinza oku- muyisa obubi. Ebitonde byeyambisa ennyonnyogeze okuk- watako, okulegako n’okuwunyiriza. Ebyo byonna bikolebwa ng’amasannyalaze gali n’empulirizo eziva ku mmunyeenye ezisindika obubaka eri ebitonde okusobola okumanya buli kimu.
OMUSANA, OMWEZI N’EMMUNYEENYE MU BWA KKUBO
Obutonzi bwateekawo malayika omusambwa, oba amaanyi ag’enjawulo nga wano gayitibwa Kkubo. Nga Kkubo omu- limu gwe kukola ndagiriro, okwo kw’ossa okukwanag- anya entambula z’obudde ng’akolagana n’enjuba, omwezi n’emmunyeenye. Era tukisanze ng’enteekateeka nga bwe ziri mu Bwakatonda ng’ate ffe si bwe tuzimanyi. Waliwo ekibulamu, kye tuvudde tukibaleetera tukilombojje nam- mwe mukitunulire mulabe;
Obwakabaka bwa Wanjuba, obwakabaka bw’omwezi, ob- wakabaka bw’emmunyeenye n’obwakabaka bwa zi ssemaz- inga, Katonda yabikola nga bipime. Birina enjegere oba ttay- imingi kwe bitambulira. Enjuba esindika amansanyalaze mu mwezi, omwezi ne gusindika ku mmunyeenye. Awo ne bitandika okutambula nga bw’olaba olujegere ku ggaali oba ekyuma kya kasooli oba ekyuma kyonna ekirina olujegere bwe kiyinza okutambula.
Ekyo ne kiyamba ensi okutambulira mu makoowe gali amapime mu ekyo mwe muva okubala ebiseera okutandiki- ra ku butikitiki, kasendabuziba (eddakiika), essaawa, olu- naku, essande, omwezi, emyezi n’omwaka.
Kyokka tukisanze nga mu budde okwekulungula olunaku lubamu essaawa kkumi na ssatu, n’ekiro ne kibaamu es-
saawa kkumi na sattu era nga awamu z’essaawa abiri mu mukaaga. Ekyo kivuddeko ebizibu bingi mu kugwa ebipi- mo, n’abantu okufa olw’ebipimo. Ssizoni z’ebirime okugwa, n’ebirala bingi. Oyinza okutegeka ennimiro ng’omanyi tu- jja kusiga mu gwookubiri, ate enkuba n’ejja etonnya mu gwoomukaaga, kubanga engeri gy’obalamu si y’eri mu lu- jegere lw’obudde.
Oyinza okumanya nti essaawa eri emu ey’ekiro, kyokka ogenda okulaba nga n’omusana gukyayaka ekiteegeza ten- nawera ssaawa emu mu mbala y’olujegere ne kireeta okuke- erewa n’ebirala. Ogenda n’olwaza omulwadde, ne bakubuuza Emyaka gye n’ogamba nti kkumi, era ne bamuwa eddagala nga balipimye mu myaka egyo, kyokka eddagala ne lita- kola bulungi kubanga mu ntambuza y’olujegere, omuntu oyo alina emyaka kkumi n’ena. Ogenda n’olaba omuwala nga amanyi nti wa myaka kkumi, naye ate gigenda okuwera emyaka kkumi nagumu, ng’azadde omwana munne.
Kiteegeza mu ntambuza z’olujegere wa myaka kkumi n’ena. Ogenda n’olaba omuntu nga mu mbala y’omuntu owa buli- jjo ng’ali myaka nsanvu, nga takyasobola kuva mu nju, so nga mu mbala y’olujegere alina emyaka kikumi ng’ogenze ogatta ensuusuuba enfissi n’ozireeta n’ozissa mu maaso g’emyaka gy’alina. Ow’ensanvu osanga wa kikumi! Ekyo ki- teegeza, y’ensonga lwaki bajjajaffe baawangaalanga emyaka lukaaga, lukumi, bitaano, bina, bibiri, kikumi, kubanga baalina embala y’obudde entuufu.
Naye ffe omuvubuka tumubalira emyaka makumi abiri so nga mu mbala y’olujegere awezezza emyaka asatu. Akaana akato tukabalira emyaka ebiri so nga mu mbala y’olujegere kalina ena. Abazannyi b’emizannyo boogerwako ng’ab’emyaka abiri mu etaano naye bagenda okulaba nga takyasobola kudduka kubanga abeera aweezezza emya- ka ana bw’obala egy’olujegere na giri gye yalimba. Ekyo kikosezza buli kitongole olw’obutasobola kumanya bipimo bitali bituufu. Emmunyeenye ezimu zivugibwa ku lujegere lw’emmunyeenye zinnaazo. Nga zo ezo zivugibwa olujegere oluva ku mwezi. Ezivugibwa omwezi ze zi ssemazinga eziriko obulamu, ng’eno eyaffe kw’ogitadde.
Omwezi gulina ennyondo ssatu nga bw’olaba obulimi bw’essaawa nga bwe kakoona ng’esitula endala waggulu, ate n’eri n’ekoona. Awo olujegere luba lutambula ku mannyo gali nga bw’olaba train (eggaali y’omukka) bw’etambulira ku luguudo lwayo. Naye buli kkowe erimu lilina ekiseera ekig- ere, era nga lilina ebibeera mu kiseera ekyo. Ky’ova olaba nti gw’omusanvu wabeerawo kino, era bwe kityo bwe kiri ne ku gwe kkumi, ku gwe kkumi n’ebiri n’ebirala bityo. Ekyo kye kivaamu abantu okumanya okubala ebiseera oba kiyite season, nti mu mwezi gundi nkuba, mwezi gundi musana n’ebirala.
Ate n’ebitongole ebirala nga byateeketeekebwa nti omusana bwe gujja nga ne nnamuyenga ajja, enkuba bw’ejja nga ne laddu zijja, ekidde bwe kijja nga n’empewo ejjiramu. Em-
buyaga bw’efuuwa nga n’enfuufu esituka ekyo ne kireeta ensi yonna okutambulira mu bw’enkanyinkanyi obutakyu- ka olubeerera.
Bwe wabeerawo obugereka nti ekkowe gundi bwe lilitambula emirundi bwe giti wagwawo kino, era bwe kityo bwe kibeera oluvannyuma ly’emyaka egyo mulaba bulabi nga kizzeemu nga enseenene ezijja mu gw’okuna n’ogwekkumineebiri naye nga bibeera biseera bya nkuba etali nnyingi nnyo nga kwossa n’ekidde ekisaamusaamu. Emyaka n’emyaka bwe bibeera.
LUBOWA
Waliwo amaanyi ag’empingu nga gakolera mu Bwakinene ng’omukuumi oba omutabaazi, omusambwa, ejjembe nga gakolagana n’ebiwayi bibiri; Magobwe ne Kiwanuka.
Lubowa ku b’owansi akola ng’omusirikale omukulu. Ob- walubowa obusanga mu bisolo, biwuka, mu muddo, mpewo ssaako abantu n’emiti.
- Omuti baguyita Lubowa era
- Gwe nyoolanyoola n’omuzimu Lubowa
- Abantu era abeera ayitibwa Lubowa
- Empewo ejjembe Lubowa
- Omuddo guyitibwa olubowabowa, akaddo akenyool
anyoola
- Ekiwuka bakiyita Lubowa Kaasa
- Mu binyonyi kiyitibwa Lubowa oluwugguwuggu
- Mu misota Obwalubowa butambulira mu kinnamagoye,
ekisota ekitaluma
- Waliwo olusozi ng’e Kajjansi oluyitibwa Lubowa
- Waliwo effumu eriyitibwa Lubowa
- Abasirikale bayitibwa ambambowa
Lubowa akka ku muntu n’akola eby’obuzira, okutabaala, okulwana, emirimu, okufuna ssente, n’ebirala. Buli akola empewo ateekwa kuwanga jjembe lya Lubowa. Okusinga li- wangibwa mu jjembe ly’embogo era mugendamu emiti mingi n’ejjinja eriva ku Lusozi Lubowa.
Lubowa abowa ebintu bingi. Akwata ababbi, agaba obug- gaga, obukulu, awabula, aloosa, akangavvula abakyamu.
Mu Buganda ng’oggyeeko Kiwanuka ne Kawumpuli ly’ejjembe ekkulu. Waliwo olusozi Lubowa abantu gye bagenda okus- inza n’okufuna amaanyi n’emmanyiso.
Katonda yeeyambisa Lubowa okubowa abakyamu, okuba- siba babonerezebwe basobole okubatereeza mu mbeera en-
tuufu. Abakozesa ebintu bya Lubowa babikozesa okukola bye baagala okutuukako.
Wazira waaliwo amayembe amalala mangi agakolera wamu ne Lubowa nga gano;
- Kuwalire – Mutabaazi awabula
- Nnamuzinda – Mutabaazi azingako
- Nnambaga – Mutabaazi akola ppulaani
- Mulengera – Mutabaazi obukessi
- Kasajja – Mutabaazi alumba
- Lukoma – Mutabaazi atinda
- Kalondoozi – Mutabaazi anoonyereza
- Ssebintu n’amalala – Mutabaazi akola ku kufuna
Lubowa ali mu biti bingi; obutonzi, obutonde, obubumbe n’obuzaale era asobola okulabikira mu biti bingi; kale si ki- tuufu omuntu obuntu oba omuweereza we okulowooza nti ye, ye Lubowa oli mu Bwalubowa.
Obwalubowa busirikale era bw’olaba ekifaananyi kino ola- bira ddala omumenke, anti abasirikale abamu babeera n’emirimu egy’enjawulo ekibafuula abaawufu ku balala era nga si baabulijjo nga bwe tulowooza. Kati nga bw’olaba amagye aga bulijjo naye ng’omwo mwe muli bansolonkam- bwe oba bamuntunsolo. Kale Lubowa ne banne be twogedeko awo wagulu, bagwa mu kiti eky’abasirikale bansolokambwe oba bamuntunsolo.
Ekitonde ky’omuntu si kyangu olw’engeri Mukama Ka- tonda gye yakiwa okutegeera n’okwelowooleza ne kifuuka eky’omutawaana eri ensi. Ate nga ku luuyi olulala eki- tonde ky’omuntu kinafu ddala olw’okumanya okutono n’obwakiwagi. Kale ng’empewo ez’efaanaanyiriza ekitonde zaali tezimala, ng’era, kyali kyetaagisa okwegattako aba- sirikale ab’enjawulo okusobola okunnyikiza omulimu gwa Katonda ku nsi. Okwo kwe kwava okuleeta abasirikale ab’enjawulo, bakanywa-musaayi nga; Lubowa, Kawumpuli, Nnamuzinda n’abalala, okusobola okuffefetta abakyamu; nga babowa, bakuba, baketta, bazinduukiriza, balumba, babaga, banoonyereza, batinda, batabaala, basumulula, babonereza, bawabula n’okukola ebirala nga beetengeredde oba nga bakozi mu bitongole ebirala nga bwe kiba kyetaagi- sizza.
Lubowa ne banne, bo, si ba kuno nga bwe tukirowooza era kyekyo lwaki basangibwa nga bazibu nnyo singa oloopebwa empewo ziri endala oba omuntu ye kennyini nga omusobez- za, olwo n’okolebwako, oba n’oddirwamu oba ne bakuleka. Ekifaanyi kya Lubowa tekirina njawulo n’enzige oba es- seenene era ky’ekyo lwaki tewali yali azzeemu kibuuzo nti, enzige oba esseenene zo ziva wa? Enzige oba enseenene zino ne mu bitabo ebitukuvu zoogerwako nga Katonda azisindi- ka eri abakyamu.
Enzige oba n’enseenene zino ziva mu bbanga wa ssemaz- inga z’Abamenke. Era mu bbanga zigenda zikola ekisawo
eky’ettundubaali nga bwe zibiika. Kiba kinene ddala naye empewo n’ezikuŋŋunsa ekitundutundu. Ekitundubaali bwe kituuka nga kikulugguse ebbanga kyeyabuluzaamu olwo en- zige oba enseenene ziri eziba zivudde mu byagi ne zitandika okubuuka nga bwe zinoonya obunnyogovu n’ettaala ezaaka ekyeruyeru oba bbululu.
Bwe zimala okutuuka ku ttaka ziddamu oluusi ne zibiika amagi ku ttaka n’emu mazzi okuvaamu ebirala. Naye bwe zigwa mu malungu ziddamu okwekumaakuma ne zibuu- ka okugenda awali embeera ennungi. Obwo obugwa ku nnyanja bwegatta okukola ekigabo ng’ennyumba y’enjuki. Olwo ne zivunda ku ngulu ate mu munda ne zikyuka oku- kola ebivunyu ebiyitbwa binnamatimbo. Binnamatimbo bwe byevisaamu bikola ebirala nga mukene oba enkejje. Era bw’otunuulira mukene oba enkejje tewali njawulo na nseenene oba enzige. Ate era enkejje zijja, oluvannyu- ma lw’omwezi ng’enseenene oba enzige zimaze okugwa.
Bw’okebera ebirungo by’enseenene oba enzige osanga bya njawulo, sso si nga eby’ebiwuka ebirala, ebya kuno!
OKUWUMBAWUMBA OBWALUBOWA
Kale nno Obwalubowa buwanvu naye bwe kiba nti enseenene oba enzige si za kuno, ate nga ne Lubowa em- pewo nayo ng’efaanana Abamenke, ate nga tewali annyon- nyola bya bamenke, kirabika nti waaliwo olujegere waka- ti; w’abantu, Katonda n’Abamenke kubanga kyewuunyisa Obwalubowa bwe tumanyi emyaka n’ebisiibo okuba nti omukiise ate afaanana Abamenke, ate enseenene n’enzige zifaanana Abamenke ate nga tewali annyonnyola gye biva. N’olwekyo Lubowa Empewo, yabeeranga mukiise wa Katon- da, ate ng’akola emirimu gya Katonda, ate nga mumenke, kirabika n’Abamenke b’ebisowaani, n’abo abamenke abali mu bw’ennyama, nabo bintu bya Katonda, era Abamenke ab’omu bbanga, ab’oku lukalu n’ab’omumazzi batya Katon- da!
OBWABAMWEYANA
(RULER OF VISION ANGEL & CONNECTION RECEIVER)
Malayika owookwolesebwa era omukwanaganya
Obwabamweyana ky’ekitongole eky’empewo ekivunaany- izibwa ku kubonereza abajeemu n’abo be gusinze nga ki- yita mu kusuula eddalu ng’omwo mwe muli abantu, ebi- solo n’ebiramu. Bamweyana akolera wansi wa Kinene era ky’ekyo lwaki akolagana n’omusota ng’ako ke kabonero mu Bwakinene, naye nga akabonero ke ke ka nnamunkanga (dragon fly).
Okusinziira ku kitongole eky’obwakatonda ekikuvunaa- na oba empaabi eyo ewereeddwayo, oyinza okwesanga ng’osuuliddwa ewa Bamweyaana akukoleko olw’okusobya n’obujeemu. Engereka n’emitendera kukwe era y’asalawo ekika oba ebika by’eddalu n’ebipimo, olwo n’ofuuka ekyoku- labirako eri abalala obutaddira.
Ebibeerawo kale ng’obubenje, okulogebwa, okulwala n’ebirala, ebyo bikusindiikiriza busindiikirizi ofune ekyo Bamweyana ky’akutegekedde. Kale ng’okusidiikiriza, ng’oyo awaaba ayise mu ddogo, olwo oyo awaabidwa n’agwa ed- dalu, esindikirize ery’eddogo. Omuntu oyo n’agwa ku bizibu ebitategeerekeka, abalabi n’abaleka nga bawuniikiridde ate nga naye bwe yeebuuza lwaki akola ebintu ebyo? Eddalu mu Bwabamweyaana liri mu bika bingi, eby’enjawalo, ebi- manyiddwa n’ebitamanyiddwa naye nga ebimu ku byo bye bino:
Akabonge – Okwebonga ng’okukuba summer kiyite okwe- fuula, okweziringula oba okwetooloola. Omusango kujooga bakaddebo oba be wanditutte nga abakuzaala oba abaku- lu abakuliko obuyinza mu biti eby’enjawulo. Omuntu oyo aba talaba na waabwe era kwe kwetoololera mu kifo ekyo ng’obumu ku bubonero bw’omuntu eyabula.
Akazoole – Zzooba mwezi oba buli mwezi yeezooba. Olwo nga buli mwezi bwe gubeera guggwaako omuntu bwatyo ng’atabuka olw’okuba ekyo kye bamutambulizaamu. Bwe
guggwaako ng’atereera. Omusango kunyaga nga kye yan- yaga kitambulira mu mwezi kale nga ssente z’ekibiina.
Amawemuukirano – Olwo Bamweyana aba yasindise Ka- seegu, era ng’omuntu ayinza okukwata omwana, ayinza okwebaka n’ensolo n’ebirala olwo n’afuuka ekivve eri aban- tu be n’ensi.
Ekankada – Omuntu afuna obubonero obwa Musisi, eddalu lyennyini. Atabangula enkiiko za banne n’ebyo ebirimu en- sisikano ng’obufumbo oba okwonoona obutonde oba oku- sobya ku zadde, ekivaamu n’akankana ne bagamba nti ya- soba n’agwa eddalu ekankanda. Ayomba, azira, yerwanyisa ne yeekolako olutalo yekka ekivaamu kwetta!
Akajabangu – Ebitamiiza, ebiragalalagala n’ebirala ebivaa- mu okujabanguka. Omusango kwefuula mutuukirivu ate ng’oyina ebivve by’okola
Endalu ly’empewo oba Lubaale – Omusango kugayaala ku- kola lubaale by’agamba oba ebirooto by’oloota ate ng’obwo Bwakatonda.
Obutabufu – Ebizibu omuntu oyo by’alina oba kiyite stress. Omusango kweraliikirira bitakukwatako ng’osuubira nti ggwe osaanira okumalawo ebizibu ebyo.
Katwewungu – Katwewungu avaamu kantoolooze. Omu-
sango kulemesa banno okubeera obulungi y’agwa eddalu erya katwewungu.
Mpulirakamenya – Akabonero lugambo. Omusango kuyin- girira bitakukwatako.
Mpulirazibi – Akabonero kusirika. Omusango guva ku kuba nti yegaana obujulizi oba amazima ge yayina okw’ogera n’asirika busirisi ne kikosa omulala ng’ate teyalina musan- go.
Obuluvu – Akabonero amaddu amangi. Omusango ku- lyazamaanya mu by’okulya kale ng’okuvaabiira emmere ey’omukolo ne kikosa abaliwo oba abakwatibwako. Ekikoli- mo ne kifuuka omuze. Bwe kikubuuka wakiri kidda ku zadde lyo nga mwe muli abamu ku bazzukulu oba bonna era tebalubuuka! Ekivaamu ddalu ly’obuluvu!
Abaggulu – Basitakange. Omusango mululu. Ekikolimo, olw’okusobya n’afa nga ne by’alina tebimugasizza mu bula- mu bw’ensi olw’okutya okuvibwako yadde akantu akatono. Emmere wakiri emuvundako naye nga tagiridde. Katonda aba asazeewo abeere ekyewuunyo, eky’okulabirako eri ensi, abantu obutabeeranga baggulu!
Abajama – Akabonero bucaafu. Obuteefaako kuva kukola bikyamu ku bantu b’omunju yo, n’osirika, n’ojamawala nga gwe tomanyi. Ekivaamu abo b’oli nabo kwekolamu mulimu
okukuyonja kale ng’okunaaza mu lujudde oba okuwanda olulusu nti oyo tasemberekeka. Kivve!
Obufuta – Akabonero bukodo. Omusango guva gwa mu maddu n’okweddiza ebitali bibyo. Katonda bw’alaba atyo nga naye akwoleka mu ngeri eyo, nti naawe weekodowa- lira era ng’olaba nti tosaanide, na buli omu akunyeenyeza mutwe. Eryo ly’ekkomera ery’okunsi ery’obwavu nga buli ky’olina tosobola kukiggyamu mugaso olw’okwedizza.
Bakasiku – Akabonero bayombiyombi ate nga batabutabu- la. Kiva ku beera nga tebaagemwa nga balina okuboolana. Kale ng’okugobwa mu kika oba okubazaalukuka.
Ababoolanye – Bayomba. Omusango buko bubeera busobe era kiva ku songa z’abalongo okusobya obutonzi n’obuzaale. Kale ng’okuzimba essabo ku kiggwa n’oyonona ekitiibwa kye kiggwa oba ekifo ekitukuvu era nga watabula ebintu. Katonda bw’alaba atyo, nga akuwaayo, okolebweko.
Nakabugo – Akabonero ntondo. Yeettika n’abulawo nga bw’alowooza ebitaliwo. Omusango kwonoona obutaka oba nsibuko kale ng’okutunda ebiggya oba ebirala ebigwa mu kkowe eryo ng’okulya mu nsiyo olukwe, eggwanga lyo oba ekirala olukwe.
Eryakajegu– Akabonero abeera ajeguka nga ava mu abantu
abalala mu nneeyisa. Kale ng’olumu yeeyisa ng’omusawo, olulala musomesa, oluusi muvuzi wa nyonyi n’ebirala bityo. Omusango abeera yayogera ebintu bya banne olwo nafuna ekikolimo.
Okwetoola – Abba n’ebitasaanye kale ng’abo abaggaga en- nyo okubbirira ebintu ebitono ennyo ng’emmere, akamasu k’emesse ate nga tabulinaako mugaso. Ekyo ekikolimo ki- beerawo kuwemula abo abeegulumiza!
Kipaku – Akabonero, apakukana. Aba yasigula baka banne oba yayonoona amannya ga bannaabwe. Apakuka n’ensonga okukola olugambo era tabeera na mmizi.
Ezidduukirizi – Liva ku ttemu eryakolebwa emabega. Ekita- mbo ne kimutambulirako okukola ebivve ng’okulya abantu, okuteega abantu mu mpompogoma, okutemula ng’oli omu- tume gwe yasanga mu mpompogoma. Olwo ebitambo eby- amuliko ne bisaba obutattibwa naye waakiri bisindikibwe mu mbizzi.
Ettembuzi – Ettembuzi liva ku bitambo ebimukwata n’agwa eddalu n’asera oluusi n’alya n’abantu. Bigenda okumuvaa- ko ng’awemuse era nga tamanyi byabaddewo olw’ebyo ebya- badde bimutembye. Buli we bimutemba ng’akolayo ekirala. Omuntu bw’amanya ekika ky’eddalu lye wagwa ayinza oku- manya omusango gwe wazza n’eddagala oba enkola eyinza okukuyamba okuwona eddalu. Abaduggavu bakugu nnyo
mu kwawula ebintu bino;
- Ekika ky’eddalu
- Omusango ogukuvunaanibwa
- Empewo oba amaanyi agakuliko
- Engeri gye weeyisa na ki ekinaddirira
- Ekibulako okutereera n’ebirala
Ekyo kye kiyambye abajjanjaba enzijanjaba ey’ekiddugavu okubeera abakugu ennyo mu kujjanjaba abagwi b’eddalu kubanga kiteeberezebwa abantu 65 oba 70 ku kiku- mi balina eddalu erigwa mu biti ebyo bye tumenye. Ensi bw’eteesitukiremu n’amawanga tuyinza okumaliriza nga wasigadde abantu bataano ku kikumi abatali balalu.
Tunuulira ku mikolo abantu engeri gye bazinamu, olabamu abalalu nga amazina nga ga ddalu. Tunuulira abantu gye balwaniramu ebyokulya n’engeri gye balyamu, olabamu ab- alalu.
Tunuulira ab’eby’okwerinda engeri gye battamu obulamu bwe biramu n’okwonoona ebibaddewo olabamu abalalu. Tunuulira abajjanjabi engeri gye beeganyaamu abalwadde n’obutafaayo kutaasa bulamu olabamu abalalu.
Tunuulira abazannyi b’emizannyo engeri gye bazannya, bye boogera, bye beeyisa olabamu abalalu. Omusambi w’omupira gwe beesize n’asasulwa ensimbi obuwanana,
abantu ne bayingira mu mizanyo ng’era beesiga ttiimu yaabwe okuwangula, era ne bagiwa n’obuwagizi naye mu bazannyi oyinza okulabamu abalalu.
Ekyokulabirako wano mu nsi yaffe Uganda wabeerawo omu- zannyi atalabikangako kasooka Uganda ebeerawo. Uganda okusamba akapiira nga mu luzannya lumu asobola okutee- ba ggoolo musanvu, mukaaga, ttaano, nnya ng’era asobola okusamba omupiira mu bukodyo obw’enjawulo obutali bwa bulijjo. Naye ensi yaffe yayitangamu n’egenda mu mpaka eza waggulu ku lulwe. Kale ng’alina erinnya naye nga tat- walibwa ng’ekikulu, era n’abaabeeranga naye nga tebam- anyanga nti mulalu. Kale nno ekyo kye kyavaako obuzibu obwadirira!
Baakola empaka naye ng’abagamba nti eyo ttiimu ejja ku fayinolo tugenda giswaza kubanga ŋŋenda kigikuba ggoolo ttaano mwe mukubeyo ggoolo emu tuyitemu. Abaaliwo olw’okuba baali tebamanyi muntu gwe boogera naye ki kya- li bamuwakanya. N’ababuuza mu mpakanya nga siteebye musobola okukuba ttiimu eyo? Banne ne bamuddamu nti ne bwoba toteebye tusobola okubeekubira. Nabagamba nti ŋŋenda kusaala ekisaawe kyonna n’omukwasi wa ggoolo musale ngulekewo nga siguteebye mbayite mujje mwe abeepanka muguteebe. Oba batugoba batugobe. Mulekere awo okunyommerera bannammwe ababaako bye bakoze.
Nagamba nti bulijjo nteeba goolo nnya oba taano ŋŋenda
kutuuka ku goolo nga siteeba muggweemu olugezigezi. Baamukuba olwogoolo ne bamugamba nti kikole oba totee- ba olekeyo ffe tujja kweteebera. Tebaamanya nti bagamba mulalu, ye, n’asirika. Tebyalwa olunaku ne lutuuka abantu ne bayingira ekisaawe ne bali abagenyi ne bayingira.
Omupira ne gutandika, era n’asala abantu bonna, n’atuuka mu maaso g’omukwasi w’omupiira n’atandika okukola obu- jogoli, nga bwe badduka jjangu onkwekule nga bwa gu- mubuusa naye nga tateeba, abantu ne batandika okwewu- unya ekigenda mu maaso. Omulundi ogwaddako yeefuula agenda okuteeba n’atateeba n’alaba omukwasi wabbali we yali agudde n’amusindikira akapiira n’akakwata. Mu kifo ky’okuteeba n’avaawo! Abantu olwo ne batandika okutabu- ka!
Omulundi ogw’okusatu n’asala abantu n’omukwasi wa ggoolo n’atuuka ku layini ya goolo n’akaleka okwo kwen- nyini nga kizibu okugamba nti enywedde oba tenywedde. Omupiira n’agulekawo, n’avaawo awoggana nga bw’ayita bali nti guuguno mujje muguteebe, mwepankapanka tuli mu second half mwa kateeba mmeka? Nze okutuuka ku saawa zino mba nnabateebedde dda ggoolo ttaano oba mukaaga. Temuddangamu ‘okuzalawa’ rank. Awo Uganda n’eremwa okuyitamu olw’amaliri. Abantu ne becwacwana ne bamugo- ba, nadduka, n’abuuka ekikomera ky’ekisaawe era teyadda. Baddayo okumanya nti yagwa eddalu! Abazanyi abamu bal- indira ddala empaka ez’ensonga ne batomera bannaabwe
ng’endiga kabekasinge okubaluma!
Kitegeeza bulijjo baabeeranga naye, wadde yakola bulungi naye nga mulalu kuba nakati mulalu ddala. Ensi eri mu kusaba ajjanjabibwe akomewo kuba ebbanga liyise nga tetufunanga musambi ng’oyo n’eggwanga okuyitamu.
N’olwekyo omuntu bw’agwa eddalu oba nga livude ku kabenje, empewo ezaasoba, ebiragalalaga n’ebirala kiba ki- vudde ku misango emikadde egisitula Bamweyana n’ajja n’akuvunaana n’ogwa eddalu n’adobonkanya byonna by’obaddeko. Emisango egyo mwe muli egigyo, egy’ekika, olulyo oba ensi oba ekibi ekisikire.
Bamweyana bw’ayingira ayita mu kutu, ne yeesolossa mu sitoowa ya mwoyo lubaale ewali akayungiro akayitibwa con- nection receiver nga bw’asuula amawulire amatereke mu ssitoowa y’okufumitiriza eyitibwa emunyeenyeso oba sense olwo ng’omuntu ajjukira embeera enkadde omwali kale ng’okutya oba okwekanga era nga ye alaba mu kiseera ekyo nti kye kiriwo olwo n’afubutuka emisinde, n’awoggana, n’akaaba, n’akasuka amayinja, oluusi n’atemula oba okubuuka oluusi yette. Naye nga abaliwo beewuunya era nga balaba ku ebyo by’agamba tewali kiriwo olwo ne bateg- eera nti eryo ddalu.
Mu kuyingira, omuntu ayogera nti amatu gampuuma, nda- ba ekifu, mpulira kantolooze, omutwe gunnumirira, ndoot-
aloota ebintu bye sitegeera, mpulira obusungu, mpulira njagala kulwana. Atandika okwogera yekka, okusirika, oku- tambula nga ayanguyiriza, oba okwewombeeka, okuseker- eza ennyo, okukola ebintu ebitasaanidde. Okuggweebwamu ensonyi n’okwogera eby’obulimba nga ye alaga nti bituufu. Okwelabiralabira. Obubonero obutiisa n’obwewuunyisa nga okufumba emmere n’agiyiwa ng’alaga nti mubaddemu ekin- tu gundi’ banno bwe bakebera ky’agamba nga tekiriimu, ekimusesa nga tebakiraba oba ekimukaabya nga tebakite- geera oba ekimuddusa nga tebakiraba n’ebirala awo nga bamanya nti gundi yagwa eddalu wadde ensi tennamanya. Naye kisaana kimanyike nti waliwo akasuwa oba mu lu- fuutifuuti nerve eyunga ssitoowa ya lubaale n’eya sense olwo omuntu n’afuna amawulire agatali mu budde obwo era n’akola ebikyamu olw’okuba olutambi bye luleeta ye al- abanga bituufu so nga lw’afuna dda obuzibu era amawulire lugaba mafu.
EBITI MU BUFUNZE EBY’EDDALU
Ebiti mu bufunze eby’eddalu omwenda:
Akazoole. Beebo abatambulira mu masumi. Eddalu eryo limukozesa ebintu eby’enjawulo era nga lijja buli mwezi.
Akabonge. Eddalu lijja, omuntu ne yeetabula ng’ekintu akiraba bulala era lireeta obusungu n’okulwana, ssaako okuyomba era oluusi boogera bokka na bokka saako okwe-
waayiriza ne beeyita kye batali.
Ekankanda. Ly’eryo eddalu erya ddala erirabika. Abuuka, adduka, muluvu, alwana, ayomba abeera tategeerera biriwo ne bye wakoze.
Kibonde. Asirika, anyiigaanyiiga, akyawa ebintu ebimu n’abantu abamu. Yeekola ebitaggya nsa ate ne yeegaana. Abeera yekka. Awoza nnyo. Kizibu okumanya nti mulalu kubanga asigala mu beera eza bulijjo.
Ebitamiiza. Lino limufuula omugezi, era ow’amaanyi era bakoppa buli kimu n’okweyita kye batali. Batera okwera- ga n’okusanyuukirira, yadde alabika bubi abeera alowooza nti, y’asinga. Ne beeteekako n’ebintu ebitategerekeka oluusi bayimbayimba, okuzina, okwefuula abasomi, okudukaduka emisinde, ssaako okulwanalwana n’okutta batta.
Ery’empewo. Abeera ayogerayogera n’okubambira abantu n’okubalaga nti ye muggaga, oluusi Kabaka, Pulezidenti, yasoma, n’okulagulalagula, okwo kwossa ebirooto ebitat- adde nga tebitegeerekeka.
Ery’eddogo. Agwagwawalira ddala n’afuuka ekitagasa wadde ava mu baggaga afuuka ekizibu ky’ensi n’okubeera awabi ssaako okuguba. Oluusi akaaba, aseka n’okwonona ebintu n’abantu b’asanzeewo okubajolonga. Agobaganyiz- ibwa buli wamu w’alaga ate abeera n’ebisiraani.
Ekibi ekisikire. Kibeera kitambo. Z’empewo embi n’emizimu emibi era bimuleetera okusera, okutambula ekiro, oluusi n’okulya abafu, okukolima, okuloga, obutayagaliza, ob- utayagala baana, n’abantu, banne n’ab’eŋŋanda n’abantu abalala. Amusembeza ng’amufuukira ekizibu.
Enkuzibwa embi n’embeera embi. Ebyo bireeta eddalu eri- yitibwa Omutigi. Omutigi guleeta ekyejo, omuntu n’afuna effutwa, entondo, ejjoogo, obuggya, ettima, okweyagali- za, okwecanga, tasengejja, tayagaliza, teyeefaako, tayiga, awalana, omwejo, abonaabona, boonona, beesuula mu bizi- bu, tebasiima, babeera n’omwoyo omubi atenga tebeeguya. Bw’ogenda okigeraageranya ng’abantu 95 ku kikumi bali- namu ekika ky’eddalu ensi ky’etamanyi. Bataano bokka nga be batuukiridde. Ekyetaagisa gwe mulimu omunene okugezaako okulwanyisa eddalu mu nsi oba si kyo ensi tes- obola kutereera ng’ejjude balalu.
Toyinza kuba mukulembeze nga towuliriza. Toyinza kuba mukulembeze n’okulembera ow’emputtu. Ow’emputtu ta- sobola kuyamba banne kutegeera kituufu. Toyinza kuba mugwagwa n’obeera omutuuze omulungi, era tovaamu zadde ddungi. Ezadde eritali ddungi teriyinza kuwa nsi mirembe. Toyinza kuba mufumbo nga togondera balo. Toy- inza kuba ssemaka nga tolabirira maka go.
Toyinza kuba mwavu lugoojamye n’obaako kye weekolera, bw’otabeerako kye weekolera kiteegeza ogenda kwegomba
bya banno. Ekyo kireeta omwoyo omubi n’okwonoona ban- no kye bakoze. Ow’omwoyo omubi, teyeegatta na banne. Mu buteegatta muvaamu ekibi ekisikire. Ekibi ekisikire ne kireeta empewo ezimuleetera ennyumba ye yonna okubeera n’ebizibu ebitategeerekeka.
Ebizibu okuwona, ate abantu ne beebuuza nti naye abo baa- ba ki? Bwe bamala okwebuuza bababoola olw’okutawaanya ensi. Bwe bamala okubaboola bafuuka omutawaana eri ensi ne muvaamu ezadde eggwi ly’eddalu. Eddalu eryo ne bal- isiiga abantu abalala; be babeera nabo, be bawasa, be ba- fumbiza, be bazaala, babayigiriza, be babulira, be bakulem- bera, be bayamba, be bakolera, ababafuga, n’ebyokwerinda ne bibeera mu katyabaga ensi yonna n’egwa eddalu.
Eddalu eryo nga teriwona, era mwe muvudde ensi yonna oku- bonaabona, okubulwa emirembe, ensi yonna n’esaaanawo, Katonda n’anyiiga, n’akuba, n’abika, n’ayokya, n’alwaza olwo okutabuka okutagambika ne kujja ng’akozesa enkola ye eri ey’okwera.
OBUTEGEEVU BW’EDDALU
Eddalu bwe limala okukula liyingira ekitundu ekirala ekya waggulu; n’alaba ebyaliwo, ebiriwo, n’ebiribaawo era n’alaba emyoyo ng’era asobola okwogeraganya nagyo, ne gimutuma n’ebintu, nabikola.
Bamweyana amwekwata n’amufuula wuwe, era ne kwegga- tako emyoyo emirala, ne bamutwala gye baagala, ne bam- ufuula muweereza mu kitongole kyabwe. Olwo bamuwa emmanyiso eyaabwe bo. N’abeera ng’eyeebase era nga takya- sobola kumanya kye yali, gyali, ne ky’alibeera, ng’eby’ensi n’ebyokubeera obulungi tebikyamukwatako.
Wabula asobola okumanya nti ggwe; ojja kufa enkya, gwe bagenda kukusiba, nti gwe lubaale akunoonya, ggwe, oli mutemu n’ebirala. Eryo eddalu lye bayita ekkanka- da. Limukyusa n’akuza enviiri, n’ayambala ebigoye ebibi, n’afuna w’aggya ensawo, eyo nga temuvaako. Ensawo eyo gye bayita Kaamungalo, era assaamu obuntu obw’ekyama gy’abera nayo buli w’alaga. N’ennyimba weziri ezigamba nti, “Nze ndigenda n’ensawo yange, Kamungolo”, nga, agamba ye ye Bamweyana.
Ebya Katonda bwe tubirowooza si bwe biri. Omuntu asaa- na okweyisa obulungi ku nsi eri bantu banne n’ebitonde ebirala. Okweyisa obubi eri Katonda, Ababakabe, Mwoyo
we, eri abantu n’obutonde kiviirako omuntu okukwasi- bwa omusango. Omusango ogwo gwe guvaamu ekiboner- ezo eky’okugwa eddalu, n’azzibwa ku ludda olw’olukokobe. Olukokobe ne lumusindika nga bwe lulabye kale ng’owa Bamweyana n’afuuka akabonero akobuweereza obwa Bam- weyana era akabonero ke ak’eddalu, ensi emulabireko atye Katonda n’okweyisa obulungi mu nsi.
Enkola eyo ku Bamweya y’emu eri ne mu bitongole ebi- rala era ng’eyo y’enkola ya Katonda okusunsula abal- ungi n’ababi, okuwa omukisa n’okubonereza, okuyigiriza n’okulabula omuntu asobole okumanya bw’asaana okwey- isa mu nsi. Era Katonda atuma abalonde, okuweereza mu bulungi n’obubi, kyokka ng’obubi bukutwalibwamu eki- tongole kya Kinene ekitabaazi kikutabaale oluvannyuma lw’okubegebwa olukokobe. Olwo ne kikukwasa Bamweyana n’owayana oba okugwa ku bizibu ebirala okusinziira ku nteekateeka z’ebitongole bya Katonda.
Okusobola okuva mu buteegevu obw’eddalu okudda mu buteeguvu obw’obuntu kikwetagisa emmeeme emenyese, okwenenya, obutuukirivu n’omutango.
EBYAKISIBWA KATONDA
Omwoyo gw’Obwamusoke oba okutegeera. Omwoyo ogwo guyita mu kawompo okufuluma n’okuyingira. Okuwa omuntu amagezi n’okufa ly’ekkubo.
Omwoyo gw’okukenga n’okwolesebwa Obwakiwanuka, entunnunsi gufulumira mu nkoona era y’empuliziganya n’ebiseera, obudde n’okufumiitiriza era ly’etterekero ly’ebirowoozo.
Obwamukasa oba obulamu. Omwoyo ogwo guyita mu kam- wa era byegatta, Musoke, Mukasa, Kiwanuka ddoboozi ne bitonda ebigambo, bwe bujjuvu bw’omuntu okusobola ensi eno.
Omwoyo gwa Mukasa n’omuntu w’omunda ne lubaale mwoyo bwe bijja bituula mu mutima era we wali entun- nunsi oba yingini etambuza obulamu n’ebirala.
Omukka omubi, obwakinene, defence oba obusungu bufu- lumira mabega w’omuntu.
Amasannyalaze oba amaanyi g’ensi, amaloboozi n’embuyaga oba enkwaso (Magnet) biyitira mu matu.
Omuntu bw’afa buli kitundu kifulumya omwoyo gwakyo ne byagattira waggulu olwo ne byewawula emirundi esatu,
ogumu ne gusigala waggulu mu ggulu, omulala ne gusigala mu bbanga okutambuza amawulire nga bwe gugatta wag- gulu ne wansi omulala ne gusigala ku nsi.
Lubaale n’omuntu w’omunda bagenda mu ggulu.
Obwamusoke okutegeera n’Obwakiwanuka, ebuggumu bisigala wakati mu bbanga okuyunga empuliziganya wakati w’ensi n’eggulu.
Obwamukasa n’Obwakinene busigala ku nsi ng’omuzimu nga bikuuma ebintu by’omugenzi n’omubiri gw’omugenzi nga bwe birinda omufuulo bali bwe balidda omuntu adde- mu azaalibwe nate.
Bwe bidda ng’omubiri gukyaliwo kwe kuzuukira.
Bwe bidda nga gwavunda biyingira mu muntu omulala n’addamu n’azaala omuntu oyo kennyini mu mulembe omulala ky’ova olaba bagamba nti omwana afaanana jjajja we, ne yeeyisa nga jjajja, n’abeera nga jjajjawe bwe yali abeera era n’alwanira ebintu bya jjajja ng’agamba bintu byange, abaaliwo ne bagamba nti oyo si muzimu naye ye gundi ddala ddala.
Waliwo oluusi emyoyo bwe gitambulira mu bwanamasasa- na omuntu nga akyaliwo mulamu emyoyo ne gimuvamu ne giyingira mulala ne gikola emirimu nga gikozesa omuntu
omulala ne gikomawo ne giyingira mu mwoyo gwa nnyini gwo. Kye bava bagamba gundi wali bw’oti naye kati wafulu- ka. Ate emyoyo egyo gisobala okukola obwannamasasaana omuntu omu n’avamu abantu kkumi mu nsi ez’enjawulo, nga bakola nga ye, beeyisa nga ye, nga beeyita amannya nga agage kyokka nga ye wali.
Kale ky’ova olaba nga abantu babba emyoyo gy’abalala. Omuntu afuna n’aggwaamu kye kitambuza abantu okud- dayo okwegayirira emyoyo gibaddize obulamu oba obuggaga bwabwe oba bawone okufuluka. Kyokka ensonga kyetaagi- sa okukola bikolobero, ayagala butuukirivu okufuna ekiso- nyiwo.
Obulamu obutereke obw’omu bbanga oba kiyite olutambi nga lwe lufu olukyusa ensi n’embeera z’obudde. Olufu olwo lwe lutambi olutereka amaloboozi n’ebifaananyi ebikolebwa mu nsi yonna emyaka n’emyaka omutonzi n’akyusa azzee- wo ekyo ky’ayagala mu kifo ekyo oba ekyaliwo aggyawo, lu- tambi n’ayozaamu ky’ayagadde okussaawo. Obwamusoke, Obwamukasa n’Obwakiwanuka bwe bukuyunga ku lufu.
Katonda bw’alaba nga otagadde nnyo nga olina ky’oyiiya nga kyetaagisa omwoyo ogwo akuyamba nga totegedde n’agukuteeramu ne kifuuka ekiramu so si lwa kumanya kwo, omulala n’akikola nga Katonda tamusiimye ne kire- ma. Byonna biggya lwa kusaasira kwa Katonda. N’ensonga endala bwe zityo, bye tumanyi ne bye tutamanyi, tweka-
nga bibaddewo lwa nsonga Katonda yeesigaliza obuyinza bw’okumanya n’okutegeera.
OMUBAKA W’EKITONGOLE KY’OMUNTU W’OMUNDA
ENKWATAGANA Y’OMUBIRI GW’OMUNTU N’EMYOYO
Enkwatagana y’ebitundu by’omubiri n’emyoyo okusobola okutuukiriza emirimu gya Katonda y’eno;
- Musoke – Omwoyo gwa Musoke gukola ku kumanya n’okutegeera era nga gukozesa eriiso ng’entangaazo. Omuk-
ka ogufulumira mu kamwa ogwa Carbondioxide gwe gulaga oyo omuntu waali. Kati oguyingira ogwa oxygen ne gujja n’amaanyi ga Musoke okuyingira mu bwongo. Olwo oku- manya n’okutegeera ne kufulumira mu mmunyeenye nga ettangaazo (torch).
- Mukasa – Omwoyo gwa Mukasa guyingirira mu nnyindo era ky’ekyo lwaki bagiyita ennyindiso nga gukozesa omukka omulungi ogwa oxygen era ne gufulumira mu kamwa, era ne mu kufa kye kiri kye bayita omukka ogusembayo oba last breath. Bwe guyingira gugenda mu mutima ng’etterekero okusobola okubunyisa obulamu mu muntu yenna kuba ob- wamukasa lwe lufu olw’omukka n’amazzi okusobola okubu- na wonna mu biramu.
- Kiwanuka Ddoboozi – Obwakiwanuka ddoboozi, biragiro kiyite order kale nga laddu. Amaanyi agavuga gayingirira mu kamwa era n’okufuluma. Amaanyi ago masannyalaze agayingira obutofaali okubusobozesa okukola emirimu egy’etaagisa.
- Lubaale – Ogwa Lubaale ge maanyi ag’olubeerera. Ga- beera mu kkoona awali entambi ez’ebiriwo n’ebyaliwo. Mu kkoona omwoyo gwa Lubaale we gubeera nga gukwata buli kimu omuntu ky’akola ku nsi era okugenda mu ggulu nga buli kimu kimanyiddwa. Gwe mwoyo gw’Obwakatonda ogu- kuuma ebyama byonna. Okujjukira kwawukana mu bantu kinoomu naye nga buli muntu agezaako okujjukira atera
okuwunzika omutwe awali enkoona amanye nga bwe byali. N’empewo bwe zirinnya ku mutwe oba nga zivaako naddala ku bakongozzi beekoonakoona ku bintu ebiba bibaliraanye. Awo we twetaagira okumanya obuyungiro bw’empewo ne Lubaale.
- Ogwakinene – Gwe gw’olukokobe era nga aliwo nga ka- labalaba wa Katonda nga bw’akemekkereza olwo akusuule mu ntanta olw’okuvvoola erinnya ly’Omutonzi. Guyingiri- ra mu kamwa naye mu kufuluma naddala mu kufa guyita manju mu kabina.
ENGERI LUBAALE GY’AFUGA BAJJAJJA
Bajjajja bonna oba empewo bakozesebwa omwoyo guli ogwa Lubaale ate nga yayingira mu nnyama, omuntu n’abeerawo. Ate era Lubaale n’awa omuzimu obusobozi ng’amasannyalaze gaagwo olwo n’abeera nga ye nnannyini biragiro anti ye mwoyo gw’oyo atonda. Lubaale alina ekitun- du ekirala ekikwata buli kimu ekibeerawo oba ekikolebwa mu nsi wonna ne mu bintu munda. Ekyo kiyite “Entambi za Mukama” oba etterekero ly’ebyama era ly’eryo bajjajja lye beeyambisa okumanya ekyo kye beetaaga nga bajjan- jaba oba okukola emirimu gyabwe, okusobola okuggyawo n’okussaawo ekyo kye basiimye oba okutereza embeera embi eyetaagisa okugolola.
LUBAALE MWOYO
LUBAALE BWE BULAMU BW’EBIRAMU
- Ebiramu Katonda yabitonda nga birina ekigero; ebbugumu
eggere, obunnyogovu obugere – Temperature Regulator.
- Omukka ogussibwa, obudde era omuntu atambulira mu bafu, ebifudde n’ebivunze ebitaleeta bulamu kale awo Ka- tonda n’assaawo empewo n’omukka ebisaana omuntu n’ebiramu ebirala – Gas
- Omukka n’amazzi byozebwa amayinja, ettaka, omuddo n’ebimera ebirala ng’emiti ate omuntu n’afuna empewo en- namu. Ebire ne bikola omulimu gw’okutambuza n’okwoza
obulamu ne busaanira era waliwo nitrogen, waliwo lay- ifu, waliwo weather, waaliwo jjinizi (genes), waliwo winds n’ebirala. Obulamu bwegatta ne bivamu obulamu. Ebirungo ng’ettaka, emmere, enva, amazzi, empewo, omukka gwen- nyini ogwateekebwa mu biramu nga gwe guyitibwa okuko- lagana n’omubiri n’ensi n’egusika guli oguva mu mubiri ne wabeerawo obulamu.
- Lwaki entambi ziri mu mwezi? Mikkiro gy’ebiseera n’ebiro, okupima n’okugeraageraganya. Gy’emikkiro okuyunga wansi ne waggulu.
- Entambi tezirina weziri walala ku nsi? Nedda, mbuyaga, kibunoomu. Ntambi butonzi. Era entambi ziri buli awali eri- iso, oba mu nnyanja oba ku nsi.
EKIKUUMA OBUTUUKIRIVU N’AMAANYI G’OMUZIMU
Anti omuzimu guweebwa obulamu Lubaale. Era Lubaale y’ayunga ku mikutu emirala, omuzimu ne gussaamu eb- yagwo. Olwo Kiwanuka, Musoke ne Mukasa beegatta ku Kinene, ye Lubaale, n’assaawo enkolagana wakati, olwo omuzimu ne gubeera ensonga yonna nga gw’esobola. Gu- sobola n’okulabika ne gubula ssaako okukola ebyamagero n’okuloosa.
Bw’otegeera Obwakatonda n’omanya emitendera
gy’endabirira y’omwoyo mu kwewonga, owonya emmeeme okufa. Abaliko obuyinza oba amaanyi g’Obwakatonda baga- birako empewo ne zeggya mu nvuba ng’ezo, kubanga tew- abeera muntu singa emmeeme ye efa oba omuzimu gwe guggwaamu amaanyi ate nga kye kitundu kye, eky’etissi ky’emyoyo gy’omuntu.
OKUSAMIRA
Emirundi mingi owulira abantu nga bagamba nti Lubaale wange yasoba ate abalala nti, “Lubaale yatuluma era ky’ekyo lwaki ebintu bigaanye”. Ensonga okutegeerekeka obulungi eyawudwamu ebitundu bisatu naye nga buli kimu kiyunga ku kinnaakyo;
- Lubaale – Mwoyo gw’Obwakatonda oba kiyite amasan- nyalaze ge. Omwoyo guno gulina n’ekitundu eky’entambi okujjukiza ebiriwo n’ebyaliwo. Bwe gujja ku muntu gu- wummulira mu nkoona n’awo awali etterekero ly’ebiriwo n’ebyaliwo. Omwoyo guno guli mu buli kiramu nga ly’etteeka ly’okulamusa oba okufiisa okusinziira ku biragiro bya Ka- tonda. Kye kyama ky’obuyinza bwa Katonda ku buli kira- mu. Omuntu bw’afa gwe guwa abalamuzi b’omu ggulu ebintu byonna bye wakola ku nsi. N’olw’ekyo omwoyo guno ly’ekuŋŋaaniro ly’ebyama byonna ebya buli wamu era kye kiyitibwa, “Entambi za Mukama”.
- Omuzimu – Amasannyalaze ga Mwoyo Lubaale ge gayun-
ga ekitundu ky’omuzimu ekimanyiddwa ng’ekyetissi ku bi- tundu ebirala byonna okusobozesa omuntu oba ebiramu okubeera ebijjuvu.
- Empewo (Bajjaja) – Empewo oba bajjaja be bakima eby- ama ewa Mwoyo Lubaale okusobola okudduukirira abazuk- kulu.
Ennyunga y’Omuzimu ku Empewo n’Omwoyo gwa Katonda (Lubaale)
Ensonga lwaki abantu basamira, ate era nga beeyambisa abo abalina obuyinza kale nga Abakongozzi oba abalala ab- aliko omwoyo, kabeera kabonero oba mukolo gwa kwegay- irira, kusaba bisonyiwo n’okutereeza ebyo ebitatuukiridde nga mu ebyo mwe muli n’okutereeza empewo zisobole oku-
funa n’okumanya ebyama oba ebikusike ng’okwo kw’otadde okwolesebwa, okukenga, okuloota n’ebirala.
Oluusi kiyinza okuba ng’omuzimu gw’oyo asaba nga gwataataaganyizibwa era ng’ensonga yeetaaga kutereeze- bwa abo abaliko mwoyo omutuufu. Awo nga bwe gutereeze- bwa, Mwoyo Lubaale asobola okutuula ku mwoyo-muzimu obulungi n’okuguyunga ku bitongole ebirala.
Era y’ensonga ebadde eteganya ensi okwawula emirimu gya Kinene n’Olukokobe n’abo abagezaako okwetereeza, ate nga bangi ddala. Mu bufirika mwe bali, mu Buyindi mwe bali, mu China mwe bali, e Japan, mu beeru ne walala. Era abantu abagwa mu ttuluba lino ntoko ddala.
Ekireese omutawaana y’etamputa, ebyenfuna, obulimba, okuvvoola n’olujereegerezo nga kw’otadde n’okutemula abantu abo, naye nga nabo bantu ba Katonda, olwo ne byonoona ensonga.
Obwakinene n’olukokobe y’endowooza eyasooka mu Bwaka- tonda ng’omuweereza Omukulu, Olukokobe, ogugwe gwa kukemekkereza na kubonereza boonoonyi.
Olukokobe lwo lusigaddewo nga luweereza era nga luwu- lize eri Omutonzi. Ebiseera nga bwe bizze, Omutonzi olwo ng’afunye ku busaasizi atuweereza ba Nabbi be ffe betuyita ba Nabintu oba Abatume okutujjukizanga, era bano bye
biggwa mu ndowooza ey’okubiri.
Mu kutonda ensi, Katonda Omugulumivu, Mukama waffe yakola enteekateeka ye nnansangwa nga mwe muli emyoyo (emisambwa (malayika), emisange, emisangwa, amayembe, amajjini, binnabantu n’ebirala) ng’okwo kw’otadde ennyun- ga ey’ebifo ebituukirivu oba eby’esonga, abantu b’omwoyo, bye tumanyi ne bye tutamanyi naye ng’abantu bagobe era obuwange obuvaamu obuwangwa era nga bo mwe bateg- eerera Katonda ate nga nabo abakozesa okukuuma ebibye ng’awali ebitebe bye era nga ebyo bitundu bye abyefugira bu- tereevu n’alonderawo obukulembeze obusaanide n’abagabe. Eyo y’endowooza y’okusatu.
Olukokobe lwo lusigala lukola omulimu gw’alwo era abakyamu mu ndowooza ey’okubiri n’eyokusatu luba- sensera, ne lubaffeffetta okubasuula mu ntata n’erubaanika n’okubasuula mu bizibu ebitagambika kabekasinge okubat- ta olw’okuvvoola Katonda n’okumenya endagaano. Endo- wooza y’okusatu, yo yeetagira ddala obwegendereza kuba yo nteekateeka ye era tasaasira baasobya, kale nga abo abeey- ita kye batali olw’okuba bakkirako amaanyi ag’enjawulo era abo abaabya bwabya olw’okuba ebivve gy’ali. Amaanyi tekibafuula mw’oyo. Newakubadde kityo, waaliwo ababe ddala.
Kale mu bantu ba Katonda, twawule abalungi n’ababi kuba buli wamu we bali era be bonoona n’okuvvoola obugulumi-
vu bwa Katonda. Naye Katonda ayagala tumugulumizenga ebbanga lyonna, ekiseera kyonna n’amaanyi gaffe gonna, okwo nga kw’otadde okwagala bannaffe nga bwe tweyagala. Ago ge mateeka ge amakulu. Mukama Katonda agulumiz- ibwenga.
BITI BY’EMPEWO EBITATEGEEREKEKA N’OBUWANGE BWABYO
OBUJJAJA
Obujjajja mu bwannasangwa y’endagiriro;
- Obukuumi mu by’okwerinda
- Okuggyawo ebikyamu, n’abakyamu
- Okutuukiriza entumwa za Walumbe
- Okusangulawo ebikadde
- Waddewo ebipya
- Okuleetawo enkola endala
Obujjajja gwe mukisa oguweebwa oyo oba abo abataddeyo okwegayilira kwabwe okufuna oba okuggyawo. Ayinza oku- beera omuntu kinnoomu, enju, olunyiriri, ekika, eggwanga oba ensi. Omwoyo oguweebwa abo bwe bugabe nga mwoyo maanyi ava ku bimu ku bitongole bya Katonda, Mwoyo Kitiibwa oba Mwoyo omukiise; ng’omuzimu omutukuvu, binnabantu (enzula), muntu-mpewo, amaanyi amayambi ng’ejjembe, omukuumi kinaanku, ejjiini, omusangwa, omu- sange (mmandwa), omusambwa (malayika) n’ebirala.
ABABAKA
Emiko gy’empuubo oba amaanyi ag’obuwuttufu kiyite em- pewo ez’obusungu ate nga za butwa, zikka ku nsi ne zireeta enkyukyuka ku nsi ne mu bitonde, omuli n’okugwagwawaza abantu ate ne zitta ettaka n’amazzi. Tezitegeerekeka. Abo ‘baduuyi’ nga bw’osanga obutiko mu kibira n’obukuula n’obufumba, n’obuwa abaana, ne bubatta. N’owa alipoota nti, ekibasse, nsanze obutikko mu kibira. Bo abasirikale, balumba wonoonese. Ente ne zifa omulundi gumu. Olwo mulowooza lumbe ki, ng’ate masannyalaze? Mu Africa ne mulindirira ssizoni y’enseenene, newajja enzige mu bungi, n’ebisaanyi mu bungi, n’ebiwojjolo mu bungi, ate enseenene ne zitajja. Biri ebirala ne birya ebintu byonna okubimalawo. Kyokka, alya ku biwuka ebyo, afa! Kati ekyo ki?
EMISANGE
Okutwaliza awamu mu bitonde byonna n’obutonde, em- pewo, abantu, ebisolo, ebinyonyi, ebyewalula, ebiwuka, ebimera mwonna mulimu binnabeefuula ebitategeerekeka eby’okulubereberye kyokka nga birina obuyinza ku bitonde byonna, nga kwossa n’omwana w’omuntu. Bino bya mpewo naye nga binene okamala.
EMISAMBWA
Emisambwa girina ebika bisatu:
- Waliwo emisambwa egiva waggulu okuleeta obubaka n’okubuzzaayo nga gikola emirimu gy’okutambuza amawu- lire g’omutonzi, nga gikolera wamu n’emwoyo okuleeta obubaka ku nsi.
- Ne wabaawo emisambwa egy’ensi egikuuma obutaka, en- salo z’amawanga, ebiggwa n’ebifo ebitukuvu eby’emirongooti, n’ebifo eby’enkizo mu ngeri yaabyo. Era gilabika ne gibula.
- Waliwo emisambwa egiri mu myoyo gy’abantu, mu bika, mu ndyo, mu mawanga ag’enjawulo, era gizaalibwa ku bantu abatume oba abalonde ab’enjawulo ng’abo bakola- gana n’ebitongole biri ebirala era ne kyogerwa nti oyo aliko omusambwa gwa gundi. Alabirwa ku by’akola, ne by’ayogera n’ebintu eby’ejawulo ebitali bya bulijjo nga bya nkizo ate nga si byabulijjo.
EMMANDWA
Endyo zirina ensibuko. Ensibuko yaazo eriko obujjaja. Obujjaja obwo ye mmanduso. Emmanduso ye mmandwa nga ye jjaja malayika enkulu ezivaamu endyo za bam- untumpewo. Bamuntumpewo ne bazaalibwa mu mibiri gy’abantu ng’emyoyo emitume mu bo. Mmandwa n’asigala ng’omulamuzi era omuwabuzi w’abantu, jjaja w’abaana oba omuteesiteesi wa Katonda ku nsi eri bazzukulu be batuuki- rize enteekateeka za Katonda nga bwazaagala. Mmandwa gwe musange mu bantu.Nga jjajja bw’awa abazzukulu be amannya, era bw’atyo nga bw’asumikira omusika n’emmandwa bw’atyo mu bujjajja bwatikkira abazzukulu ne Bassenkulu ne Bakabona.
AMAYEMBE
Amayembe masirikale, batumwa era ne bakolerawo nga balagirwa ebitongole byonna. Amakole obukozi ge bayita kifaalu. Ago ga buntu si ga bujjaja, galinga eddogo eddala lyonna. Bafuna emizimu emikambwe n’emizimu egy’ensolo nga byonna bitemu ne bakolamu ago ge basindikira abantu ng’eddogo. Olw’okuba si ga bujjaja gatera okwefuukira ban- nyini go. Ebyo bye bayita ebyonziira oba ebyokoola.
EMIZIMU
Katonda yatonda ekitongole eky’emwoyo, nga kyetengeredde era nga kya mizimu era nga kirina ebiwayi bisatu:
- Ekiwayi eky’emyoyo emitereke omuli n’egyo eggyava mu bw’omubiri, kale ng’okufa oba ekirala ne giddayo mu tter- ekero ly’emyoyo.
- Ekiwayi ky’emizimu mu bw’empewo emiweereza egikola
ogw’obutume ku nsi n’awalala.
- Ekitundu ekirala kye ky’egyo egikola ng’emyoyo mu bi- ramu, ng’ekitundu ekyetissi, ekirabirizi ky’omubiri. Omun- tu ayinza okuba nga yali mubbi, mutemu nga mukyamu ddala. Omuntu n’abula okumala ebbanga, olwo nadda nga mulala nnyo! Mukakkamu, mwetowaze, mulongoofu ne mu nneeyisa. Ekyo bwe kibaawo, oluusi ababaka baba bakyu- sa omwoyo gwe, ne bamuwa omulala. Ekyo kyennyini, kye kyama ky’obulamu obutereke, obw’ekitongole kya Mukasa
nga kikwataganira wamu n’ekitongole ky’emizimu, era nga kimaze ebbanga kiteganya ensi!
ENZUULA
Mizimu gya bitonde ebyaliko eby’ettutumu bye gyali gikoze ku nsi ne gigenda ate ne gidda. Bwe gidda abantu abaaliwo bagyeyambisa okuzuula, ebyaliwo, ebiriwo, n’ebiribeerawo, okwo ssaako okugyebuuzaako ku ebyo ebibalemeredde. Eky’okulabirako, oyinza okulaba ennyumba gaggadde naye nga terina agisulamu nga bagamba nti mulimu ebisula bi- tambula, nti ya kisiraani, ne bw’ebeerawo eyinza okubale- merera.
BINNABANTU
Binnabantu bye bitonde ebiri mu kifaananyi ky’abantu nga bya ku lubereberye. Kitwale nti Omutonzi bye yasooka okutonda ng’okugezesa, naddamu nate okutonda omuntu ow’omubiri. Birabika ne bibula naye nga bakola ku luuyi lw’olukokobe. Era by’eyita amannya ag’ebifo, eby’ensozi, n’eby’enkizo.
Abantu bakoze amadiini ag’enjawulo nga beeyambisa bin- nabantu. Ne batta emikago nabyo, olwo bayingidde mu bwakabaka bwabyo, era ne bakola ebitasaanye ng’okuliira emmere mu bukabuyonjo, okunywa omusaayi gw’abantu, okwebaka ku bisolo n’ebirala ebigwa mu bikola ebyo.
Ku ludda lw’olukokobe, bikola ng’ebisirikale, era bye big- gyawo abo abagenda e Kaganga, ng’emisango gibagudde mu vvi, kale ng’okusuula ebidduka ku bubenje, okutemuza abantu n’ebirala. Wabula gyo, emikago gy’abyo mikambwe, era kiviiriddeko bangi ebizibu, olw’okwagala okubivaamu!
AMAJJINI
Obutonde n’obubumbe by’ekifo, Katonda y’abussizaamu ebitonde ebisaana mu kifo ekyo, era n’abiwangiramu ne bi- funa obuwangwa okuva mu buwange bwabyo ne bigobere- ra ennono y’obukulembeze bwa Katonda. Sooka omanye obuwange bw’ekitundu, tugambe eddungu, ebibira, oluk- ookola, olutobazi, emigga, amayanja, ebiwonvu, n’ebitundu eby’obutiti. Obwo bwe busalawo obuwangwa bw’ekitundu ekyo. Ekitundu ne kifuuka eggwanga olw’obuwange bwa- kyo, naye so si gano amawanga amapya, amakole.
Amajjini ge gakuuma ensalo z’amawanga ago era kyekyo lwaki buli nsalosalo z’eggwanga ettonde, gabeerawo nnyo kati nga ku lubalama lwa mayanja aga Buyindi oba kiyite Indian ocean. Kati nga ku nsalosalao z’ekyererezi weegali,
ku nsalosalo z’eddungu kwe gali, ku mbalama za mayanja kwe gali, ku ntikko z’ensozi we gali, ku nsalosalo z’ebiwonvu mwe gali. Ekyo kiva ku ki? Mu butonde kitegeeza, ensalosa- lo za Katonda, zo ndala.
LUBAALE
Amaanyi ag’obubuli; obutonzi n’obuzaale agava mu bwaka- tonda agalongoosa ge gayitibwa abolongo so si muntu oba abaana, so si mpewo wabula masannyalaze ag’olubeerera, nga ye Lubaale. Ky’ova owulira nga bagamba nti abalongo bamwokeza. Bw’osobya obutonzi nga bagamba nti yasobe- za abalongo so si balongo abaana b’ozaala wabula amaanyi g’obwakatonda. Abaana kabonero ak’okungulu akalaga ak’omunda akatalabika ne byegatta ne zivvuunula Abagan- da gye basiba mu nsibo ettute ebbanga nga tetegeerekeka ne tusalawo tugisumulule tubalage tuggyewo obutaman- ya, ky’ova olaba ng’amawanga gayunga ku mmunyeenye n’omwezi n’enjuba n’olukalu kye bayita okuwanga mu kifo ky’okugamba okuyunga. Kibadde kiremesa okutegeera obwa Katonda n’empuliziganya.
- Waggulu abalongo bakiikirira obwamwoyo ayitiibwa
lubaale amaanyi ag’oluberera ag’obwakatonda.
- Muwanga akiikirira obujjajja, obutaka ate n’afuuka en- nyungiro z’emirongooti egiyunga ku mwezi n’enjuba, ebika n’ebitundu. Amakula ga Muwanga kutendereza mutonzi nga agamba muwanga (give) nange ndibawa.
- Omuntu w’omunda y’oyo omuntu omutonde atal-
abika abeera mu muntu era nga y’ayunga ku mikutu gy’empuliziganya zonna; ez’olubereberye, obutonzi, obu- tonde, obubumbe, obuzaale.
Ebiwayi bino ebisatu bye bikolagana n’amaanyi ag’obwakatonda gali aga lubaale mu ngeri zonna awamu, kale Katonda bw’aba akwagala ne mu ggwe mw’ali ne mwoli ate ne waggulu aba akulaba.
OBUWANGE BW’EMWOYO MU MABALA G’ABANTU
Olw’ebbanga eddene eribaddewo, okuva ku lubereberye, n’okwetobeka okungi, okubaddewo obuwumbi n’obuwumbi bw’emyaka, osanga ow’ebbala eriduggavu, nga yeeyisa kyeru mu ndya, ennyambala, endowooza n’ensula. Ate n’osanga ow’ebbala eryeru nga yeeyisa ng’omumyufu, era ng’akwatagana nnyo n’ebbala eryo, n’okuwulira mu ye, nti ye w’eyo, nga so mweru ddala mu langi. Amabala tegali mu bwa mubiri bwokka, naye n’emu myoyo egiri mu ffe yadde tegirabika naye nga gifuga ebintu bingi mu ffe; ng’enneeyisa, enzikiriza, mu kulya, mu nkola n’ebirala ebimanyiddwa n’ebitamanyiddwa.
Amabala gaatondebwa mu biti bino eby’abantu; Abaddu- gavu, Abeeru, Abamyufu, Abamenke n’Abachwezi. Ebbala ly’omwoyo gw’omuntu oyo, lye lifuuka obuwange bw’omuntu oyo mu nkola ne neeyisa era n’alabirwa mu bbala eryo ly- ennyini nti oyo, “Mweru, Mumyufu, Muddugavu, Mumenke oba Muchwezi. Obuwange obwo bwe butera okuvaamu en- kola eno wammanga:
- Abaduggavu
Obuwange bw’omuntu mu bbala eriddugavu bwakalira era omuddugavu omwoyo agutegeera bulungi nnyo wabula n’aweebuuka olw’okubutaabutana nga agoberera endowooza ez’amabala amalala n’asigala nga abuliddwa ekituufu. Awo obuzito bw’amaanyi g’obutonzi mu bbala ly’omuddugavu ne
buwewuka n’asigaza obuzito butono, nga buli katundu ku biwayi by’amaanyi alinako kitono ddala, ky’ova olaba nti by’ayagala okutuukiriza tasobola kubituukiriza nga bali. Amabala amalala gabeera n’ebiwayi bitono naye nga bizito mu maanyi ag’obutonzi era ne kibasobozesa okukola bye beetaaga ne bitukirira.
Omuddugavu ye, enteekateekaye eri bweti;
- Obwamusoke mwe muva okumanya n’okutegeera Muka- ma Katonda, era nga kwe kuli n’okwawula ekirungi n’ekibi. Ebitebe wano ku Ssemazinga wa Africa biri mwenda, naye ng’entabiro eri wano mu Buganda, e Nnono mu Busujju. Gwe mukkiro gw’amaanyi g’obutonzi, etangalizo, endabiso oba endabirwamu abaddugavu gye balibadde bettanira kubanga obwo bwe butuukirivu bwabwe bwe banoonya obw’endagaano yaabwe n’omutonzi ku nsi obubatuusa ku mwoyo gwa magezi gwe banoonya buli wamu balyoke ba- fune emirembe, obuwangaazi, amagezi n’okusaasirwa.
- Obwamukasa bwe bulamu obutereke, obuvaamu obulamu, okukola obulamu. Abaduggavu okusaba obulamu, ezadde, amazzi, omukka gwe tussa bayita mu Bwamukasa. Obwa- mukasa era bwe bayitamu okuwona edwadde ezitatadde. Ekitebe ky’Obwamukasa wano mu Buganda kiri Bukasa, e Ssese era nga kiyitibwa Bukasa. Bukasa nsibo, kyama, nsibuko y’obulamu, entende n’emirembe. Bulerwa! Naye ensi si bw’ekitegeera. Obukasa nnyungiro ey’omwoyo ogu- kola obulamu n’obutonde okutambulira awamu; y’esonga
lwaki abaatusooka baawangaalanga nnyo, era nga bamanyi endagaano n’enteekateeka za Katonda. Ekyettaniza omud- dugavu ku bwamukasa gwe mwoyo ogubayunga ku bulamu n’entaputa y’obulamu ne gufuuka endagiriro oba obuwabuzi. Omwoyo gwa Mukasa gutambulira mu busaasizi, eddembe, okuwambaatira, obuwabuzi n’okutaatira ebitonde basobole okubeerawo ku nsi nga biramu. Tewali kitonde kitagaala mazzi na mukka gwa bulamu ate nga Mukasa y’atutolera ku mwoyo guli. Ekyo kitegeeza omwoyo gw’ebiramu guva mu mwoyo gwa Mukasa, bulamu.
- Obw’omwoyo oba obwalubaale bwe bufuga obulamu bw’ebiramu. Ekitebe wano mu Buganda kiri eBulubaale, e Ssese, kuseesa mirembe. Ensibo Mwoyo. Mu Bwakatonda, Mwoyo kitongole kiramba era omuva amaanyi g’obutonzi, agavuga n’okufuga buli kimu (Eternal Life). E ‘Bulubaale kifo kya bwerende okuzza obujja, obutukirivu bw’omuntu azze- wo enkolagana n’omwoyo, olwo afuuke ensaano esaanira okuva ebyetaagisa. Ekyetanniza abaatusooka e Bulubaale, kunoonya butukirivu olwa mwoyo okubalumiriza omusan- go, ng’ate beesanga ng’okwawukana ku balala ng’ekitebe ki- wange mu bo, we babeera. Enkizo okwawuukana ku balala ng’abaduggavu yabawa mwoyo mu busatu; mwoyo mu bo, mwoyo ku kitebe ne mwoyo akka, olwo mwoyo n’afuga ensi n’abantu nga bali wamu ng’obuwange Katonda bwe yabas- saamu.
- Obwakinene kitongole ekiri wansi w’olukokobe. Omu- sirikale, jjajja era omuduumizi waalwo wano ye Walum- be. Ekitebe mu buwange bwakinene ye Ttanda, mu Busu- jju. Enkola ye kutandaaza, kutangira na kuggalawo endyo n’ebiseera. Omwo mwe muli endyo ennungi n’embi oba ebiseera ebirungi n’ebibi. Kati no okuggulawo kiba ebimu ku ebyo okutuukiriza enteekateeka z’omutonzi. Obuwange bw’omuddugavu mu bwakinene nabwo buli mu busatu; obu- li mu muntu (obusungu), obwakinene ng’embuga, n’obukka nga gwe mwoyo gw’olukokobe omutonzi gwe yateeka wonna mu nsi okukola obwa kalabalaba okwasisa ensi n’ebiragiro. Kale weesanga ng’abo abawangemu omwoyo guli, omu- tonde, omuddugavu nga tebalina we babiviiraamu kuba baawangirwamu.
- Obujjajja. Ate wansi obujjajja, kuzuukuza oba bwa Ssen- kulu kiyite okukongojja, nga mwe muli empuliziganya n’emisambwa oba bamalayika, emisange, emisangwa, em- izimu, amayembe (amaanyi amayambi), amajjini n’ebirala oba okutwalira awamu kiyite empewo oba embuyaga. Ekyo ky’ekitone ekitonde ekyawangibwa mu lulyo lw’omwana w’omuddugavu okumusobozesa okubeera obulungi, oku- kualakulana, okwala n’okuzzaayo amawulire ew’omutonzi n’eri omuntu. Wabula ne mu mabala gy’eri naye nga yas- inga kunnyikira mu bbala eriddugavu. Kyokka waaliwo abakola emikago n’ebitongole by’olukokobe, bannabyewan- ga, ne lubakwatiriyo ne lubakozesa ebikyamu olw’abantu
abo, okwefuula bakatonda ne bakaabya ensi akayirigombe, ne lubakozesa ebikyamu olw’okutattana erinnya ly’alwo n’okujeemera Omutonzi. Era kye luva lubawemula ne lusi- birayo ggiribwa ng’eggunju bwe lisiba enkoko, yogaayoga nga bali mpanga nga Ssebwana. Ekiddako miranga! Omu- tonzi ye n’alusiima, olw’omulimu ogwo.
- Abachwezi
Ndawula gwe mukutu gw’obwakabaka bwa Katonda oku- beerawo ku nsi. Mu buwange bwa Chwezi bakulembeza Ndahura, bakulembeza Nyabingi, bakulembeza Lubanga, bakozesa Ruhanga, bakozesa Nyabuzaana, bakozesa Rwan- tale n’abalala.
Omwoyo ogwo, gwettanira nnyo obulunzi, okwefuga, en- talo, obufuzi n’obukulembeze era, guwaliriza nnyo abantu baagwo okusirikira ebyama byabwe n’okukuuma ensibuko zaabwe, ebika, obumu n’okusikambula okusobola okwe- bezaawo kyokka gwagala nnyo okuyiga ebipya, okusenguka n’okusenga awalala omuntu afune obulamu obulungi.
Obukuumi bwabwe beeyambisa nnyo amajjini, amayembe, emisambwa, ebidandi, ebyokoola, ebiteega n’emizimu ok- wetangirira abakyamu, obwo ne bufuuka obujjaja bwabwe, obuwange mu bo.
Kyokka mu Bwandahura, bakuuma Obwakabaka, obu-
wangwa n’ennono zaabwe, empisa n’obulombolombo ne li- fuuka essanyu n’eddembe ly’abwe era awo we bajja empu- liziganya n’Omutonzi.
3. Abamyufu
Ebbala ery’Abamyufu, obuwange bwabwe butambulira mu bwakiwanuka, obwamuwanga n’emizimu emitukuvu ekyo nekibasobozesa okuyunga ku mirongooti gy’ekitongole kya Muwanga. Awo Kiwanuka n’abayamba okukwata- gana n’obwengula. Ku nsi ne beeyambisa Kiwanuka oku- weesa n’okuvisaamu eby’enfuna, okukolagana n’omuliro n’okwetaasa nga bayita mu Kiwanuka.
Basinza Omutonzi nga bayita mu kabonera ak’omuliro ak’obwakiwanuka era ekyo ne kifuuka obuwange bwabwe okugoberera Ennono z’empuliziganya ne Katonda nga bak- wata obuwange bw’obwakiwanuka ne muwanga okuku- uma ensi zaabwe, endyo zaabwe, eby’obuggaga byabwe, okutegeera n’okumanya nga basinziira mu nkola eyo nga Katonda bwe yabawanga. Era kye kibayunga ku mawanga amalala agalina enkola ey’emirongooti gy’obwamuwanga n’empuliziganya z’obwakiwanuka n’efuuka enkola y’endagaano yaabwe eri Omutonzi.
Obwakiwanuka n’obwamuwanga busiima nnyo abakolede ensi ebirungi n’ebyamagero era n’abafuuka abatukirivu ne bakolerwa ebijjukizo n’erifuuka ekkubo n’enyungiro
y’obutukirivu n’obutonzi mu bo.
Bakozesa omuliro, baagala nnyo ebitebe, balondoola nnyo abatukirivu baabwe era nga bawaana obuzira.
4. Abeeru
Obuwange bwabwe bwa Kinene, Musoke n’amajjiini. Ba- beera bagezi nnyo, abayiiya abatatya nsonga yonna, abavu- mu, abalwanyi era nga bakwabuzi. Ate ebyo ne bibaleetera okuwankula ebizibu ebiva awalala, ebikolimo n’obukyawe n’ebirungi, okwesiima, ekivaamu amampaati, okuyiiki- riza n’okuyiikirizibwa. Eddembe erisukkiridde eribaleetera ettemu n’ebivve ng’ekivaamu kwetta bokka na bokka ne babulwa emirembe.
Okusoberwa okungi, kubaleetera okulaajanira Omutonzi, Omutonzi n’abasindikira obubaka n’obujunyi okutaasa ensi zaabwe. Obwamusoke bubasindikira ababaka n’obunnabi okusobola okuwona n’okubateegeza eky’okukola. Mu bun- abbi bafuna okwolesebwa, okuyita mu babaka baabwe ab’omwoyo ne babawa enkola y’empuliziganya n’ebitongole ebirala ebiyinza okubataasa nga amajjini, mwoyo, mis- ambwa, n’abatuukirivu b’ensi yaabwe abaasooka, emiz- imu n’ebirala abo ne bakola omulimu gw’okubasabirira n’okubawabula.
5. Abamenke
Oluse lw’abamenke luyita mu Musoke, Kinene ne Mwoyo Mutukuvu.
- Musoke. Kino kitundu kya kumanya, kukenga na kuteg- eera.
- Kinene. Kulumiriza na kuvunaana misango kale ng’okukola
endwadde enkambwe ng’eziva mu bwenzi.
- Mwoyo. Maanyi, masannyalaze, busirikale!
- Ekibaawula ku bali, bo tebakolera ku Nnono na Bwaka- baka
DDUNGU
Ddungu munoonyereza ku mbeera y’obudde ne y’ebiramu saako olubaale. Musambwa (malayika), nampala kiyite supervisor. Mu lufuutifuuti planetenium oba hunter, oba spacenium oba mu lulimi olwangu, forest worker. Kitwaale nti Ddungu mu kibira y’akulira ebikirimu oba kiyite nnan- nyini tterekero.
Ddungu ye nampala wa zissemazinga nga musangwa oba kiyite malayika. Eyo y’efuna amawulire oba ebiragiro obu- tereevu, okutaasa oba okuliimisa kiyite poliisi ennawunyi. Era ekimulema oba ekiguddewo nga kyetaagisa obwangu, y’akikwatako mu bwangu era n’ategeeza ebitongole ebirala. Bwe kiba ng’era kyetaagisa obuyambi oba nga kyetaagisa okutabaala oba nga kyetaagisa okumanyisa ebitongole ebi- rala oba nga waliwo ekibuze, Ddungu y’ayingirawo, ky’ova owulira nga bamuyita muyizzi, kubanga ali mu bwa kizuuzi kiyite omukulu w’entangaazo.
Ettangaazo lirimu ebitundu bibiri ng’ekisooka kye ki- yitibwa kaliya (carrier), ekire ekyettisi, ate eky’okubiri eky’endabirwamu nga lye tangaazo. Olwo nakka mu bw’engula, nakka wansi, olukalu lyonna n’alumaamira n’ennyanja. Obwagaagavu obwo bwonna kye kiyitibwa eddungu, kyava ayitibwa Ddungu ng’ava mu bire ebibiri; eky’ettisi n’ekyemuliso. Byombi bye biyitibwa etangaazo nga
kiva mu tanga (amaanyi amettisi ag’ekire) n’okutangaaza nga ye ndabirwamu.
Waliwo obutimba obulala, ebire biri kwe bitambulira nga byo birimu ekitangaaza n’ekyettisi. Kati olwo ddungu ye ne yeyaambisa emunnyeenye n’amaanyi ga Mukasa ne Kiwan- uka ne Musoke naggyamu embuyaga enzirusi eyitibwa luwe eya kikunta oba lwera n’akkira mu yo n’atambula wonna, okulawuna. Oluusi ayasira ng’omuyizzi n’embwa ze, ensi n’emulaba oba n’emuwulira, olw’okugulumiza amaanyi g’obutonzi ate nga mugabi. Bamanya nti emikisa jjize era kye bava bagamba nti, “Ddungu ayize”.
Ekibuuzo kya Mwoyo Mutukuvu, ayitibwa Kitiibwa ekibadde kiteganya ensi kiddidwamu. Abaddugavu bag- amba nti Ddungu omugabirizi era omulabirizi wa byonna y’oyo ali mu mitambo nga Katikkiro wa Mwoyo Mutukirivu ayitibwa Kitiibwa. Oyo era ye muyizzi w’abo ababi, ye muy- izzi w’ebyo ebikyamu ebijja ku nsi, oba abo abasobezza, era ye muyizzi w’ebyo ebiba bibuze, era yassa mu bwangu nga Malayika, olw’obwetaavu bw’ebyo ensi by’eyagala.
Oyo ye Malayika ku bwa mwoyo okutuwa kye tusabye. Ky’ova olaba ennaku enkulu evvumbe libuna wonna, n’emikolo ba- sooka kugabula Ddungu, n’oyo ayina ky’anoonya oba eye- ebaza asaba assaayo ebiweebwayo n’obuloosa n’amasavu oba ennyama n’asaba Katonda ne Mwoyo ne bamalayika
be. Era bw’afuna n’agamba nti, “Katonda yeebale, Mwoyo wange ateredde, Ddungu ayizze”.
Mwoyo n’akka ne batendereza, ne bawonga, ne bayimba ne basaba ne bagabula. Ekyo kye kiyitibwa embaga. Awo kitegeerekeke nti Ddungu ye muweereza ku lwa Mwoyo era omukiise we mu bwakatonda nga malayika etuuka wona ku nsi, engabuzi ku lwa mwoyo era abasaba bangi bayita mu Ddungu okufuna n’okukola ebyamagero.
Dungu waabwe.
- Ddungu ye ali mu bwengula akola ne Kiwanuka, nga lad- du kimyanso kubwa Ddunda. Ddungu Kisinde ye malaika eya waggulu atambuza amayengo.
- Ddungu lya Ntale kiyite Global oba Action. Ddungu lya
Ntale oyo ali ku by’ettale byonna.
- Ddungu lyabwe kale kiyite supervisor oba messen- ger y’akola ku butaka n’ebiggwa. Y’akulira eby’obutaka n’ebiggwa bye bakaliza mu bantu.
Ate ng’olwo Mwene ali mu bitongole musanvu; obwengula, olukalu, amazzi, obulamu obw’ennyama, ebimera, obula- mu bw’ebiramu n’amagezi. Kati mu bitongole ebyo Ddungu n’akola ogugwe, ogw’okubunyisa Mwoyo Kitiibwa nga bwe kiba kyetaagisiza.
Ddungu y’avuga obwakiwanuka ng’obuyinza n’obufuzi ku nsi. Ddungu era n’akendeeza amaanyi n’emisinde g’omuliro
n’okussa Katonda by’ayagala ku nsi omuli emirimu egy’enjawulo.
Olwo Ddungu n’ayunga ku Muwanga ne Kitinda okuddu- kanya amayengo n’emirimu wansi, mu bbanga ne ku lutim- ba (enseke ez’omuttaka). Kati nno kisaana okumanya nti Ddungu mugassi wa birungo, nga singa ebadde mmotoka yandibadde akola nga combustion chamber oba kiyite ef- fumbiro.
Obwaddungu mu butonzi obusanga busakira oyo abus- abye oba asaanidde okufuna oba okuggyibwako. Bukola mu bubumbe ng’engabanya y’ebirungo ne bufuula embeera eriwo n’ebigirimu, kale ng’obunnyogovu oba eddungu, en- jazi n’ebirala. Ddungu ate n’akola mu buzaale nga ye muga- birizi oba mulerwa era olw’okugaba kwe abaddugavu kye bava bagamba nti, “Ddungu ayize”.
Obwaddungu kwanukulwa na busaasizi bwa Mutonzi, nga asiima oyo asaanidde ate omukyamu n’akolebwako nga ye bw’aba alabye nga ayita mu mwoyo gwe, Mwoyo Kiti- ibwa. Abaddugavu we bakoona ennyondo ya Ddungu bwe “Ddu” kitegeeza kiragiro kya Mutonzi ky’ayagala kibe ki- yite order. Ate “Ngu” n’ekikiikirira engulu ya Ddungu eriko emmunyeenye, omwezi, enjuba n’empologoma ekitegeeza Obwakabaka bwa Katonda. Kale kivve era kivvoola oku- mala g’eyita Ddungu, nga tomanyi makulu na bukulu bwe. Ddungu buweereza bwa Katonda, era Mubaka wa Katonda, akola emirimu gya Katonda.
MAYANJA
Mayanja kitongole eky’etongodde mu buweereza bwa Ka- tonda. Akabonero ka Mayanja ka ngo mu bisolo, ate ku mazzi akabonero ke k’ekitoogo nga bwe kyanja embalama z’okunnyanja. Mwoyo Mayanja akola ng’omulawunyi oba kalondoozi w’ebyo ebiteekateekeddwa oba ebiri mu ddungu lya Ddungu. Nga mu ddungu eryo mwe muli eby’omu bban- ga, eby’omu mazzi n’eby’oku lukalu.
Obwamayanja buva mu kwanja ekitegeeza okulamya oba okusoosootola. Kalabaalaba oba omwogezi w’emikolo kiyite Master of Ceremony. Omuntu asaba owa Mayanja okuso- bola okwanja ensonga ze oba okuloopa. Mayanja mukozi wa Katonda n’olwekyo Obwamayanja, buwolereza nti oyo mu- muleke ajja kutereeza, oba oyo mukyamu abonerezebwe, oba kabekasinge aveewo.
Okufa n’obulamu y’abyanja mu nkiiko. Mayanja lupimo lwa bulamu, ow’ekyo ekibulamu oba kyasanze. Kati amazzi ga- kola ng’amafuta g’ensi oba kiyite ekidduka nga bwe kikola. Amafuta ago ge galaga olugendo ekidduka lwe kinaatam- bula. Mayanja y’apima olupimo nga aluggya ku mazzi agali mu nsi ne mu mibiri, n’amanya obulamu bw’ebiramu. Kye kiringa bw’opima obungi bw’omusulo n’ebirungo byamu.
Teri watagenda mazzi, nga tegatambula, era waakiri ge- nyeenya, oba waakiri ne gabeera mu ngeri y’omukka oba
kiyite olufu. Ate ebiramu, bwe gavaamu, omanya ebiramu n’obulamu bwabyo. Gagenda mu ngeri y’omukka mu bban- ga ate ne gadda ng’enkuba. Obwamayanja bweyambisa ebbugumu ly’obutonzi kiyite temperature okusoma amawu- lire agava mu mazzi, agagenze, agazze n’amatereke.
Mayanja atambuza amazzi, kwe kwanja nga ge gazzaamu omukka gw’obulamu, oguva wansi mu ttaka ng’ebirungo ne gabuna wonna, ate ne gavaamu omukka ogugenda waggulu ate ne gadda ng’enkuba olwo ebitonde ne bifuna ebiriisa n’obulamu nga bw’oteeka ssukaali mu caayi, kyali afuuka oluvannyuma lwa ssukaali n’okumufumba.
KYAMA KI EKIRI MU BWAMAYANJA
Waggulu Mukasa, wansi Mayanja; Mayanja mu Bwamu- soke wansi Musoke. Musoke ne Mukasa, ababiri bamuk- wasa omulimu okwanjaala wonna n’okusaasaanya ssaa- ko n’okukuumakuuma obulamu n’okussaawo okumanya n’okutegeera era nga bwe bulongo ku nsi. Ekyokulabirako ekitoogo kisengejja ne kikuuma amazzi nga mayonjo ate era ne kyanja emigga eri ensi nti bw’ova ku kitoogo waaliwo omugga. Mu bw’omwoyo y’ensi eteeke era Mayanja nteeko, ddembe lya nsi oba bukkakamu.
Ate ye Mwana omukulu mu bw’omuntu, owa Kintu ne Nam- bi omuggulanda eyali ayitibwa Sooka, n’attibwa Kinene olu- vannyuma lw’abo okujeemera Omutonzi. Ng’ebyo biwedde, omwoyo guli ne guteekebwanga mu baana b’abo abibiri,
aba Kintu ne Nambi, oluvannyuma lw’okutukuzibwa mu luse lwa bamalayika. Olwo abazzukulu ba Kintu ne Nambi ne bakwasibwa ensi okugikuuma, Jjajja n’abeera Mayanja okubabunyisa wonna.
Sooka olabe, omanye, otegeere, olyoke obune wonna. Okubu- na kwe kwanjaala n’okwandaaza. N’emitala wa Mayanja. N’emigga biriwo ku lwa nteeko, omuntu abeere bulungi mu nsi, afune emmere n’amazzi. Sooka yadda mu bw’omwoyo, olwo buli azaalibwa n’afuna omwoyo guli ogwa Mayanja ey- ali Sooka naye n’atukuzibwa. Omwoyo ogwo, ogwa Mayanja guli mu kika kya malayika mizimu. Emizimu gy’aweebwa amaanyi ag’ekika kya mayanja ng’empiko yaago; kwe ku- funa okumanya n’okukenga kye muyita ebiroowozo ate nga si birooto. Ekyo kiyite endabiso mu mubiri nga olaba, oba ng’olowooza, oyo mwoyo mayanja ali kuli ku muzimu.
Abaddugavu, abaana ba Nambi ne Kintu kye kibaawula. Balina omwoyo ogwo Mayanja, emirembe, okugumiikiriza, okukenga n’okulabisibwa. Bali mu mabala amalala, balina; “Ye” oba “Nedda” n’ebirala, so si bino na biri, oyo, “Mwoyo Kayiuk”, Omusambwa omulondoozi ogw’ensi ku lubere- berye, okunoonyereza.
OKUWUNZIKA
OBUBAKA BW’ABABAKA AB’EMBUYAGA ERI ABAZZUKULU
Tukimanyi nti asaba asaana kuweebwa, naye ensi esussizza amampaati, n’ejjoogo, obunyoomi, obujeemu, obubi, ettemu n’ebirala. Tukaaye, era situyinza kuleka nsi kusaanawo. N’olw’ekyo tulina okugolola omuntu, okumuggyamu ettum- ba atereere. Agaaniramu ekkoona, ng’oyo amenyeka nga akati, era abeera alinda kwokebwa afuuke evvu.
OBUTUUKIRIVU BW’EDDOGO
Obulogo kivaamu amakulu; “obulo – si” ne “go – golola”, ekitegeeza okuloota n’okugolola ng’okola ebitategeereke- ka n’otereeza oba n’oggyawo mu maanyi agatali ga bulijjo n’ebikozesebwa ebitamanyidwa bonna.
Eddogo, ezo ntumwa. Eddogo kuba kwerwanako oba kul- wana kw’omwoyo. Ng’ekigendererwa kya Katonda kuteeka- wo mwenkanonkano nga tewali atakolima, ataloga, ate era nga tewali atakolimirwa oba atawawaabirwa. Katonda aba- somozi abassaawo mu maaso okuvunaana abeeyita kye batali. Wabula singa okozesa omwoyo omubi awatali nsoga Katonda akugabulira ababi, naye ng’omusango weguli aku- wagira oli naye alabe, yeenenye! Katonda assaawo amaaso
mwerige alabemu omutuufu n’omukyamu asalewo.
OKUJAGANYA KW’OMUKYAMU
Wabula ng’omukyamu afunye kye yetaaga asanyuka era abeera n’essuubi kuba alina endagaano y’omwoyo n’Omutonzi, era ng’amanyi enkola gyakolamu n’ajunwa; oba kyetaagisa mbuzi, oba nte, oba ssente, oba nkoko te- kimugaana kubiwa kubanga alina obukakafu nti Katonda ali naye, tamuvaamu era ajja kufuna nga bulijjo. Ekyo ne kimutwala ku ddaala ery’obutuukirivu. Buli w’atuukuriza endagaano eri ky’asaba akifuna ne Katonda tamuvaamu.
Ate ye Katonda enkola ze zeewuunyisa, omuntu atalina nkoko ne yeefiiriza k’alinawo, n’awa embuzi oba omutwalo n’atambuza ebigere, kyokka n’abiwaayo olw’ekwegayirira Omutonzi ne bajjajjabe batuukiirize okusaba kwe. Tala- ba lwaki tamuwa nga mwe abalala temulaze bwetoowaze, kwefiiriza, obumu, okwagala n’obwerende. Ky’ava agenda n’owuwe gwe mulaba ng’omukyamu era n’amuwa obu- tuukirivu, obuwangaazi, n’ebirungi kwossa n’emirembe.
Wabula, bwasukkiriza, n’abonyaabonya abalala, Katon- da nga amuvaamu, n’amuwandukulula era n’amufuula eky’okulabirako eri ensi.
ENTABUKO YA MWOYO MUTUKUVU N’ABABAKA
Entabuko y’omwoyo mutukuvu n’ababaka ye kanaaluzaala w’ebizibu ku nsi. Ekyo kiva ku nteekateeka y’omutonzi engeri gy’azze awaamu ebiragiro eby’okulebereberye, eby’obutonzi, eby’obutonde n’ebyenneeyisa y’ebintu n’abantu ku nsi. Ebyo ebizze bibeerawo n’ebireetera buli bamu okutaputa enkola za Katonda, amateeka, enneeyisa nga bo bwe balaba kubanga Omutonzi ye yabalagira. Kyokka ne batafaayo nti kyaliwo ddi, kiyamba ddi, kiweebwa ani, era kiki ekinavaa- mu?
Ekyo kye kyavaako ebiwayi eby’omwoyo ebyo, okugabana ensi n’ebigirimu era ne biteekawo enteekateeka zaabyo. Buli kiwayi mu nteekateeka zaakyo ne mu kukola n’okutuukiriza emirimu gya Katonda egyakiweebwa, obuy- inza n’obuvunaanyizibwa obwo, ne buwa ebiwayi oluk- wesikwesi okukola obwannampala. Kino kyaleetawo ka- lumannywera olw’okuba buli kiwayi kyakolanga mu ngeri y’okuvuganya, awatali kukyusa biragiro, okusobola okutuu- la ku mwanjo gwa Katonda, okusiimibwa n’obutaggyibwako mirimu oba bubonero eri Omutonzi. Era nga buli kiwayi kikuuma ludda lwakyo.
Oluvannyuma lwa byonna omwali okuvuganya, olutalo n’okutabaganya, byonna ne byekkata ku Mwene okuso- bola okutetenkanya embeera ng’Omutonzi bw’ayagala ate
n’ababaka ab’embuyaga bye bettanira, ensi etereere. Awo ensi kwe kugabanyizibwa endowooza ez’enjawulo n’ensalawo enjawufu.
Eky’okukola, kwe kweresa, okugumiikiriza buli kimu, okwefiiriza n’obutapapirira, ekifuuse ekizibu eri ensi olw’obwetaavu, amaddu, okwegomba ssaako ettutumu n’erinnya, ebiriwo mu kuvuganya kw’ensi yonna, kalusam- bulira awo n’ajja!
Wabula buli kimu Katonda yakisabika mwoyo we omusuk- kulumu ow’olubeerera ava mu Mwoyo Kitiibwa ayitibwa Mwoyo Lubaale. Oyo yawa buli kintu kyonna mu nsi em- puliziganya, ne Katonda omuli ebitongole bye mu madaala n’emitendera, okwo kwossa ababaka ab’embuyaga abakola okutuukiriza emirimu gya Katonda, okutuukira ddala ku bintu ebiri ku mwetooloolo guno n’awalala, okutuukira ddala ku buntu obusirikitu, obutalabika.
Olwo ebintu n’abantu nga basobola okusaba butereevu ewa Katonda nga bayita mu Mwoyo Mutukuvu, Kitiibwa eyas- abikibwa mu Mwoyo wa Katonda ow’olubeerera, Mwoyo Lubaale, oba okuyita mu bitongole bya Katonda ebiron- doozi, eby’enteekateeka naye nga nabyo bulimu mwoyo oyo, Lubaale, kati ye n’akola nga minzaani oba lugero. Ka tu- muyite mutabaganya wakati w’ebirala n’obutonzi.
Mwoyo Lubaale, asensera, ategeera, ye , ye, kabikola, era
mu ye mwava. Kiyite omusaayi, kale mmwe kye mutegeera ze ssente oba ssemateeka. Entabwe, si y’ono oba oli, wabula bwenkanya, mazima, ddembe n’olw’ekyo tewali kitaloopa, kitakolima, kitasaba naye olupimo butuukirivu bwa nson- ga, ky’ekyo lwaki omuntu asaba omubeezi n’amufuna.
Omulala avuganya n’asuubiza omubeezi oyo, y’omu, nti singa amukkiriza, ajja kugenda mu bakadde be mu buton- gole, era n’amukutwalako, olw’okutuukiriza endagaano. Ku lwaki? Kisoboka okubeera ng’ekitongole kya Ndawula kye kikuuma olunyiriri olwo olw’endagaano ezaaliwo emabega mu bajjajja. Mwoyo ye n’akuwa omukyala, era n’omufuna naye ng’aliko omutango gwa Ndawula ogwetaaga okutuuki- riza.
N’osaba enkuba butereevu ku Kyoto kiri ekya Mwoyo Mutu- kuvu, Kitiibwa, era mwoyo n’ayanukula, naye ng’ow’enkuba Mukasa ava mu bitongole biri ebya Katonda ebirondoozi, akuvunaana okutema omuti gwe, olwo enkuba n’etajja! Lwaki? Kigoba songa. Buli muntu eyandibadde ayagala obu- tuukirivu, yandifubye okwekwata; Mwoyo wa Katonda Kiti- ibwa n’ababaka ba Katonda ab’embuyaga, ab’enteekateeka awatali kusosola.
Enkola ya Katonda etambulira mu bumu, mu bitundutun- du, ate n’ekolera mu kuwanyisawanyisa ebitundu ebyo, nga tebisimba mu kisinde kimu, ate n’abigatta n’abifugira mu bumu, buli kitundu n’akitekamu enyungiro n’okulembeze.
Kyova olaba nti omukono gwemalirira kyokka ng’ate guli wamu n’ebitundu ebirala. N’ebitundu ebirala ng’omutwe, amatu, amagulu n’ebwomunda byonna bwe bityo. Bwe ki- tyo enkola bweri mu bintu eby’ennyama n’ebyomwoyo n’ensi okutwalira awamu.
KATONDA KY’AGAMBA ENSI
Ekirayiro n’ekisuubizo mu buyigiriza obw’okuluŋŋamya mu nteekateeka esaana okuggyawo enkalu eziriwo wonna mu nsi, mu mwoyo, empewo n’ababaka, abatume n’abantu bonna.
Kale wulira ggwe, ensi, ebiriwo n’ebyaliwo bibye era ye mu- kozi, omutandisi waabyo, omukozi omuluŋŋamya, omu- lowooleza waabyo, omuwolereza, omuluŋŋamya era omu- lamuzi asembayo. Era nga ye Mwoyo Omukulu. Yali mu ffumbiro ate nga ye mulimi. Ye nnannyini nsigo, ye nnan-
nyini birime.
Kale ye muteesiteesi, ate nga ayagala nnyo bitereere kubanga ye nnanyini mbaga. Ensi teyagitonda ku lwammwe aban- nanfuusi mudde kuli mwegalabanje. Nedda. Yakola byon- na olw’okusiima kwe n’obwetaavu bwe yalina era asobola nakati okukyusa kyonna ky’ayagala era agamba mususse. Atandise okukyusa. Ebyo bye mulaba ne mwewuunya era ne mukaaba.
Bivudde ku busungu Katonda bwalina eri ensi. Kale laba bino byonna awamu n’ebirala ebyasooka. Ensi n’edaaga, abalala ne baseka, abalala ne banyaga, abalala ne badaaza bannaabwe, ate ne beewaŋŋamya mu bifo bye batali, oku- lya ensowole, okufiiriza, okubonyaabonya abalala. Omu- tonzi n’awaanibwa abakyamu, n’ajeregebwa abasirusiru, n’ebirala.
Kale omutume akole obutume, bwe baamutuma aggyeyo ekyo ky’alina, ng’ayamba ensi naye akimanye nti mutume wa Katonda, oba ababaka oba mwoyo. Gwe bw’ofuna obu- kulu manya oli muweereza wa Katonda eri abantube n’ensi. Bw’ofuna obuggaga n’ezzadde biyamba kussaawo nsi, kugi- kuza n’abulungi bwayo so si kufumya nsi gy’otamanyi bwe yajja, weesanga bwesanzi nga kwoli.
Empewo muzikozesa ebikyamu olw’okwegayirira n’okusaba kwammwe, okulimu enge n’enkwe. Kale Omutonzi n’anyiiga
era munyiivu era akooye. Mwe mweddemu. Mumanye nti ye ye Mukama wa byonna mu ggulu ne ku nsi.
Awo aliwuliriza okusaba kwammwe, nammwe nga mu- mutegedde n’ababaka be ne mwoyo we.
EBIKYAMU EBIKOLEBWA EMPEWO
Ebbanga bwe liyitawo, wabeerawo okwerabira wakati w’abantu n’empewo. Empewo ezimu zinyumirwa obulyam- mere n’ebitiibwa, era nga mwe abantu mmwe mwaziwaana ne zeerabanga eziri mu bwakatonda, okwesukkulumya. Awo we wava amampaati.
Kale omuntu osaba jjajja Lubowa, nnyamba, bw’onkolera kino nange nja kukukolera kiri. Olw’omukwano gwe mu- lina naye n’akikola. Kyokka ate y’omu aloopa waggulu nti omuntu muzibu. Kale laba bw’akoze. Nze nabadde mmanyi nti mwamukkiriza okukola ekyo. Omuntu okuva awo, w’akoledde ensobi n’afeebezebwa. Ate ne ziddayo, ate ne zidda n’ebiragiro ebirala ne zikukuba.
MWENE AWABULA ENSI
Mukimanye nti omuggo gubeera gwa nnatema, so si gwa nnalonda. Okutuma empewo zikole ebikolobero, “Weebuuze nti zibikola ku lw’ani, era zo zibadde na buzibu ki?” Kale ekyo kiva ku maddu gammwe, effutwa, omulugube, obug- gya, ettima n’empiiga. Omuntu by’abeera nabyo bye bireeta
ebyo.
Kale ejjambiya gy’okozesa okutema omuti. Naye tubuuze, “Ku mmwe mwembi, gw’omuntu n’ejjambiya bavunaana ani, ku ggwe n’ejjambiya?” Mu kitegeere nti empewo, jjambiya, naye zo teziri mu ntalo zammwe. Bw’ozeyaambisa obubi, era ggwe ovunaanibwa, nga bw’owa obujulizi obukyamu ku poliisi. Gw’owayidde, anyiigira ani, ku ggwe ne ppoliisi?
Kale temulimbanga nga mwekwasa empewo. Malayika oba empewo oba mwoyo oba ensi, gwe kennyini obeera omanyi ekituufu, nti oluwanyi luno lwali wali oba lwali wano. Era kati kino, kye nkola, ndi mu kuba ttaka. Era osobola oki- kimanya nti omukazi ono si wange, w’oli, nze ndi mwenzi bwenzi. N’okimanya nti gukusinze, nti era okola kibi, ekivve, ekikusaliza omusango era n’ogwesalira wekka na wekka mu mwoyo nga si mpewo.
Oba oyinza okumanya nti zino ssente, si zange, ne bw’owoza ku luno n’osinga mu mbuga ez’ensi, obutonzi bujja kuzza ensonga ezo mu ddiiro. By’ebyo bye mulaba mu nsi ebitate- gerekeka, ne mwebuuza nti, kivudde ku ki? Naye ng’omwoyo gulaba, era gumanyi byonna era n’omuntu w’omunda waa- li era alaba by’okola n’okuwenya, n’akuwenya, ne weere- ma. Empewo zonna, Malayika zonna, emisambwa gyonna giraba ng’ate mukimanyi nti empewo weeziri era tewali
kikwekebwa, ne mwerema. Ekyo kitegeeza, bujeemu, bu- wakanyi, bujoozi, amampaati n’ebirala olw’ebigendererwa olw’okutuukiriza omwoyo omubi eri ensi ne bannammwe. Kale kye guva gubasinga nga mmwe, mwekwasa jjajja gundi, empewo gundi ye yakikoze, so nga mmwe kabisaba ebyo.
ABABAKA KYE BAGAMBA KU ABO ABAVVOOLA MWOYO MUTUKUVU
Beewunya obutamanya Mwoyo, mpewo, mafuta, era mbuy- aga, bwe bulamu. Omulamu ovvoola otya obulamu, ate n’ogamba nti okyayagala obulamu n’emirembe mu nsi. Obeera weekomekkereza wekka.
Naye kisaana okumanya nti Omwoyo guli mu kiti kimu. Bw’ovvoola obeera ng’eyeesaze obulago.
MWOYO MUTUKUVU KY’AGAMBA KU BAV- VOOLA ABABAKA B’EMBUYAGA
Tulaba. Tuwulira. Tumanyi. Naye gwe atalaba, atawulira, atamanyi, ovvoole oyo, gw’ovvoola omumanyi?
Awo abo babeera bakutulika ng’enswa enninye, era ba- beera beetadde wansi mu bigere, ng’ekiddirira mujja kuwu- lira miranga, era kitalo ajjule ensi, nga be bavvoola weebali, balaba, era nga banyeenya mitwe nti, “O…..o, ye ggwe eyay- ogeranga? Situka.”
ABABAKA BOOGERA EKIBALI KU MWOYO
OMUBAKA KYAGAMBA
Mukasa Omuntu, omulimu gwe omukulu kukuuma bulamu, obutonde, emirembe n’eddembe. Ekyo
kisanyusa nnyo Mukama Katonda eyamutonda
Muwanga Eggwangiro bwe buwanzi bwa Katonda.
Ky’otaawanga, okiseeseetula otya? Kitegeeza tomanyi buwange bwo.
Musisi Tebinnaba, tegunnagwa. Musisimuke, mutye Mukama Katonda wammwe, ye yatonda eggulu n’ensi.
Walusi Ensi mugikuume ng’olulera. Omwana bw’omuggyako ekkundi, talama. Temutigoonyola kkundi lya Mukama Katonda.
Kitinda Enkajumbe temala nju, bye muggyawo, muliggyawa ebirungo ebiribizzaawo? Ky’ekyo ekibakaabya akay irigombe.
Kkubo Ennambiko n’ennambululo y’endagiriro omuntu oku manya, obuvo, obugendo n’obuddo.
Nnamirembe Abaana ba Kintu tebaliggwaawo, naye nga bazaala.
Kale mulabirirenga ezadde lyammwe, n’emirembe gibeerenga gye muli.
Olukokobe Ggwe omwempansi wava wa era olowooza olidda wa?
Olituusa wa obujoozi? By’okola ani yabikutuma, ate oli wonna, totya musango? Osuubira kuwolerezebwa
ani? Ky’otomanyi tokikubirangamu mpaka.
Kinene Omuntu mubiri, guvunda. Nnyama, alyako bibye,
ensobi n’aliramu ebya banne, mu nsobi ne tumukwata omusango lwa maddu era n’aliibwa nga bwabadde akola.
Lubowa Omutabaazi tagooka. Alitabaala ensi tulimutabaala. Ensi si ya muntu.
Bamweyana Tubebbere, tugulube, nga gwamusinga. Ky’osaba
ky’oweebwa. Ky’oyagaliza munno ky’ogabana.
Musoke Musookenga munoonye Mukama Katonda, bye mwa gala byonna mulibituukako. Buli bbala litendereze Mu kama, era mukwatenga amateeka ge, bwe mulifuna eddembe.
ENTAMBULA Y’OBUBAKA
Edda ennyo, mu biseera bya muwawa, enteekateeka eno yalangirirwa. Naye olw’ebizibu ebitali bimu ne kitaba. Mu biseera ebyaddako, Nisingiri ow’e Bunyoro ne Kitakule ow’e Buganda baatandika enteekateeka ezanja ensonga. Olwo Kaggwa n’atontoma era enjatuza eno y’ensibo eri mu kiray- iro kya Kaggwa eyalayira nti, “Ekiriva mu Ggulu, bwe kirib- watuka, Ensi erikankana!”
Mu kiseera kya Ssekabaka Kimera, olwo Matimba eya- li ow’enteekateeka ng’akolera wamu ne Kabona Nnon- de n’afuna obutakkaanya ne Kabaka we, nga kalumany- wera avudde ku kabiite we. Matimba n’aviira Obuganda, n’Obuganda ne bwevuma Matimba nti abuggaddewo. Mu kiseera kya Ssuuna II, ate olutalo ne lubalukawo, bakabona n’abateesiteesi ne basigalayo e Buddu kumpi n’enjole Kaba- ka waabwe, ate nga waliwo okunnyonnyola Obuganda enfa y’Omutanda! Kale buli omu n’asigala ku lulwe.
Kale bwe bityo bwe bizze okutuuka na kati, obubaka bwe bufulumye. Ekitundu kino, y’ensibuko mu buwange bwa Katonda ng’ebimu ku bifo bye, bye yeesigaliza, era kya ku- kuumibwa butiribiri n’ebyakyo, okuva na kati. Agaana, agaana amanyi, naye ng’ategedde ekiddako. Ow’empaka mulimulaba ng’afeebezeddwa nga n’olulyo lwe luggalibwe- wo era afuuke eky’okulabirako eri ensi nga Lubendera.
OKUWUMBA KW’AWAMU
Bw’ebeera kkooti, y’eno empooza ekkikirira ensinza nna- sangwa n’etegeera mu bbala eriddugavu nga bwe byali, naye nga bya Katonda, era sirina kubuusabuusa.
Y’entaputa y’ebyo eby’edda, so si kulamula butuukirivu, naye ly’essomo erivudde mu kunoonyereza, olwo tuteeke mu nkola. Okuserengeta olusozi, osooka kululinya. Kale n’olugendo terubadde lwangu, naye ng’ensonga zino, siyin- za kuzibuusa maaso, kubanga nange mbadde n’ebibuuzo ntoko, nga mmwe. Bwe mbifunye bwe mbireese. Eno mmere ya Mwoyo. Mukisa, kuyiga na kuwuliriza.
Kale tubeere beegendereza ku bya Katonda n’enteekateeka ze kubanga emmese ne bw’eba nnene etya, esigala mmere ya kkapa! Eggaali bw’eba tesobola kubeera ggaali ya muk- ka, n’okuwonya tekusobola kwenkanankana kugema oba kwewonya kutagulwa olw’obutamya bwa katonda, butonzi, bubumbe, butonde, obuzaale, obuntu n’ensi. Ekyo kye ki- vuddemu olutalo lw’obutonzi, era nakati bikyalanda.